AMAKULU AMALALA AG'OKUTAGANGIRIRA NE SADAKA Y'OKUTANGIRIRA
Tabernacle Chapter 6
AMAKULU AMALALA AG'OKUTAGANGIRIRA NE SADAKA Y'OKUTANGIRIRA
(EKYABALEEVI 16)
Mu kitabo Ekyabaleevi (16) mulimu ekifanaanyi ekyamaanyi ekirara ekiraga omurimu ogwa sadaka n'okutangirira okusinga kyetumaze okwogerako mu suula ey'okuna, tugenda kulaga amakulu ag'ebintu bino ofune esanyu lingi nyo n'okuyiga okwensuuso;
Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.
Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe.
Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto.
Ekifanaanyi kino kituwa okutulaga nti Mukama waffe Yesu (ssedume w'ente olw'ekibi) yali omutango ogumalira ddala ku "lw'omubiri gwe", "ekisibo ekitono" ate lw'ensi yonna wamu n'abantu bonna abali munsi ensi eno. Ekkanisa "ekisibo ekitono" okugabana mu sadaka ey'ekibi kiba kitegeeza nti " tutekeddwa okuba n'okugezesebwa okwenjawulo okwatutegekebwa mu kiseera kino eky'okutambulira mu kuubo effunda (olugendo oluffunda oba engeri ey'obulamu n'empiisa ez'enjawulo) eno ngeri y'obulamu weeri era eyitibwa sadaka ey'okubonabona eyatutekerwawo olw'obununuzi okutukomyawo mukutukirira kw'omutu nga bweyatondebwa nga talina kibi era ng'abantu bonna bwebagenda okuba mu kiseera eky'okuza obujja ebintu byonna. Wabula kyasanyusa Kitaffe Katonda omuyinza w'ebintu byonna YHWH obutalonda Mukama waffe Yesu yekka mulimu omunene nyo ogw'okuwaayo sadaaka wabula n'okumufula n'amufuula KAPITEENI era Omutwe gw'ekkanisa era nga ekkanisa gw'emubiri gwa Mukama waffe Yesu, bwekityo bano nabo era nga Mukama wabwe bayitibwa nebaweebwa omukisa okubeera ebitonde ebitukiridde eby'omwoyo nga okubonabona kwabwe kubalibwa okuba okuba sadaka eweebwaayo olw'ekibi. Katufune obukakafu Mu kitabo kya (Abebu 2:10) Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.
Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,
ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.
Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa.
Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;
Ate mukitabo ekya (Abakolosayi 1:24) Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
Nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,
ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be,
Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:
gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo; n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana.
Omutume Paulo wano nga alaga enkolagana yaffe eyamaanyi enyo era ey'omuzinzi wamu ne Mukama waffe Yesu omwana wa kitaffe omuberyeberye era Omutwe gw'ekanisa agamba nti; Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo: nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala:
bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,
ekitiibwa ky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo omwagalwa: (Abefeeso 1:3-6)
Eyatuweesa akununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli, kye yasukkiriza gye tuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna. Katonda kitaffe omuyinza w'ebintu byonna yatiyita olw'ejiri nga kiragibwa mu ( 2Abeseso 2:14) bye yabayitira n'enjiri yaffe olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
Kale nno ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe. Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa, abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi. Kale bikityo wulira ebbaluwa eno (2 Tim 2:13) oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba.
Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.
Bino ebisubizo nabyo bya kanisa abagabanira awamu ekitiibwa ne Mukama waffe Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. (Mat 19:28-29)
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
Wulira Omutume era Omutukuvu Petero bwa leeta obujulirwa obufanaganira ddala n'obwa Paulo wamu bwa Mukama waffe Yesu Omwana wa kitaffe Omukulu; (1 Petero 4:13-16) naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne:
naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda?
Kabona Omukulu ngamaze okuwaayo sadaka ye yalina okuwaayo sadaaka ku lw'abantu (Embuzi) era Y'OKUTANGIRIRA Yisiraili yonna nga Omutonzi bweyamulagira bwekityo ffe ab'ekanisa okwetaaba mukuwereza kino kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH yali yakiteesa dda okusinzinzira mu kitabo kya (Abakolosayi 1:24-26) Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be.
Aaron bwatyo nagenda Ku Kyoto nasala ente eyekiwebwayo olw'ekibi Ku lulye. N'oluvanyuma abaana ba Aaron nebaleeta omusaayi gyali nateekamu olugalo lye nateeka ku Kyoto naye amasaavu nagokyeera ku Kyoto ate eddiba, n'bitundu ebirala byonna nabyokyera ebweeru wa weema ey'okusisinkaniramu. Bwatyo nateeka endiiga eyekiwebwayo eky'okwebwa, abaana ba Aaron n'ebaleeta omusaayi gyali, omusaayi n'agumansira okwetolora ekyoto. Yesu mukama waffe eky'ewebwaayo eky'okwebwa n'olwaleero kikyayokebwa okutuusa omurembe guno ogw'enjiri nga guweddeko. Kino kileeta essubi lyaffe ffena okuba eddamu okubanga bulk kiseera tugenda kukyoto okuwaayo sadaka.
Ekiwebwayo olw'emirembe kino kikikirira obweyaamo n'endagaano ekolebwa nga ekwatagana n'esaddaka y'ekibi eyaweebawayo Kabona asinga obukulu, endagaano eno nga ekikirira, obweyaamo, obuvunanyizibwa bwa Kabona asinga obukulu mu Sadaka ey'ekibi. Mu kisikirize emirembe nga tekebwaawo wakati w'abantu ne Katonda era naffe bwetutyo olwokukiriza omutango era sadaka eyaweebwaayo ku lwaffe tufuna emirembe ne kitaffe YHWH omuyinza w'ebintu byonna nga bwekyawandikibwa wano;
(Abebu 8:6-13) Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi.
Kuba endagaano eri ey'olubereberye singa teyaliiko kya kunenyezebwa, tewandinoonyezebbwa bbanga ery'ey'okubiri.
Kubanga bw'abanenya ayogera nti Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, Bwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda;
Si ng'endagaano gye nnalagaana ne bajjajja baabwe Ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tebaanywerera mu ndagaano yange, Nange ne mbaleka okubalaba, bw'ayogera Mukama.
Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi:
So buli muntu tebaliyigiriza munne, Na buli muntu muganda we, ng'ayogera nti Manya Mukama: Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo.
Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibi byabwe siribijjukira nate.
Bw'ayogera nti Endagaano empya ey'olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n'okuggwaawo.Bwekityo nga bwekyali Aaron ngamaze okuwaayo saaddaka, Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe. Kityo neleero Mukama waffe Yesu wama n'abawereza be bwebatugabira omukisa bulijo bulijo okuyita mukigambo ekyamazima.
MUSA NE AARON BAYINGIRA MU WEEMA OKUWEREZA ATE NEBAFULUMA MU WEEMA EY'OKUSISINKANIRAMU N'EBAAWA ABANTU OMUKISA.
(Ekyabaleevi 9:23) Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
Ekiseera kino ekyokuwaayo sadaka nga kiweddeko Kabona Omukulu (Omutwe n'Omubiri) balirabikako Mu maaso ga kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH nebawa obukakavu bwebasobola okutukiriza ebyetaago byonna eby'obwenkanya eri abantu bonna (ensi) nga bwekyalabikiranga Mu kisikirize eky'okweereza Mu WEEMA ey'okusisinkaniramu. Bwekityo ekiseera kyona kino eky'omurembe ogw'enjiri kyekiseera eky'okuwaayo sadaka n'oluvanyuma ekiseera eky'okuwa ensi yonna omukisa n'okugiza obujja nga bwetukiraba Mu (Abag 3:8,16,29 Olub 12:3)
N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa. Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.
Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.
nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
Bwekityo okuwereza kuno kutandika n'asaddaka n'ekumaliriza n'amukisa eri abantu bona kunsi.
AWO EKITIIBWA KYA KITAFFE KATONDA NEKIRABIKA ERI ABANTU BONNA.
Omukisa nga gugenda mu maaso (nga abantu bona bakomaawo eri enkolagana n'e kitaffe omuyinza w'ebintu byonna) bulk kimu kigenda okulabika bulungi. Abantu bonna munsi baganda kutegeera kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH nga bwali okwagala, owamazima, owamageezi era omwenkanya, bwekityo ekitiibewa kya kitaffe Katonda omuyinza w'ebintu byonna YHWH kigenda kubikulwa era bonna abalina omubiri bakirabe wamu nga nabbi YisaaYah bweyayogera (Yisaaya 40:5) n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. Bonna bagenda kujja okulaba mpola mpola balabe obuwanvu, obugazi, obusimba n'obuziba bw'okwagala kwa kitaffe Katonda omuyinza w'ebintu byonna YHWH nga bwekusukuluma okutegera kwonna.
Kikulu nyo okutegera nti omukisa ogwogerwako wano tegugenda eri Bakabona abawereza awamu ne Mukama waffe Yesu, Nedda, kubanga bano bagatibwa kwabo abagaba omukisa, mukifaanyi abaana ba Yisaraili abawebwa Aaron ne Musa Omukisa Bali mukifananyi eky'ensi yonna. Bano bakabona bonna gatibwa wamu n'ensigo eggaba omukisa. ( Abakolosayi 1:24) Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;Nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda, era Omutume Paulo ekyogerako Mu (Abarumi 8:19-21) Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira ntiera n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.
Ekigambo ekyokuwa ensi omukisa tekyewunyisa kubanga kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH yali yakiteesa DDA era yakibikurira Omutume Paulo Mu (Abebu 9:28) nti; era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi. Abantu batunulidde Mukama waffe Yesu Omukulu w'ekanisa nga abonabona olw'ekibi wamu n'ekanisa mu Mirembe guno. Mukama waffe Yesu yalagibwa abayudayah mu omubiri nga (sadaka ey'ekibi) nga Omutume Paulo bweyagamba era nano abamugoberera bwebatyo bwebagamba (2Abak 4:11) Kubanga ffe abalamu tuweebwayo ennaku zonna eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwenga mu mubiri gwaffe ogufa.Bwe kityo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu mu mmwe.Naye nga tulina omwoyo guli ogw'okukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti Nakkiriza, kyennava njogera era naffe tukkiriza, era kyetuva twogera; Kabona asinga obukulu ow'ensi agenda kutegerwa about bokka abamunonya, singa yali nga agenda kurabikira mu omubiri kubanga oba awalala wonna wonna, kyandibadde nti agenda okulaboibwa bonna oba bamunonya oba tebamunonya, naye ebyawandikibwa bitulaga nti Mukama waffe Yesu Omutwe gw'ekanisa kati y'emntu ow'omwoyo atukiridde era nate ekisibo ekitono kiteekeddwa okuba nga Mukama waffe Yesu Omwana Wa kitaffe Omukulu mungeri ey'ekitiibwa ekitonde eky'omwoyo ekyo omuntu yenna kyatalabangako era kyatasobola kulaba nga bwekyogera nti; (1Tim 6:16) alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina. Tulina okumanya nti engeri ensi gyegenda okulabamu Mukama waffe Yesu agenda kuba ya kutegera eliiso elyokutegera) nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli, era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola (Abafeso 1:18) era uno yengeri Yeemu gyetulabiramu kati si n'amaaso ag'omubiri wabula agokutegera, omwo mutulabira engule ey'ekitiibwa singa abatunulira ebintu ebilabika wabula ebitalabika eby'omwoyo, kubanga ebintu ebilabika byakiseera naye ebitalabika by a Mirembe n'amirembe (2Cor4:18) Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe; ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Mazima bwekityo ekkanisa ey'omumurembe guno ogw'enjiri bwelaba Mukama waffe Yesu wamu n'ekitaffe. Yongera osoome Mu kitabo kya Abebulaniya (2:9, 12:2) bwekityo okuyita mu liiso ely'okutegera abamulindirira balaba okubeerawo kwa Mukama waffe omulundi ogw'okubiri okuyits Mu kigambo ky'obwa Katonda era ekiseera kitono nyo ddala ensi naayo egyakulaba mungeri Yeemu Mukama waffe mukitibwa bwebati okuyita Mu muliro ( omusango ogw'enkomerero ey'omurembe guno nga bwe tukisomako Mu (2Abasesa 2:8) Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe;
9 naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba.
Mbagaliza okusoma obulungi
Nze muganda wamwe
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclesia.