ENKOLA EY'EKIMU KYEKUMI
ENKOLA EY'EKIMU KYEKUMI (Malalki 3:10).
R1028 The Tithing Custom
Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.
Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna.
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.
Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Munkolagana ya Katonda ne gwanga lya Yisirayiri ey'omubiri kyali kitundu ku teeka okusoloza ebimu eby'ekumi. Ekimu eky'ekumi kitegeeza omusolo gw'ekitundu ekumi okuva mu nimiro, ku bisoro oba ebintu byonna ebifunibwa omuntu buli mwaka.
Bwotunulira entambula y'obugaaga obuva mu musolo gw'ekimu ekyekumi kivireddeko eddini engingi okugoberera enkola eno ey'ekiyudaaya. Munsi zonna obukatolika gye bwafuna amatwale, bwateekayo enkola EY'EKIMU ky'ekumi, era eddini zonna ezabawakanyi Nazo zigoberera enkola EY'EKIMU kyekumu.
Ekimu eky'ekumi kyekyaama eky'obuwangunzi bwa "Ba Manoni n'aba Sevevinide" enyingiza y'ensimbi mu mawanika gabwe bafuna ekimu eky'ekumi okuva mu Ku buli nyingiza ya bantu babwe kino kibasobozesa okusasulira entambula ya ba missani, okubisa ebitabo n'okulakulanya talanta zabantu babwe., kino kibayambye okulakulana.
Naye abange katwebuze - tulina wansi w'ateeka ely'ekimu eky'ekumi? Tuddamu nti Nedda! "Tetuli wansi wa mateeka naye kissa. (Abar 6:14) mkubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa. Kale tukole tutya? tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge atufuga, wabula ekisa? Kitalo nyo Nedda. Ekigambo kino ey'eky'ekimu eky'ekumi era nga n'ebirala bwe biri mu mateeka tebyaweebwa ekitonde ekigya ekiri mu mukama waffe Yesu mu murembe guno ogw'engiri naye Abayudayah bokka bebali wansi w'eteeka era nga tebali wansi was kissa nga abakiriza b'omurembe guno. (Abag 4:1-7) Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna;
naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda.
Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi:
naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,
alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.
Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe.
Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. Naye kitegeeza Ku okuba wansi w'ekisa? Kino tekitegeeza nti tewali bwetaavu bwa sente nga edda Nedda, newankubadde okugamba nti ekisa kyekinatuwa sente mungeri ey'ekyamagero. Wabula kino kitegeeza, temukyasuibibwa n'ateeka elyokusoloza ekimu eky'ekumi kubanga Katonda yabawa Mukisa okuba ab'eddembe nga tukozesa buli mukisa bwona ogwokwewaawo omuwereza Katonda nga bwayagala awatali kuwalirizibwa naye abaana ab'eddembe abatasibibwa n'amateeka wabula okukola olw'ekisa nga Katonda bwatusobozesa. Kubanga ffe teyatuyita kuba baddu wabula abaana. Ekisa kyeyatuuwa kya kuba banana mu murembe guno ogwengiri. Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
Ekibuuzo: Eddembe lino eriva eri mukama waffe Yesu ne Katonda kitaffe lyatuwadde kitegeeza nti tuweeyo kitono ekitenkana na kimu kyakumi eri omurimu gw'okuwereza olwokuba nti tatutaddeko kiragiro kyabuwaze? Nedda kino tekitegeeza nti eddembe Katonda lyatuwadde okumuwereza wansi w'okwagala n'amazima nti tulina kuwaayo kitono nyo ekitenkaana n'akimu kyakumi. Mukama waffe atwagaliza okulaba ekisanidde obulungi kyetuba tukola okumuwereza mukwagala kwatuwadde. Olumu owoluganda Adamson yatusisinkana oluvanyuma nga tumaze okufuna ku kigera ekyamazima nga tufuba okulaba nga tuteeka munkola ekyo kyetwali tumaze okutegeera nti n'engiriza ya Babaibuli eri abaana ba Katonda abamweyawulidde, nayogera naffe ku bikwata kusente, ffena twaddamu bwetuti; okumala emyaka mbadde mpaka ekimu eky'ekumi okuva kunyingiza yange eri omurimu gwa mukama waffe Yesu. Twali tusanyukira nyo mu kino n'amaanyi manngi bwetutyo bwetwamutegeeza musanyu eringi ddala naye era netumugam a nti ekimu eky'ekumi kyali kipimo kitono nyo eri abantu ba Katonda abali batambulira wansi w'omurembe gw'amateeka. Owoluganda Adamson yewunya nyo okumugamba nti ekumi eky'ekumi kyali kipimo kitono nyo nga akimanyi bulungi ddala nti abantu bangi n'ekimu eky'ekumi tebakiweeza bweba bakiwaayo eri Katonda okuva kunyiza gyebaba bafunye. Bwetwamubulira nti okweyawulira Katonda kitegeeza kuwaayo Kikumi ku kikumi yakitegeera mangu era natandika okuwaayo bwatyo. Okuva awo tukiraba nti okweyawulira Katonda kitegeeza kuwaayo by on a bye tulina mu kuwereza gamba; obudde kwaffe, Atlanta waffe, sente zaffe, okuwaaya byona kwe " KUWEREZA OKWAFF OKWA MAGEEZI." Okuva mukiseera ekyo, n'okweyongerayo owulunganda Adamson yategeera nti awaayo byona eri Katonda nga omuwanika omwesigwa mubusobozi byonna bwalina olwokuwa Katonda ekitiibwa ne tendo oyo eyamuyita okuva mu kizikiza namuleeta mukitangala ky'omwana we. Owoluganda ono Kati akola nga bwasobola mubusobozi byonna Katonda bwamuwadde okuwereza. (2Abak 9:6-7)Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
7 Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
8 Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
Bwekityo bwekiri eri buli muntu eyawaddeyo yenna eri Katonda okuba "sadaka enamu entukuvu esanyusa Katonda" okulaba ngeri ki gyasobola okolamu okuwereza okusinzira ku kweyawula owe ye. Omuntu ayewaddeyo eri Katonda tasalawo ye nga asinzira ku kyayagala ye oba kyatayagala ye okuwereza kwona okwono okubeera kungeri gyeyasalawo okuwereza mukama we. Omuntu ono aba yaffa eri okwagala owe nasigala kukola ekyo kyoka Katonda kyayagala akole. (Abar 12:1-2) Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. Buli wa Luganda yenna eyewaddeyo yenna okuwereza Katonda alina okulaba nti okuwereza kwe teyewereza yekka, oba banyumba ye, oba okuwereza nsi, oba okuwereza ab'ekyaalo oba okuba nga ojjudde okweyagaliza gwe nga abasinga obungi munsi bwebakola. So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
Tusanidde okutegeera nti nga tumaze okutukiriza endagaano yaffe ey'okweyawulira mukama waffe okumuwereza, tusobola okusanyukira ddala mu mutima gwaffe bwekiba nga kisoboka netwongera ku omuwereza kwaffe eri am amazima okusinga bwetwawereza obulimba eri abantu ba Katonda. Bwekityo okuwereza kwaffe kusuuka ekimu eky'ekumi netuwaayo byonna nga bwetusobola okuwaayo.
Tulina ekyokulabilako mu (1Abak 3:14,15) Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera.
mulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
Tusanidde kwebaza Katonda newankubadde nga ekiseera kitono nyo kyekiseera ekirungi ffe mwetusanidde okukolera omurimu ogw'okuzimba ku musingi mu bwesigwa ngatumanyi nti alituwa empeera olunaku lumu alitugambi nti; (Mat 25:21-23) Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.
N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala.
Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.
Talanta mukama waffe zatuwadde mukiseera kino, azituwadde okutuzamu amaanyi tusobole okuwaayo obudde kwaffe n'esente zaffe, n'ebintu byonna byetulina okumanyisa amazima eri bonna, kino tukikola nga tuwabdiika ebbaluwa, nga tuvunula ebitabo era nga tufuba okuyimusa omutindo gwa mazima Ku mu tindo ogw'etagisa nga bwekigwana. Tolaba (Isaaya 62:10) Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera.
Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
Edda bwetwali munkola ez'obulimba twawaayo omuwendo mungi mungeri y'obudde n'esente, Kati tusobola kuwaayo kyenkana ki eri amazia ! Oba mu bulimba twasobola nga okuwaayo, ekimu eky'ekumi, okuzimba, obweyaamo, ensigo, ekirabo eky'okwagala, okubulira enjiri, ez'abagenyi, bino twabikola nga tuli mubusiibe nga tutya abakulu b'eddini, kitegeeza,a nti bwetumaZe okumanya amazima tugenda kuwaayo byonna bye tusobola okulaba nga amazima tugategeera mu maka gaffe, mu baganda gaffe, emikwano byaffe n'eri bonna abetaaga amazima. Kino kitegeeza nti buli muntu yenna agenda kwekebeera alabe nga waayo nga obusobozibwe bweli awataali kuwaliriza nga abamaddini byebakola nga bwetulagibwa mu kigambo kino ekyamazima;
Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi. (2Abak 9:6-7)
Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.
Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:
nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.
Mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.
Kale tweyongere okukola obulungi nga bwetyayitibwa okuva mu kizikiza era nga nedda twasasirwa nga tukyali mu bulimba tufuube nyo obutasasanya nate lulu yaffe ey'omuwendo omungi kubulamu kwaffe ffeka wabula tusasanya kulwa maxima, Ku lwabalala okumanya amazima. Tusobola okuyigira ku omutume Paulo nga eky'okulabirako kwaffe. Yakola n'emikono gye kyoka n'ayamba bangi.
Mbagaliza kusoma obulungi.
Bivunuddwa nze Muganda wamwe,
Laban Ssewanyana.