EKIRAGIRO EKIKULU GYETULI OMWOYO W’OKWAGALA
R2589 ” EKIRAGIRO EKIKULU GYETULI “OMWOYO W’OKWAGALA”
Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa. Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu. Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otafaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba oligamba otya muganda wo nti leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo. (Mat 7:1-14)
Mukuyiga kwaleero katulabe Yesu nga ayigiriza ku lusozi. Kuno tekwali kuyigiriza eri abo abalina ebibi (abonoonyi) naye abolonde bokka aba Katonda, newankubandde waliwo ebibina ebyawulira eddoboozi lya Mukama waffe Yesu abo nga Isiraeli ey’omubiri nga eggwanga.
Wabula Yesu obubaka yabuwa abo ekkumi n’ababiri (12) ablonde abaali bamaze okulagibwa ekkubo era n’okulungamizibwa obulungi nga bateekateeka okuba omusingi n’e milyango ekkuminebiri (12) nga bwekiragiddwa mu Yerusalemi ekigya; Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri (12), nga kuwandiikiddwako amannya kkumi n'abiri (12) ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'omwana gw'endiga. (OKub 21:14).
Mazima ekiragiro kino kyali kikulu era kikyali kikulu eri bonna abamukiriza, kyoka mazima batono nyo abasobola okufuna omukisa guno, amaaso gaabwe okulaba n’amatu gaabwe okuwulira ekirabo kyamazima. Kale Mukama Yesu yabateekateeka bulungi nga bwebalibetaaga.
Twebaza Katonda olw’esuubi eddungi, olw’obwakabaka bwa Katonda bonna abazibe ba maaso bajjakulaba, abaggavu bamatu bajjakuwulira , Katonda nga bwe yateesa mukiseera ekituufu era ekirungi, ekiragiro ekikulu eky’omwoyo w’okwagala bajjakumanya bonna okuva kumuto okutuuka ku mukulu, bonna basanyuke olw’ekiragiro ekikulu eky’okwagala. Lino lyesuubi Katonda lyeyawa abaana ba bantu bonna.
Nga tugoberera eky’okulabirako kya Mukama waffe tugezeeko okugaba emmere mukiseera kyayo okusinsizira ebintu bwebiri leero ate nga bwebyaali ebiseera ebyayita nga tubiraga enyumba ey’okukiriza, abaana b’obwakabaka era emmere nga tetugiwa “bubwa” (dogs), abo abakyali ebweru olwew’ekisa ekiriwo kati, abatanaba kufuna kisa kya Katonda waffe okugatibwa mu munyumba y’obuzalirwana bwa Katonda, abatanafuuka baana. (Mat 15:26)
Gano amazima zaabu mwerere ga muwendo mungi eri abo abalina amatu agawulira n’okutegeera obulungi mu mutima ogusiima, abo abajuzibwa omwoyo Omutukuvu ebitonde ebigya mu Mukama waffe Yesu era abanoonya okubeera mu bulamu obuggya.
“Ekintu ekitukuvu temukiwanga mbwa, era temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma (Mat 7:6)
Obubaka buno tebugenda eri mbizzi oba misege, abo abatasanyukira mazima gano wabula abawulira obubi nga bagawulidde nebatabuka nebatutusaako ebiwundu olwebigendererwa byabwe, ensonga eno Sulemani agisomesa bulungi bwati; Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyiga (Engero 9:6).
Bwekityo bwekiri eri enyumba ey’okukiriza, era Mukama waffe bwasomesa bwati okuyita mu Mutume Paulo; Kubanga tetwebuulira fekka, wabula Kristo Yesu nga ye Mukama waffe, naffe nga tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. Tusobola okuwa banaffe amagezi gano abali musomero lya Mukama waffe Yesu, obutatwala buyinza bwa ‘RABBI’ kubanga ekyo kiba kitegeeza nti tetusamu kitiibwa Yesu Omusomesa waffe.
Naye abayizi bamazima bateekwa okutega okutu okuwulira obulungi ebiragiro ebilala byonna kyokka n’okutegeera obulungi ekiragiro ekikulu eky’omwoyo w’okwagala, mu bibuuzo ebyakamalirizo mulimu okulaga obuwanguzi obuvudde mu mwoyo w’okwagala.
Singa okugezesebwa kuuze ow’oluganda osangibwe nga okwagala kwa Mukama waffe Yesu mwekuli mugwe. Akabonero ako kalabika nga wabaddewo ekisa, obulungi, obukakamu, emirembe, okwegendereza n’okugumikiriza mu mutima, awo mukama waffe bwakebeera obulamu bwaffe atusange nga tusanidde mu misango gyetusalira banaffe mu mwoyo w’okwagala so si mububi.
Ekisa nga bwekyenkana kyetukozesa eri abalala naffe Mukama waffe kyatulaga mukulamula obulamu bwaffe, kale abolugnda abakiriza Katonda basanidde babere nga bayiga ekiragiro kino okuva eri omusomesa waffe Yesu, aboluganda bonna bandibadde n’ekisa mu birowoozo, mu mutima ne mu bikolwa byabwe nga basonyiwa ban’abwe mubunafu obwenjawulo, wano ffena twandikuze mukwagala mu mitima gyaffe n’ekulabika mu bikolwa ne mukwogera kwaffe kwonna.
ENJALIIRO KU MAASO GAABWE
Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo. (Mat 7:5)
Okuyigiriza kwa Mukama waffe Yesu okwo waggulu kujjayo bulungi ensonga yabo abanyikira okulaba ensobi n’obunafu bwokka obwabalala mu kubo effunda nga tebalaba mulimu gwona mulungi mu b’oluganda, abo bebasinga okuba n’enjaliiro ku maaso gabwe (ensoobi enene) banonya ensonga kubalala nga tebalina kwagala mu bo. Yesu kunsonga eno abuuza ebibuuzo bino; Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?Oba oligamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro? (Mat 7:3-4)
Aboluganda bonna balina emitawana egyenjawulo mu kubo lino effunda, obunafu bw’omubiri kubanga bonna balina ekigera eky’obulamu obw’omwoyo mu mubiri guno omunafu olw’ekibi ekisikire. Kale tewali n’omu atukiridde, wadde n’omu bwati. Wabula newankubadde nga tewali n’omu atukiridde mu bulamu buno ow’oluganda yenna alina omutima nga gujudde omwoyo w’okwagala oyo wadde nga alina obunafu mubulamu bwe asinga nyo wala oyo atalina kwagala okwo.
Abo abalina okwagala ne’kisa balina Omwoyo wa Yesu Mukama waffe mu bulamu bwabwe era bakirizibwa gyali okusinga abo abanonya enssobi ku baganda babwe nga tebasose kukebera bulamu bwabwe bo. Era abo Yesu abogerako nti “balyolyomi”.
Aboluganda bano abatalina mwoyo wakwagla, abalyolyomi era bananfusi basala emisango mukulaba kwa maaso gaabwe Mukama waffe Yesu abayita bananfusi lwaki?
kubanga bwebaba balaga ensoobi zabalala bageezako nyo okulaga nti bo tebalina nsoobi nemu wabula batukiridde okusinga abalala mukutambula kwabwe era balaga nga tebalina bunafu bwonna awo baba balaga nti batukirivu nyo okusinga abalala, kyokka nga bakimanyi bulungi munda mu mitima gyabwe nga sikituufu yadde nakamu. Bwekityo okutambula kwaabwe kwa bunanfuusi, bulimba era tekusanyusa Katonda wadde nakamu. Obulimba bwabwe nti emisango gyebasalira abalala nti kuva mu kwagala sikituufu nakamu, wabula bunanfuusi, bulimba obwekika ekyawaggulu ennyo. Kyandibadde kirungi singa obudde obw’okunoonya ensoobi zabalala babumala nga bakebeera obulamu okulaba ensoobi n’obunafu bwebalina nebabutereza, ekyo kyandibadde kirungi nyo ddala era awo bandibadde basobola okuyamba abalala nga bamaze okuwangula obunafu bwabwe bo.
Aboluganda ffena tufube nyo okulaba mubwegendereza bwona nga tujjawo embeera eno mubulamu bwaffe obwokulaba ensobi zabalala nga ensobi zaffe tuzibiseeko. Wekebere kati olabe nga bwoyimiridde, bwewesanga mu mbeera embi munange duuka mangu nyo ogende eri omusawo owamanyi Yesu akujjanjjabe owoone endwadde eyo.(Kub 3: 19 Nze bonna be njagala mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye.) Oluvanyuma nga owonye ogenda kubeera ekibya eky’omuwendo omunene mu kuyamba aboluganda nga olina ekisa n’omwoyo w’okwagala okujjuvu okwa Mukama waffe Yesu mu mutima gwo.
OYINZA OKUSIBA OMUZABIBU KU KASAANA
Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango? Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro (Mat 7:16-18)
Mazima sikituufu ffe okusalira baganda baffe emisango abatambula awamu naffe mu kubo effunda, mu bigere bya Yesu mubwesigwa. Naye ate waliwo betusalira abo abali munsi, Mukama waffe Yesu yayigiriza nti; Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. (Mat 7:19)
Yesu atuyigiriza nti tusobola okwawula aboluganda “n’obubwa” “n’embizzi” abo abanoonya ebyabwe (abeyagaliza bokka), abanoonya eby’omusi muno era abatajjuzibwanga mwoyo mutukuvu owa Katonda kitaffe ayinza byonna n’omwana we Yesu. Tusobola okumanya abo nga tulabira ku bikolwa n’empiisa zaabwe Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. (Mat 7:20)
Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka. (Bag 5:22).
Bwaba nga siwuwe era nga si ttabi ku muzabibu tewali nsonga lwaki tuyinza okumala obudde ku muntu ng’oyo nga tumukakatikako ebibala by’omuzabibu. Tetusaana kwelimba oba okulimba abalala nga tugeezako okufuuka abatawereddwa omwoyo mutukuvu, abali munsi balina mwoyo wa kitaabwe setaani. Tulina okukimanya nti okugeezako okuyamba bano nga esuubi lyabwe liri munsi tuba tumala budde n’okwonoona ebintu eby’omuwendo ku batabisanira. Tuba tudidde zaabu ne tumusulira embwa oba embizzi.
Tulina okumanya n’okwegendereza nga tukola omulimu gwa Katonda kitaffe, abantu abatalina mwoyo wa Kitaffe tebasanyukira mazima, naye abalina mwoyo wa kitaffe Yahweh basanyukira emmere ey’omuggulu;
Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu. Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.”Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe bali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali. N'agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.
Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri (12) nti, “Era nammwe mwagala okugenda? Simooni Peetero n'amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.
Wewaawo kino tekitegeeza nti tetulina kubulira bantu bonna oba okujjulira gyebali ekigambo ekyamazima, wabula tulina okumanya nti tutandika n’abomunyumba y’okukiriza era netuwaayo ssaddaka (omutango) kulwabwe bayige amazima kubanga abo be balina maatu okuwulira. Kyokka n’abo abagala eby’omunsi muno bwetulaba ebbanga tujjulira gyebali, bwetusanga nga amatu gaabwe magale tetusobola kw’onona budde kubanga omulembe gw’enjiri gw’abo bokka abalina ebibala byo mwoyo omutukuvu era abalina omukisa okusikira awamu obusika ne Yesu mu bwakababaka bwa Katonda.
Mu kiseera ekikonkona ku luggi eky’emyaka olukumi (1000) obwakabaka bw’omutonzi waffe bwetusaba buli lunaku, Omutonzi agenda kubeera nga amenyamenya emitima emikalambavu, egyamayinja, era ng’azibula amaaso gaabwe n’amatu gaabwe bawulire, bategeere era bakole ekyo Omutonzi kyayagala.
Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja. (Kabakuk 2:14), Isaaya 11:9, Abeb 8:11)
Mazima ddala ddala Omutonzi amanyi n’ebiseera byeyatekaawo “embwa ne’mbizzi” okuyiga amazima n’okufuna omwoyo w’okwagala, kati kibbi nyo okubawa emmere y’abaana mukiseera kino. Aboluganda balekeddwawo okuweebwa ebyambalo by’emuwendo ne zaabu w’ekigambo, ebintu n’ebiweebwa ‘embizzi n’enbwa’ bwekityo omuwendo ogwandibadde guweebwa aboluganda basobole okubala ebibala bingi wabeerewo enjawulo mu mbala y’obulamu bwe, ebintu bino byononeddwa nga biweebwa mbwa n’embizz” kitalo nnyo !
Abange tuleme okubeera abagezi okusinga ebyawandiikibwa (1Kol 4:6) tukole omulimu gwa Kitaffe Yahweh nga bwe guteekwa okuba mukiseera kino, “embwa n’embizzi” bilina ekiseera tubilekere ddala kubanga zijja kutulumira bwerere, balina ekiseera kyabwe.
TUYINZA TUTYA OKUWANGULA OBUKYAYI N’OKWEYAGALIZA FFEKA.
Katudde ku kyokuyiga kyaffe;
Ab’oluganda tuteekwa okwegyamu endowooza enffu eyokulamula banaffe;
Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka, naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba enkonge
(Bar 14:13).
Mukama waffe Yesu yatuwa engeri y’okuwangulamu kino.
Tulina okusaba kitaffe atuwe ekisa ekyetagisa tusobole okubanga tetusalira banaffe misango mu bukyamu, bwetumusaba mu bwesigwa n’omutima omulogoofu atuuwa ekisa kyetwetaaga okutereza obulamu bwaffe. Mukusaba kuno tumutegeeze nga twetaaga omwoyo omutukuvu ow’okwagala okujjula mu mitima gyaffe era tulina obukakafu bwe tusaba; (Mat 7:7-12)
Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo; kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. Muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba? Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.
Katukonkone ku luggi lw’eterekeelo ly’ekisa, n’omukisa ogw’okutegeera obutuufu mu busobozi bwonna bwetulina (1Bas 5:16-18) Musanyukenga ennaku zonna; musabenga obutayosa; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna, kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
Okusaba kuno kulina okutwaliramu okukiriza kubanga awatali kukiriza tekisoboka okusanyusa Mutonzi (Beb 11:6) kyokka bwetusaba nga tuli bamazima okukola okwagala kwa kitaffe atuwa byonna, era abazadde b’omunsi nga bwebawa abaana babwe ebirungi bwatyo kitaffe bwagenda okutuwa abaana be abamusaba mu mazima ekisa bwe tukyetaaga.
Tasobola kulimba newankubadde okutuuwa ekintu ekibi nga tumusabye ekintu kyonna ekirungi, wabula agenda kutuwa n’ebisingawo, ebissukulumu okusinga bwetuba tumusabye. Aboluganada taata waffe ow’omuggulu tasinga nyo bataata b’omunsi muno? Abasinga nyo.
Laba ebirungi taata byasiima okutuwa banange;
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abo abamusaba.” (Luka 11:13) kino kyenyini kyetwetaaga ffe okuba abatukuvu, okutugyako obukyayi n’okweyagaliza, okunoonya ensobi zabalala, okusalira abalala emisango byonna ebyo nebufuluma muffe.
Okuwangula obutayagala, okweyagaliza, okukyawa n’ebilala kisoboka Katonda nga tujjuza omwoyo omutukuvu ow’okwagala nga bwetulaba nti;
Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu era tekusiba kibi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima (1Kol 13:4-6) Bar 13:10)
MWOYO AKOLA MUFFE EBISIMIBWA MU MAASO GA KITAFFE
Abatuukirize mu buli kigambo ekirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina. (Beb 13:21)
Ekigambo ekyo kikwatagana bulungi nyo n’ekyokuyiga kyaffe. Kiraga nti omwoyo wa katonda kitaffe atuyamba okubeera ekyo ekisaana n’etwewala okutunulira abalala mu bigendererwa byabwe, awo no netufuba okwewala omulimu ogw’okulongoosa abalala nga tubagyako obujonjo bwabwe ngatte ffe tulina njaliiro. Kale eky’okujjula omwoyo w’okwagala kikulu nyo era Katonda ayagala ab’oluganda bonna okukisaamu ekitiibwa. Bwetugwa mu muteego nga tugezaako okuzuula ensobi zabalala oba okusala emisango, ekyokwebuuza! Ekyo kyenkola abalala kisanidde singa babadde bakikooze nze?
Ekiragiro kino nga tukikutte bulungi tusobola okutambula obulungi netwewala olugambo, kalebule n’ebigambo ebitaliimu nssa ebivoola ekiragiro kya Mukama waffe Yesu eky’omwoyo ow’okwagala. Tubeere begendereza nnyo mungeri gyetukwatamu aboluganda ne kiragira kya Mukama waffe omwagalwa Yesu. Tuleeme okuvoola ekigambo kya Katonda waffe okubeera abizibe bamaaso obutalaba n’okwelimba nti tetumanyi bulamu bwaffe bwebuli, tusabe omwoyo omutukuvu nga tumwetaaga, kubanga omwoyo omutukuvu asobola okutambula mu mitima gwaffe nga omwala gw’amazzi amayonjjo munda mu ffe, era bwatyo omwoyo omutukuvu okuumibwa mu ffe nga tugondera ekiragiro ky’okwagala buli lunaku, buli kiseera mu bulamu.
Ekiragiro kino kikulu eky’okwagala n’ebiragiro ebilala ebiva eri omusomesa waffe bituuwa ekitangala ekisukulumu okusinga ekyedda ekyasinzira mu mateeka ga Musa n’ebanabi.
EKKUBO EFFUNDA (MAT 7:13-14)
Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo lyangu eridda mu kuzikirira, n'abo abaliyitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono.
Mukama waffe Yesu alaga ekkubo effunda ely’obulamu buno nga lya kwegendereza nnyo mubikolwa ne mubigambo n’ebirowoozo (kubanga mubirowoozo mwemusibuka ebigambo n’ebikolwa) n’olwekyo ekubo lino nga zibu nnyo ate ffunda kyokka mu kubo lino mwoka mwemuli essuubi okuyingira mu bulamu obutaggwaawo n’obwakabaka bwa Katonda ne ssanyu eritekeeddwa mu maaso gaffe mu njiri ey’ekitiibwa eyatuyitibwa.
Ekkubo eggazi, lyangu, lyekubo elyokweyagaliza, ekkubo ely’omunsi muno, teligenda mu bwakabaka wabula ligenda mu kuffa, mukuzikirira era bangi batambulira mu kkubo lino, naye abatono bebatambulira mukkubo effunda okugenda mu bulamu ne mu bwakabaka, mu kitiibwa, mu kugulumizibwa n’obulamu obutagwaawo.
Kino tekitegeeza nti kino kyekiseera ekisembayo omuntu okufuna omukisa okuva mu kuzikirira abangi munsi mwebatambulira. Ekigambo kya Katonda kitulaga nti omugole (ekisibo ekitono) ekkanisa, omubiri gwa Yesu nga bamaze okulagibwa abayina okuva mu mulembe gw’enjiri gwokka abo abatambulira mukkubo effunda nga bamaze okugulumizibwa wamu ne Mukama waabwe, ekkubo ely’obutukirivu lyakuggulawo eri bonna abali munsi mu myaka olukumi (1000), Era eribaayo oluguudo, n'ekkubo,era liriyitibwa nti Kkubo lya butukuvu; abatali balongoofu tebaliriyitamu; naye liriba lya bali abatambuze,weewaawo abasirusiru, tebaliriwabiramu.Teribaayo mpologoma,so tekulirinnyako nsolo yonna ey'amaddu,tezirirabikayo; naye abaanunulibwa be baliritambuliramu;n'aba Mukama abaagulibwa balikomawo,ne bagya e Sayuuni nga bayimba n'essanyu eritaliggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza,n'okunakuwala n'okusinda biriddukira ddala (Isaayah 35:8-10).
Empologooma tegenda kubaayo mu kkubo ly’obutukirivu okuzikiriza oba okulemeesa abantu okulitambuliramu, tewali kukemebwa eri abo abatambulira mu kkubo ely’obutukirivu, bonna bagenda kukomaawo eri Mukama Katonda kubanga omulangira w’ensi eno agenda kuba ng’asibiddwa;
Ne Ndaba Malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe. N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi (1,000),
Kub 20:1-2.
Abo abayingira mukkubo effunda balina okulwana ate, okulwana okulungi ne bakuuma okukiriza nga balwanyisa empologoma (setaani) okusobla okuweebwa ekirabo eky’okuyitibwa okwa waggulu.
Tuteekwa okulwana n’abamasaza kyokka mukama waffe Yesu atuwa ekisa netusobola okulwana obulungi Amina.
Mwambalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu. (Bef 6:12-13)
Aboluganda tusobola nyo okuwangula olw’esuubi lino.
1Tim 6:12, Yuda 3,
Yahweh agate omukisa ku kigambo kye.
Bivunuddwa:
Ow’oluganda Laban Paul Ssewanyana.
Wakiso Ecclessia