EMPISA MU KANISA YA BALONDE
EMPISA MU KANISA YA BALONDE
Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo.
Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. (Mat 18:15 -18)
Omulimu gw’empisa mu kanisa sigwa bakadde bokka, wabula bamemba b’ekanisa bonna. Omuntu singa aba akoze ensobi oba ekibi, obukyamu bwe bulina okusongebwako okuva eri oyo gwebasobeza oba oyo alabye ensobi eyo oba ekibi ekyo. Singa omuntu alemwa okuleka ensobi eyo oba ekibi ekyo nga bamaze okukimulaga, nasalawo okugenda mu maaso n’ekibi ekyo oba ensobi, awo aboluganda babiri oba basatu abatalina kyebamanyi kunsonga eno bategezebwa ensonga eno basobole okwogerako n’owoluganda alina ensobi oba ekibi. (basobola okuba abakadde oba abatali) owolugnda bwawuliriza amagezi g’aboluganda bano ababiri oba abasatu nebakanya ensonga eyo ebeera ewedde – owoluganda alina ensobi oba ekibi kiba kigwanidde okugoberera amageezi agamuwereddwa baganda be, wabula singa owoluganda asalawo okweyongera okula ekibi oba ensobi ye, ab’oluganda bano balina okuleeta ensonga eno eri ekkanisa yonna (naye simukwanguyiriza, oluvanyuma lwokugumikiriza okumala ekiseera) awo ekkanisa ettule kyoka abakadde tebalina kuba balamuzi eri baganda babwe, okusalawo kulina kuva eri ba memba bonna ab’ekanisa ey’omukitundu ekyo.
Okugoberera enkola ezo esatu waggulu nga n’abakadde bakitegedde bulungi, bugenda kuba buvunanyizibwa bwabwe okuyita olukiiko lwabona olw’ekanisa ey’abalonde bokka eno nga yekooti eyokuntiko okuwulira omusango guno nga buli nsonga yonna evayo bulungi mu mazima wansi w’Omukulu, mukama waffe era Omutwe gw’ekanisa Yesu Massiayah, aboluganda basala omusango nga bagoberedde bulung buli nsonga awatali kusaliriza wabula buli kimu nga kikolebwa mu mazima era mulwatu n’okwegendereza okwekika ekyawaggulu, aboluganda bonna balina okubanga bali bumu nebasalwo. Aboluganda tebawa muntu oyo kibonerezo kubanga kitaffe yekka yasobola okuwa ekibonerezo ekisanira eri buli muntu yenna, yamanyi okugaba empeera esanira. (Bar 12:21) Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.
Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.
Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
(Bar 8:9 -10) Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.
Era oba nga Kristo ali mu mmwe, omubiri nga gufudde olw'ekibi; naye omwoyo bwe bulamu olw'obutuukirivu.
Kale owuluganda (Omusobya) bwagana okuwulira n’okugondera ekkanisa kyesazewo, tewali kibonerezo kimutekebwako. Wabula ekkanisa ekola ki? Ekkanisa emujjako obwa memba bwaayo n’okungaana newatabawo nate nkolagaana yonna eri oyo nga aboluganda. Omutu oyo aba afuuse munagwange era nga omuwooza eri ekkanisa. (Mat 18:17) Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
Aboluganda balina okwegendereza obutaleetawo kakyankalano okuleteera abebweru okumanya ebigenda mu maaso, ensonga zino zirina kuba wakati wa Kkanisa ne mukama waffe Yesu omukulu w’ekkanisa. Abolunda tebalina kwogera bubi eri omuntu ono eri banagwanga mu lwattu wabula aboluganda balina okugoberera ekigambo kino;
Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubeera mu ttima n'obuggya, abeekyayisa, era nga tukyawagana.
Naye obulungi bw'Omulokozi waffe Katonda n'okwagala kwe eri abantu bwe byalabika,
n'atulokola, si lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twalokoka ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,
gwe yatufukako olw'obugagga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe; (Tito 3:2-5)
Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza. (Abagalatiya 6:10).
Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu:
abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa. (1Petero 3:8 -9) okwagala okusanidde kwekwo okulemera kunsonga entuufu nga tugondera Omutonzi waffe wamu ne mukama waffe Yesu. Oba nga kitugwanira okukola obulungi bonna tusingewo eri oyo owuluganda !!! tuteekwa okubeera abagumikiriziganya, abakakamu, abawombeefu, abazibila banaffe eri obuzibu bwona obutabaswaza eri banaggwanga oba eri ab’enyumba y’okukiriza okutuusa nga buli nsonga ekwatiddwa bulungi ddala awatali kupapa wabula nga waliwo okusaba kubli mutendera okufuna amagezi amatuufu nga abalunganda bajjukira ekigambo kino Omutume Yakoba kye lungamizibwa; Baganda bange, omuntu yenna mu mmwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusa,
ategeerenga ng'akyusa alina ebibi mu bukyamu obw'ekkubo lye alirokola obulamu mu kufa, era alibikka ku bibi bingi.(Yakobo 5:20)
Awo abagalwa abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:
Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala, mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bwonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri (Bed 3:15-18) eKkanisa nga eri mukugezesebwa okusalwo obulungi, ensonga etuufu bafube nyo okulaba nga Kubanga okwagala kwa Kristo kutuwaliriza, nga tulowooza bwe tuti ng'omu yabafiirira bonna, bonna kyebaava bafa;
naye yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw'oyo eyabafiirira n'azuukira. Eddobozi lye Kkanisa erisariddwawo lilina okugonderwa bamemba bonna awatali kwesalamu.
Aboluganda kale ensonga eno engeri gyeli enkulu enyo tusanidde okwekuuma mu mpiisa ennungu obudde bwonna tuleme okuletera banaffe ekyambika. Olumu ensoobi ebeera singenderere kyoka ate olumu omutu omu ayinza obutategera bulungi mune naye mubyona tufube okwekumira mu kwagala kwa kitaffe kubanga abaana ba kitaffe tebakola kibi (1 Yok 3:9-10) Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we.
Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga, laba tulina buli mukisa gwonna ogw’Omwoyo era tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukomako. Ekitonde ekigya – eKkanisa elina ebilagiro kubuli nsonga yonna okuva eri Omukulu w’ekkanisa era Omutwe mukama waffe Yesu MassiaYah, kati eri ensonga eno enkulu enyo Omwoyo wokwagala ateekwa okuba mu boluganda newatabawo kusooka kwogera kunsonga zino ate oluvanyuma abakadde n’ebalyoka bayita olukiiko nga kumpi bamemba bamaze okusalawo dda mu mitima gyabwe, ekyo kibi nyo. Aboluganda tebagenda mu lukiiko kuswaza munabwe nedda, wabula ekigendererwa kuyamba waluganda asobole okulaba ensoobi ye era yenenye akyuke mangu ddala.
Ensoobi telina kwogerwako nga omusobya taliwo.
Oluvanyuma nga emitendera gyona nga giwedde ekkanisa nesalwo omuntu yo okubanga mu naggwanga, buli memba w’ekkanisa alina okusalawo mu ye nga ye mubwenkanya. Okusalawo omuntu ono okuba munaggwanga, okumujjako eddembe lyokungaano awamu naye, ekyo kikolwa kya butukirivu ekyatuweebwa mukama waffe Yesu, okweyawula nabo abatatambula bulungi mungeri esanidde. Sikumweyawulirako ddala ddala wabula okumuwayo omukisa ategere ensoobi ye era afube nga bwasobola agiveemu akomewo mu boluganda.
OKULOPA OMUKADDE W'EKKANISA
Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu. (Tim 5:19)
Abagalwa mu linya lya mukama waffe Yesu Omutume Paulo mukuyigiriza kwe kunsonga eno atulaga ensonga ebiri enkunlu;
(1) Omukadde bwalondebwe mu Kkanisa era alina ebisanyizo byonna ne mpisa zonna okubanga kyakulabirako eri bonna, muntu Mukulu mukutegera amazima era omuwereza woyo ali waggulu enyo YHWH.
(2) Omukadde ali mukifo ekyobuvunanyizibwa obungi era omulabe setan amutaddeko amaaso okumulumba essaawa zonna olwensonga zino; Obujja, Ensaalwa, Obukyaayi, Empaaka n'engeri endala nyingi okuba eri abaamu nga mukama waffe Yesu bweyategeeza nti;
Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye? (Mat 10:25)
Temwewuunyanga, ab'oluganda, ensi bw'ebakyawanga.
Ffe tumanyi nga twava mu kufa ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala ab'oluganda. Atayagala abeera mu kufa. (1Yok 3:13-14)
Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe.
Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. (Yok 15:18-19)
Omuntu gyakoma okuba omwesigwa mukuwereeza gyakoma okufanaana mukama waffe Yesu era bwatyo afuuka omuwereza omulungi asaana okuba Omukadde w'ekkanisa, ateera gyakoma okuba omulungi gyakoma okuba n'abalabe abangi ddala, sisetani yekka naye nabo setani balimbalimba.
Omukadde alina okuziyizibwa eri abakyamu bano n'okunenyezebwa mubukyamu eri buli kigambo okubanga tumusuubira okuba nga wampiisa nnungi nyo okusinga bonna abomukibiina. Olugambo okuva mu abo abanafu ekyo tekiba kirope Ku mukadde w'ekkanisa (Mat 18:15) sikituufu obutagoberera nga mukama waffe Yesu bwalungamya ensonga eno. Ensonga nga tenaropebwa omuntu alina okuba nga alabaganye n'omukadde oyo nga agaberera matayo 18:15, okusooka omu n'oluvanyuma ababiri oba basatu, egyo emitendera nga giwedde bulungi awo omuntu asobola okuleeta ensonga eno eri ekkanisa.
Mazima kikulu nyo Omukadde naye okuyisibwa nga bamemba abalala bonna okubanga tewali Mukulu asinga mune ffena tuli baluganda, ekifo no buvunanyizibwa bwalina tebumuwa nkizo yonna obutagoberera mitendera mituufu.
Kyoka ensonga ya bajjulizi elina okuba nga Eva mundowooza y'ekitonde ekigya so sikikadde, olugambo, kalebule okuba mu abo abanafu era abakyalina embala ey'omuntu ow'edda. Abantu babiri oba basatu bwebaleeta ensonga nga bagoberera bulungi emitendera gy'ekanisa kilungi naye era tulinda n'etumala okuwulira noludda olulala nga bonna bali wamu mukama waffe Yesu natulungamya ekituufu kyetusobola okukola eri omukyamu okumukomyewo mu butukirivu. Bwetugoberera obulungi nga mukama waffe Yesu bweyatuyigiriza omukadde w'ekkanisa asobola okulopebwa era ekkanisa n'emulungamya singa abeera alina ekizibu ku bulamu bwe.
OKUYITIBWA MUKUWEREEZA.
Abantu bangi bategeeza nti bayitibwa okubulira enjiri, era nebategeeza nti naye tebamanyi lwaki bayitibwa, bongerako nti balaba nga Bali tebasanira omulimu gw'enjiri ey'ekitiibwa okubanga tebalina ebisanyizo omuwereza, emirundi mingo nga balemwa okuyiba eddobozi elibayita. Abantu bano bafuna ebibuuzo munda mu mutima gwabwe lwaki? Oba siwulira bulungi? (Kino kibaawo nyo nga omuntu tanaba n'akukiriza kufuuka mugoberezi wa MassiYah) nga wulira nti alina okujja eri omutonzi amuwereze era amangu ago ekifaanyi kyafuna kyekyo kyalaba mu Kkanisa ya Babuloni ekyaama kyobujjemu! Olusi omuntu asanyukira engeri abantu bank gyebambala mu nga mute awulira ayagala okwambala ku kyambazlo ekyo naye afune ku ekitiibwa ekyamaanyi, omusala ogw'amaanyi, okuva mu biwebwaayon'ekimu eky'ekumi. Kati omuntu bwawulira bwatyo munda he alabira ddala nga Katonda amuyise okumuwereza, Kati waliwo bangi abalina abo leero nga bwebatyo bwebarowooza nga bayitibwa mu kuwereza.
Njagala ojuukire kino nti bonna bamemba b'ekkanisa bayitibwa okubulira si okwagala kwabwe oba kwa birabo by'ebalina naye kyasanyusa Taata n'omwana we gwe okuyitibwa okuba omuwereza nga bwetusoma mu (1Petero 2:9-10) Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo:
edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa. Okuyitibwa kino kwabo bonna abafuna omwoyo Omutukuvu owa maxima oba baavu, oba bagaga, oba basoma oba tebasoma, oba baddugavu oba beeru, bamyuufu, bakyenvu bonna, tewali kisinga kufukibwa mafuuta ga mwoyo Omutukuvu;
Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.(Zab 40:3)
Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.Omutukuvu. (Zab 107:43)
Mazima bwatyo bweyayita abatume (12) nabawa omulimu ogwenjawulo nabategeeza nti abantu bagenda kuwulira ebigambo byabwe. (Mat 25:15)N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu; buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwali; n'agenda. Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.
Newankubadde nga mukama waffe Yesu yatuyita mu kuwereza ffena naye bangi bagenda kwefula abasomesa a bayitibwa nga benonyeza ebyabwe ku bwabwe, kati omulimu gw'ekanisa owe tunula enkaliriza okulaba nga bagoberera omukulu w'okukiriza mukama waffe Yesu omutwe era omukulembeze waffe ow'okuntiiko, sikunonya byetagala ffe, oba ebirubirirwa byaffe nedda wabula Kitaffe byayagala byokka. Okubanga okugaana okukola obunanyizibwa obwo kuba kugaana kukola kigambok kye, era kulwanyisa maxima netufuuka abalabe eri ekkanisa.
Ekiragiro lya mukama waffe Yesu kilabika bulungi nyo wano; Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa. Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; mpozzi baleme okukuyita nate nabo, ne wabaawo okukusasula (Lukka 14:11-12), ekkanisa erina okugoberera ebiragiro era nga eno yeyina okuba endowooza ya bamemba bonn a b'ekkanisa okubulira n'okugondera mukama waffe Yesu. Enkola ya mukama waffe Yesu yakuyimusa oyo omwesigwa, agumikiriza mu kukola obulungi; (Lukka 6:10) Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi. Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima?
Era wulira nakino mu (mat 25:21-23) Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala.
Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo. Waliwo eddala ery'okuyimusa abesigwa munkola ya mukama waffe Yesu, kale awo kigwanira nyo okugoberera amageezi agaava mu ggulu eri buli ensonga gonna nga tuwereza mukama waffe Yesu wamu n'aboluganda.
Owuluganda yenna bwaba nga anonya era nga bagoberera kwagala owe oyo abamu tasanidde kulonda newankubadde nga alina obusobozi okuba omukadde era nga alabika nga omuwereza, wabula abo abawombeefu be batekeddwa okulondebwa. Singa omukadde amala nakyuka okuva mu mpiisa natandika okwenonyeza ekitiibwa, okola byayagala, okufuka nakyemalira nga eggalo esajja oyo aba alina okugibwa mu buvunanyizibwa nga tugoberera bulungi (mat 18:15) ekyo kiba kimuyamba okumutereza mu mpiisa za abalonde.
Aboluganda bonna abagala omuwereza mu Kkanisa wamu n'emunsi; tekitekwa kuba nga kiva mukweyagaliza kifo ekya bukulu, naye okwagala okuwereza mukama waffe Yesu n'aboluganda awatali kweyagaliza kwona kwona wabula mu buwombeefu obusingayo. Ffena tukimanyi nti okweyagaliza kwekwasula setani okuva mu kisa n'okuwereza Omutonzi nafuula omulabe wa kitaffe mu butukirivu bwona, bwatyo yakyaawa amazima nayagala okukola byayagala ye kululye. Wulira bweyagamba; N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono: ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo. (IsaaYah 14:12-14).
Bwekityo owuluganda bwawulira nga bayitibwa okuwereza ekkanisa yelina okumukakasa nga bamulonda okukola omulimu ogwo, omuntu henna tasobola kwelonda kuwereza. Kigwanidde okugoberera obulungi ebiragiro bya Mukama waffe Yesu awatali okumenya yadde ekimu bwekiti, kubanga omuntu yenna bwatagoberera nkola ntuufu tasaana kuba nab buvunanyizibwa bwona mu Kkanisa ya Katonda.
LABULA BA KYEWAGULA.
Kyenva njagala abakyali abato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga ennyumba, balemenga okuwa omulabe ebbanga w'ayima okuvuma: kubanga waliwo kaakano abaakyuka okugoberera Setaani. (1tim 5:14,15).
Kino sikya bakadde bokka naye Kkanisa gonna, n'abakadde nabo balabulwa! Newankubadde nga ekkanisa ekitonde ekigya balina enkolagaana ennungi era nga butukirivu eri Katonda mu linya lya Yesu MassiYah, bulk omu alina obunafu obwenjawulo obuva mu Omubiri. Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.
Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.
Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze. Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. Okusonga ku bunafu bwa ba naffe n'ekigendererwa eky'okubawakanya sikituufu, era ekyo kiba kwetuusako bulabe bwetunonya ensoobi z'abanaffe, kibavirako okuzukusa obunaafu bwabwe obw'omubiri, ekikolwa nga ekyo kiba kibi nyo, era tekiva eri Katonda kitaffe mu mwoyo omutukuvu.
Okugiriza kuno kwabo abalala edda okuweebwa ekirabo ky'omwoyo Omutukuvu, omwoyo owamazima, omwoyo w'obutukuvu, omwoyo w'obuwombeefu, omwoyo w'okwagala. Abo b'ebaana ba kitaffe abakula mu kisa kyonna eky'omwoyo, era abalonde bano babeera mu katyabaga okuwakanyizibwa eri bulk kasonga konna konna aakabatukako. Wabula olw' omwoyo w'okwagala basobola okwenganga obunafu bwona obwa b'oluganda, batweekwa okuba bulindala okubakola obulungi ekiseera kyonna; sikubeera mu ntalo, okunoonya ensoobi zabalala, okubogerako kalebule wabula kimu kyoka obeera n'ekiragiro ekikulu enyo omwoyo w'okwagala kitaffe YHWH, mukama waffe Yesu, aboluganda n'abantu bonna mu bukakamu, mu kugumikiriza, mu buwombeefu, ekyo kituyamba ffena okuwanirira obunafu bwa banaffe nga sibwetutunulira buli ekiseera wabula, okutunulira obunafu bwaffe n'okubujjirawo ddala.
Batalina mpiisa tebasaana kusususta n'akubawagira mu nsoobi zabwe, wabula nga tubakwatirwa ekisa mu kwagala tusobola okubayamba nti Omutonzi waffe siwa kavuuyo wabula alina enkola gyagoberera mu buli kyakola okusobola okumuyamba tukule mungeri y'okufanana Omwana we Mukama waffe Yesu MassiaYah. (2Petero 3:17-18) Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi. Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina. Omutume Paulo atukubiriza bwati kunsonga eno; (Ebef 5:18-21) So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe; nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo; nga muwuliragananga mu kutya Kristo.
Kale abaana ba kitaffe abajjudde omwoyo Omutukuvu ow'amageezi n'okutegeera bagoberera mu nkola ya Mukama waffe Yesu nga bwelagiddwa Ku bulk ensonga yonna oba ensonga ntono oba nene batunulira Mukama waffe Yesu omutandisi era omutukiriza w'okukiriza kwaffe. Singa ffena twamala okutukirira twandibadde tulowooza mungeri emu nga mukama waffe Yesu bawali mukulowooza okumu n'etaata YHWH omuyinza w'ebintu byonna.
Banaffe abatawulira sibakunenya buli ekiseera olw'embeera yabwe. Abantu abamu bazalibwa nga bakyamizibwa kale bayambala ekyambalo ekyo eky'obulalambavu mu bulamu bwabwe. Kale obutagoberera enkola ntuufu bwebumu kubunafu bwabwe bwetuyina okubayambako mu kisa nokwagala okungi enyo, wabula tuyina okumanya n'okwegendereza okulaba nti tebaleeta bulabe n'abuzibu ku Kkanisa ya batukuvu; ekyokulabirako; okulemesa aboluganda okuyiga, okukola obuwereeza bwona obwetagisa. Sikwagala kwa kitaffe YHWH nti aboluganda babeera n'ekisa wamu n'obuwombeefu obutuusa omukiriza okwonoona n'okumenya ekiragilokye kyona kyona nti okubanga ayamba olwoluganda omunafu, Nedda. Naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi. Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu. Nga tuyamba ow'oluganda okuva mu obunafu, tukikola mu bukakamu, mu buwombeefu kyoka mu buvuumu nga tugoberera ekiragiro ekikulu eky'okwagala, ekirina okulabika enyo mu baana ba kitaffe bonna.
OKULABULA KIRAGIRO ERI BONNA.
Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe. (1Abases 5:12-13)
Tulina okumanya obulungi nti kino ekiragiro eky'okulabula kikolebwa abakadde abo ababulira era abakola omulimu ogwokuwereza mu Kkanisa wabula sibuli waluganda nti awereddwa omulimu guno okugukola. Omulimu ogw'okulabula omuntu eri obukyamu oba ensoobi gwetagisa omuntu alina ekitone ekyokwendereza enyo. Mukulonda abakadde be Kkanisa kigwanira ddala okulonda abo abalina akabonero akalaga nga bakulu ddala kunsonga z'omwoyo ate ne mumbeera z'obulamu buno munsi yaffe mwetuwangalira, bano tetubalonda kukulembeera nkungaana za kuyiga ekigambo kyoka naye n'okulaga empisa, n'enkola bonna ezigobererwa mu Kkanisa okwo saako okulabula abo abatatambula bulungi ku mutindo og'ekanisa.
Amagezi agw'obwakatonda bwegaba nga gagobereddwa bulungi mu ku londa abakadde be kanisa nkakasa abo abasinga obulungi balondebwa, si abo abakakyuka. Tukiriza nti aboluganda Mukama waffe Yesu abakozesaza bulungi okulonda abo Taata beyasaako akabonero ko butukirivu . Abakulembeze bano bwebaba n'ekigera eky'omwoyo wa Kitaffe bakulembera bulungi era emirembe egiva eri kitaffe n'e Mukama waffe Yesu negibeera naffe.
OKUNENYA MU LWATU.
Okunenya okw'omu lwatu olumu kyetagiisa a b'ekkanisa bonna bategere nga omutume Paulo bwakiraga wano; Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga.
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi.
Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu.
Tonywanga mazzi gokka, naye onywanga ne ku mwenge katono olw'olubuto lwo n'olw'okulwalalwala. Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango era n'abalala bibavaako nnyuma.
Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa.
Omutume Yokana naye atulaga ensonga eno;Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga Buli ekitali kya butuukirivu kibi: era waliwo ekibi ekitali kya kufa. Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukomako. Tumanyi nga tuli ba Katonda, n'ensi yonna eri mu bubi.
Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo. Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi.
Kino kikulu nyo okukitegeera; Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda, nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe. Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw'ebyo. (Beb 4:6-8)
Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw'ebibi, wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe. Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu: mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa? Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be. Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. Mukama waffe Yesu atulabulira ddala okuyita mu omutume Yokana (2Yok 9-11) Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana. Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga: kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi. Kuno kwona kulabula baluganda bawulire bakole ekyo Kitaffe kyayagala.
Mbagaliza okusoma obulungi era Mukama waffe Yesu ne Taata agagte omukisa Ku bigamba bino;
Bivunuddwa muganda wamwe,
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclessia