EBBALUWA YA KRISTO
EBBALUWA YA KRISTO (Epistle of Christ)
Abantu bonna bamanyi nti tulina ebbaluwa mu Baibuli era zino ze baluwa za batume bano; Paulo, Petero, Yokaana, Yakobo, Yuda. Naye waliwo n’ebbaluwa ya Kristo Paulo alaga nti eno yawandikibwa mu biseera bye (biro bye), annyonyola nti ye yali kikozesebwa mu ebbaluwa eno okugiwandika era bino bye bigambo bye bbaluwa eno (2 Abok 3:3 nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande gye mitima egy'omubiri.)
Ebbaluwa eno nga nungi nnyo mu kunyweza obuweereza bw’omutume n’obwabantu ba Katonda abe Kolinso ebbaluwa ya Yesu ekwatagana bulungi n’okuyigiriza kwo mutume mu (Bef 2:10 Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.) buli mukkiriza owa mazima nga simuto wabula akuze mu mwoyo ne mu mbala ya Krisito gamba mu bukakakmu, omwegendereza, omuguminkiriza, mu kulafubana ku lwa Katonda, mu kwagala ab’oluganda ne mu kwagala kwonna, tulina obujulizi bwa manyi nga Katonda mu ye nga’kola bulungi era bwewabawo mu Kkanisa (Eccelesia) ekibiina ky’abayizi ba baibuli ab’oleesa embala eno eya Mukama waffe bwe bukakafu bwetulina nti Omwoyo omutukuvu akola mu ye era nga’tulina ebbaluwa ya Kristo, awo netulangirira n’okulaga amatendo eri oyo eyatuyita okuva mu kizikiza natuyingiza mukutangaala okwekitalo.
Mungeri yemu omutume alagga ekirowoozo kyekimu mu bigambo ebyenjawulo nga alangirira abantu ba katonda abakiriza okuba ebbaluwa mu (2Kol 3:2 Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, gye basoma.) baibuli yamugaso era yesigika. Era n’ebitabo ebituyamba okuvunula baibuli, ebitabo bye nnyimba n’obutabo obutono obwokuyiga.
Bino byona bilagga ettendo lya katonda era biyamba omuntu okumulaga ekkubo ettuufu mu nsi. Naye ebbaluwa esinga obukulu ey’omuwendo omungi enyo ate nga esomeka eri abantu bwe bulamu obwo’mukristayo (obulamu obw’okukiriza) ekitonde ekigya mu Kristo Yesu era oyo ebyedda nga biweddewo laba nga bifuuse bigya. (2Kol 5:17 Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.).
Wabula mu bbaluwa ziri ezasooka okuva eri omutume Paulo, ekkanisa y’e kolinso yawakanyizibwa nyo okubeera abagayaavu eri empisa zaabwe. Omutume atukakasa nti ebigambo bye ebyokunenya byabakola bulungi nga bileeta okwenenya mu kkanisa eri Mukama Katonda, bwekityo okuteesa kwa Katonda kwa kola ku lwo’bulungi nga akozesa omutume okunenya mu bwesigwa.
EKYAAMA KYA MAANYI GA PAULO.
Amaanyi ga Paulo agolesebwa mukkanisa ye Kolinso naffe tukiraba nga kituufu eri abantu ba Mukama tetuyinza n’okulowooza nti amaanyi ago galiwo awatali bajulirwa besigwa mu mulembe guno ogwenjiri. Mu mulembe guno tulina Paulo nga ekyokulabirako mu bwesigwa ne mu kugonda. Paulo teyegulumiza ye yekka, teyabuulira njiri ya kusendasenda mu magezi ga bantu, musayansi, ow’okulimbalimba (1 Kol 2:1-5, Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,
Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa.
Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi.
N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:
okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda. (1Tim 6:20 Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, ) “Amawulire amalungi” eri abo bonna abalina amatu agawulira.
WATEEKWA OKUBAAWO OKWEGENDEREZA MU KWAWULA N’OKULONDA ABAKADDE
Eno yengeri gye tulina okutambuliramu mumwoyo si nga’badiinkoni bokka, oba abakadde be Kkanisa ya Masiya bokka, naye buli mukiriza yenna ow’ekkanisa alina kuba muwereza nga awandiika enjiri y’omutonzi eyekisa mu mitima gy’abantu abalala.
Wabula munange tegeera kino nti tosobola ku wandiika njiri ey’ekisa kya Katonda mu mitima gyabalala nga towandiikanga mu mutima gwo. Awo no tuteekwa okuba mukwegendereza okwamanyi ennyo nga tulonda abakadde, okuzuula abo abalina ebbaluwa ya Yesu mu mitima gyabwe, Abasobola okuba ng’abasanidde okuyambibwa n’okukulemberwa omwoyo omutukuvu, w’Omutonzi waffe okusobola okuwandika ebbaluwa ya Yesu mu mitima gya b’oluganda abato.
Abaffe bubaka ki? era bbaluwa ki? eyo ewandiikibwa mu mitima gyaffe n’omwoyo omutukuvu? Abange kwe kubala kwe biro ne biseera? kwe kwawula ekisikirize oba engeri yakyo? Kwe kuzuula ebyama by’ediini n’okubinyonyola amakulu mu bya wandiikibwa? Kwe kumanya ebyafaayo bya Bayudaaya? Ebyafaayo by’ensi oba n’ebye kanisa? Kwekutegeera ebyendagaano n’okuzinyonyola obulungi ezayita, eziriwo kati, n’ezigenda okujja? Tewali nakimu ku kino yadde.!!!
Paulo yewaayo mu kuwereeza Mukama waffe nga tanonya kitiibwa kye ye, naye nga akola okwagala kwa Taata ne Mukama waffe Yesu, Mukama waffe n’amukozesa nnyo nnyo mu kwanjula enjiri ey’ekitiibwa ky’Omutonzi waffe, mu kwagala nga bwekilagiddwa mu nteekateeka y’Omutonzi ey’emirembe egyenjawulo.
Obwesigwa n’amanyi ga Pawulo gabikuddwa gy’etuli mu bigambo, (Baf 3:13, 14 Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe. Kyenva nfukaamirira Kitaffe,), era ekyo kyekyama kyamanyi g’omutume Paul, eno yensoga lwaki Mukama waffe mu mwoyo omutukuvu, yamukozesanyo mukuwa omukisa ekanisa okuva mu biseera bye okuba omukutu ogwa mazima nga’yita mu bbaluwa ze.
Omutume ono nga yali ayaka mumwoyo! Wuliriza ebigambo bye, (1Kol 9:16 Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.) kino tekitegeeza nti enjiri yagibulira lwa kutya okubonyabonyezebwa era n’oluvanyuma affe, nedda, naye nga awulira munda ye nga simumativu bwaba nga’manyi n’amagezi ge nga tagawaddeyo okuburira obubaka obw’ekisa kya Katonda ekiri mu Yesu eri abo abalina amatu okuwulira. Bwe yawaayo byonna okubulira enjiri, eyo y’ensonga lwaki yawaayo obudde okuba mu mulimu gw’enjiri, ng’abulira nalyoka abeera nga waddembe nga ali mubusibe’ Roma, mungeri yonna era awantu wonna, mu bugabirizi Omutonzi bweyamuwanga. Paulo yali mwetegeffu era nga musanyuffu okubulira.
Bino byonna eby’okuyigiriza (amasomo) bilina ekitundi kitono ddala kwebyo ebirina okuwandiikibwa mu mitima gy’abantu ba Katonda, kintu kimu okuwandiika ebbaluwa ya Yesu kyanjawulo nnyo nyo!! Okuwandiika nga tugoberera empiisa n’embala ya Yesu okumufanana, mu mitima gya bantu ba Katonda, gamba obukakamu, okwegendereza, okugumikiriza, okubonabona ku lwa balala, okwagala ab’oluganda, essanyu lye, emirembe gye n’okwagala kwe.
Tuyinza okuba n’okutegeera kwonna okwokubalirira ebiro n’e biseera, tusobola okuba nga tumanyi buli kyawandiikibwa mu baibuli, n’okyogera obulungi naye nga tetulina bbaluwa ya Yesu ewandiikiddwa mu mitima gyaffe. Ebbaluwa y’omutume Peteero egamba nti (2Pet 1:8,11 Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo. kubanga bwe kityo tewalibulawo bugagga mu kuyingira kwammwe mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.”) kitufu amaggezi galina ekifo kyago naye e mbala ya Mukama waffe Yesu nkulu nyo bwetuba bakuyingira mu bwa Kabaka obutagwawo obwa Mukama waffe Yesu eyafukibwako amafutta.
AMASOMO ASATU AMAKULU ENNYO
Amasomo oba ebyokuyiga ebikulu ennyo ebyetagibwa okubeera abasiika mu bwakabaka bye bino;
Omutume Paulo anyweeza ensoga eyokuba ne’mbala ya Yesu mu munda mu mitima gyaffe, bwe yawandiika nti Katonda yatumanya nti abo bonna abalibeera ekitundu ku batukuvu be mu kitiibwa bateekwa okufanana engeri y’omwana we, balina okuba ne bbaluwa ya Yesu nga ewandiikiddwa mumitima gyabwe.(Bar 8:28-30 Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.
Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi:
era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.) Tewali nsonga newankubadde obunafu bwabwe mu mubiri, bwaaba nga yabamanya balina okuba nga ebirowoozo byabwe bikwatagana nenteekateeka ya Katonda.(R5967).
Kino kizibu nnyo eri abangi, bakola bulungi mu bwenkanya eri Mukama wabwe Yesu okujjako okuswala n’okuswazibwa oba okubonyabonyezebwa ku lwa Yesu. Omusajja Spurgeon yayogera nti oyo “ atasobola kugumira ku swala oba okubonabona okuva munsi ku lwa Yesu oyo munafu nnyo” amaaso ge gafuuka mamyufu nga atya okuswala ku lwa Yesu, oyo munafu nnyoooo.
Webale nnyo kusooma n’otegeera.
Bivunuddwa
Owoluganda Laban Paul Ssewanyana.
Wakiso Ecclessia

- Okuyiga okusiima omutonzi nga mwenkanya ne ngeri gyalagamu obwenkaya buno, n’okugoberera nga twagala banaffe nga bwe tweyagala ffeka ekyo kimu kubyetaago mukuyingira mu bwakabaka.
- Ekyokuyiga ekilala kwe kwagala, okusasira, n’okulumilirwa abalala, okuba n’ekisa nga Mukama waffe Yesu bweyali.
- Okubonabona awamu ne Mukama waffe nga tugabanira wamu enaku n’okutegana, kino kituyambe okuyiga ebintu eby’omuwendo tusobole okutukirizibwa mu mulimu ogw’okubeera bakabaka era abalamuzi wamu ne Mukama waffe Yesu mu bwa Kabaka obujja.