ENKOLA NE MPIISA MU KANISA YA BALONDE
E315 New Creation
ENKOLA NE MPIISA MU KANISA YA BALONDE
Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;
omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.
ENGIRIZA KIKULU NYO.
Bwetunulira ekiseera kyetulimu engiriza egenze ekyusibwa kyusibwa era abalala balaga nti engiriza n'okukiriza ebyo sikulu namakamu wabula empiisa z'obuntu bulamu ekyo kikulu nyo. Tetusobola kukiriziganya nangyogera eno nakamu kubanga twesanga nva tuviridde ddala ku kigambo kya Katonda ekitulaga nti okukiriza kwekusooka n'oluvanyuma ebikolwa. Okukiriza kwaffe kuteekwa kukirizibwa Mukama waffe Yesu era okukiriza kwavfe kwekuli tuweesa empeera, kyoka Kitaffe akimany bulungi nti okukiriza kuleeta ebikolwa ebirungi nga obusobozi bw' omubiri bweguli. Okukiriza kugoberera enkola eno; era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. (Abeab 11:6). Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe. Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda? 1Yok 5:4) Tewali muntu yenna asobola kuwangula okuleeka nga ayita mu kukiriza Katonda wamu n'ebisubiizo bya Katonda ebyo byamaaze okutegeera obulungi ddala. Era omuntu ono akiriza Katonda n'ebisubizo bye afuna amaanyi okutambula n'okugoberera enteekateeka y' Omutonzi yonna gyamulaga okugoberera n'okukola kubanga alina obunyweevu mu ekyo kyakiriza. Waliwo obugumu n'obunyweevu nga buno; (2Petero 1:4) ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba. Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera; era ne ku kutegeera kwammwe okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe okugumiikiriza; era ne ku. Bwetumala okukiriza ebikolwa ebyo bigoberera. N'olwekyo engiriza nkulu nyo kubanga abakiriza tebasukuluma busukulumi okusinga bantu b'omunsi amageezi naye banyumirwa okusingawo okubeera abaana ba Kitaffe abasanyukira ebiragiro n'okuyigiriza kwa Kitaffe wamu n'Omwana we Yesu Massia mukama waffe. Era buli mukiriza yenna afuuna amageezi gano yelongoosa. (1Yok 3:3) Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali. Era buli muntu yenna alina essuubi eryo mu ye yeetukuza ng'oyo bw'ali omutukuvu. Oyo yenna anyikira okwerongoosa my mpiisa ze he ateekwa okuba omuwanguzi kubanga yelongoosa my kutegeera kwa Massiayah n'engiriza ya Kitaffe entuukuvu. Amina.
Kyansonga nyo okwawula engiriza ya Massiyah ne ngiriza za bantu, engiriza ya Massiayah yeyo he mwenyini n'abatume be ekumi nababiri gwebatekawo gyetuli my ndagaano empya.. Engiriza za Bantu zezo ezatekebwaawo okusinzira mu nzikiriza (creeds) za Bantu nga bo bwebala era bwetagera mu amageezi gabwe go. Ekyewunyisa engeri y''enzikiriza sino nyingi zikontana n'engiriza ya Yesu Massiayah era engiriza za Bantu bano zonna zinkontana n'ezabanabwe !!! Tekyetagiisa n'omulundi n'ogumu ffe okuddamu okutuwa engiriza endala eyawukana ne ya Yesu Massiayah mukama waffe wamu n'abatume be ekumi nababiri (12) nga omutume bwagamba bwati; Kubanga Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo. Naye obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby'ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe;
(2 Abak 4:6-7) ebibya byaffe ekyakabi bitonya, bwekityo bwetulekerawo okufuna, okuva eri mukama waffe tugwesaawo tyetulina. N'olwekyo tulina okugenda mumaaso nga tufuna okuva gyali lunyiriri ku lunyiriri, kiragiro ku kiragiro ( Isaaya 28:13), bwetutyo tusobole okubanga bulijjo tudda bugya mukutegera enteekateeka ya Kitaffe era Omutonzi waffe wamu n'omwana we Yesu Massiayah nga tukozesa buli buyambi bwona obutuwebwa Kitaffe mungeri gonna nga bwetusobola okugondera ekigambo n'engiriza eya mazima nga omutume Yakobo bwagamba wano nti; Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba.
23 Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu:
24 kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye.
25 Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe. (Yakobo 1:22-25)
Mungeri ey'okubiri tugamba bweti nga era bwetukuraze waggulu, kyandibadde kirungi nyo ddala okuva nti abo abategere ddala obulungi ekigambo kya Katonda waffe omu owa mazima nga bebakyogerako era nga bebawereza gamba abo; abasobola okulaga amazima obulungi, abo abategedde ekigambo my butuufu bwakyo, abo abaaka my mwoyo eri ekigambo kya Katonda era abagoberera amazima gokka nga bwegaragiddwa my ekigambo n'engiriza ya Yesu Massiayah n'abatume ekimu nababiri (12). Abalala bonna abatasobola kola nga abo basirike nga busirisi bamale okuyiga okuva eri aba abategedde ekyaama kya Kitaffe omu owa maxima n'oyo gwetuma Yesu Massiayah. Tewalu n'omu asanidde kuba musomesa w' ekigambo kya Katonda nga tamaze kuyigirizibwa bulungi engiriza ya Yesu Massiayah. Omuntu yenna omunafu atanaba kuyiga sings afuribwa omusomesa w'ekibiina abaluganda nga bakungaanye, newabaawo ebibuuzo bye babuuza endowooza enkyamu zisobola okujja kubanga omusomesa talina ku yigiriza kwa Massiayah okwa mazima g'ekigambo kya Katonda. Tulina ffe abakiriza era abaana ba Kitaffe omu okwewala obulim ba bwona obuyinza okuyingira okuwakanya okuyigiriza kwa Massiayah n'abatume be ekumi nababiri. Mujjukire nti; 19 Kale bwe mutyo temukyali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda,
20 kubanga mwazimbibwa ku musingi be batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bw'ali ejjinja eddene ery'oku nsonda; (Ebefeso 2:19-20)
Omuwendo gwa batume ba Massiayah balagiddwa wano okusinzira ku kworesebwa kwa Yokana; Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga. (Okub 21:14). Omuntu ayinza OK kubuuza obulungi obuza mungeri nga eno? Tuddamu nti; eno yengeri entuufu yokka gyetuyina okugoberera my kuyigiriza kwa Yesu Massiayah.
Singa mu kanisa wabeerawo engiriza oba okubikulirwa okupya okujja okuva eri omukadde oba abasomesa, tugamba bwetuti; owoluganda oyo alina okuyigiriza kuno aweebwe omukisa okumuwuliriza n'obwegendereza, newnkubadde nga ye alina obukakaafu bwona nti kyalina kyetuufu ffe abalina amazima tulina okukebeera bulk mwoyo, kiba sikirungi okugalira owoluganda ebweeru nga tawulirizibwa;
Temuzikizanga Mwoyo;
20 temunyoomanga bunnabbi;
21 mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi;
22 mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23 Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. (1 Abaseso 5:21-23)
Bwewabaawo okugonjora ensonga kungiriza yonna newabaawo okuziyiza omwoyo ekyo kikyaamu nyo eri omukulembe oyo akubiriza okungaano okutuuku okwo. Ensonga emu yokka yo tusaana tugiziyize mungeri yonna singa owoluganda abeera nga ensonga gyayanjula ya munsi nga tel in a kifo my okuyigiriza kwa mukama waffe Yesu Massiayah. Endowooza z'omunsi ezo tetuziwa mukisa bwona waffe n'ogumu bweguti mu kungaana kwa b'oluganda, ekitonde ekigya tulina kukiriza masomo agaava munsi n'munkola y'ensi gamba sayansi w'omunsi eno ey'ekibi mwetuli, Nedda Nedda. Okuyiga kwaffe kulina kiba nga okuva munteekateeka y' Omutonzi waffe yekka era okungaana kwaffe nga ebitonde ebijja tulina okuba nga kuli mu kubikulirwa kwa bwa Katonda era okuyiga kweebyo kubeera namba emu (1) netulyoka tuzaako okutunulira enjawulo eyinza okubaawo mukuyigiriza okwensonga enkulu nga mukama waffe Yesu bweyayigiriza (ebyo tewali alina kukyuusaako wadde akatonyeze) newankubadde okubeera n'ekibuuzo okuyigiriza kwa Yesu kunsonga enkulu ez'omusinge gwaffe ogw'okukiriza. Wabula ku bbaluwa zo tusobola okuzogerako mukungaana kwaffe okwongera okuyiga nga bwekigwanidde. Wewaawo kino tekitegeeza nti tujja kuba kwekyo buli kiseera, nga tudingaana Nedda, lwaki kisobola okuleeta akavuuyo mukungaana kwaffe, okwewala akavuuyo tutuula my kiseera ekigwanidde nga waliwo abaluganda bakulu ddala my kukiriza era singa kisalwawo ekibiina kya b'oluganda nti engiriza sintuufu owoluganda gyalina, kyoka oyo alina engiriza n'atamatila oyo asanidde obutawaliriza engiriza eyo Ku kkanisa, owoluganda awumulire my kids kya mukama waffe Yesu Massiayah, oba olyawo oluvanyumaaa lw'omwaka gumu oba ebbiri, ekkanisa eyinza okuddamu okuwulira ensonga ya muganda wabwe oluvanyuma lw'okunonyereza buli kimu kunsonga eyo.
Tulabula nti sings tewabaawo okugoberera ekyo waggulu akabi kayinza okugwa mu kkanisa; gamba akabi ketulaba my abakiriza ab'ensi (Babylon) bano bagwa tebakyayinza kuteekayo kutu okuwuliriza ba memba b'ekanisa kubanga abakulu bebasalawo kubuli ensonga era tewali mukisa gwona okubuuza n'okebeera omwoyo w'Obunabbi. Abakuli baziyiza era bazikiza omwoyo nga tebatudde okukebeera oba mwoyo was Kitaffe oba setani. Omutume Yokana yabikulirwa bwati; Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi.
2 Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda:
3 na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi. 1 Yok 4:1-3) ate katuwulire okuva my mu mateeka ga Musa omuwereza was Kitaffe gw'eyayogerako nti musa omuwereza wange omwesigwa asinga munsi yonna agamb bwati kunsonga ey'okubeera omwoyo oba gwa Katonda oba setani;
Bwe wanaabangawo wakati mu ggwe nabbi oba omuloosi w'ebirooto, n'akuwa akabonero oba eky'amagero,
2 akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga;
3 towuliranga bigambo bya nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto oyo: kubanga Mukama Katonda wammwe ng'abakema okumanya nga mwagala Mukama Katonda wammwe n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna.
4 Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye.
5 Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe..
Okukula mu amageezi n'okutegera kikulu nyo kubanga kino kigamba nyo nyo okuzula mangu okuyigiriza kwona okutali kwa Massiayah. Omutume Paulo agamba bwati; naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitaano n'amagezi gange, ndyoke njigirizenga n'abalala, okusinga ebigambo akakumi mu lulimi obulimi.
20 Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu. Ate omutume Petero gamba tya; Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
18 Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.
Abolugada bonna ekitonde ekigya tulina okuba mu amageezi Katonda waffe mulinya kya Yesu Massiayah mukama waffe tusobola okuziyiza buli engiriza yonna etaava eri Kitaffe ne mukama waffe Yesu kabona waffe asinga obukulu.
Kyewunyisa nti enkola n'engeri ye biro byaffe yanjawulo nyo ku ngeri y'ekkanisa eyasooka, lwaki kubanga abakiriza abamu bakolako kitundu n'abalala n'ebakolako kitundu kwebyo ekkanisa byendikoze byonna ekyo situufu ffena tulina okukola byonna mukama waffe byeragira mumbujjuvu. Ekitonde ekigya tulina okuziyiza enkola ezo zonna ezitatukiridde nga tugolola olugudo mu mpeenda zalyo entuufu. Kale mugololenga emikono egirengejja, n'amaviivi agakozimba;
13 era mukubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
14 Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama: (Ebeabu 12:12-14).
Newankubadde nga mu buli muntu yenna eyatondebwa alina ekigera kyo kusinza Katonda nga kyamaanyi oba nga kitono. Sings engeri eno yelabirwa neteyimusibwa, ekivaamu okwagala amazima ne Katonda mu birowoozo by'o muntu oyo okunafuyira ddala, nosanga nti omuntu mukifo kyogala Katonda n'omutima gwe gwonna, n'okusiima Katonda n'omutima gwe gwonna, n'amuwa ekitiibwa kyonna, n' amuwereza wessanga nga amaanyi n'amageezi g'omuntu yo gonna gali mu bintu by'amunsi eno, gamba okweyimusa, okwesalamu, okweyawula, okunonya ebitiibwa by'omunsi n'bilinga ebyo nga omutume Paulo bwatugamba bwati; Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba, 20 okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu,
21 ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Awonno ekitonde ekigya tekyetaaga bwetaazi kungaana mu kusaba n'akutendereza byoka nga enkola eyabuli mukungaana wabula okufunayo okungaana okw'okusaba n'okutendereza mu weeki, okungaana okw'okuuwa obujurizi obuva mu ngeri omukiriza gyatambudde mu ne mukama waffe Yesu mu weeki eyo, amasomo gasomye wamu nebimusomozeza ebyo n'engeri gyabiwandudde mu oba jjaremereddwa okuwangula awo abaluganda nebalaba bwebamuyamba okuwangula. Obujjuirizi obukwatagaana n'engeri omuntu gyeyakyusibwamu obulungi naye sibwabuli weeki buwebwa olwolumu nga omwoyo bwaba alungamiza naye sibuli weeki . obujjulizi obukwatagaana n'engeri y'omutima mukissera ekyo mu weeki eyo bukulu nyo okuweebwa okusobola okumanya buli mukiriza bwatambudde okuva mu mukungaana okwayita. Kino kiyamba nyo bonna bakungaana okumanya engeri y'okutambula mu nga ekitonde ekigya okusinzira kwebyo abaluganda byebayitamu buli lunaku. Kiyamba abakiriza omkumanya nti baganda babwe balina essanyu n'ebizibu ebifanagana okwo nebaddamu amaanyi okumanya nti kyebayitamu n'abalala nabo bakiyitamu, nebanywela, nebamalira okutambula mu lugenda awatali kudda mabega. N'ebanyweza obweyaamo bwabwe nti; Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?
Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.
Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.
Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.. Amina.
Okuyita mukungaana okw'obujjuli obwengeri eyo tuyiga mu bujjuvu amakulu g'ebigambo by'omutume Petero; Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo: naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza. Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne:
naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukiriza takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
Kikulu nyo omukiriza okumanyi nti bonna abamukiriza mu kifo kyona kyona bayita mukugezesebwa, okusomozebwa n'obuzibu obwenjawulo bungi ddala, era ffena bwetutyo tuyiga okubeera ab'ekisa eri banaffe, bwekityo omwoyo ow'ekisa bwakula muffe, omwoyo ow'okuyambagana akula muffe era omwoyo w'okwagala - omwoyo omutukuvu. Okungaana bwekutyo mu makati mu weeki kiyamba okujjuzi abaluganda Ku mulamwa gwebayigako nebeyongera okutegera obulungi ddala engeri ennungi gyebasobola okuyita mu ebyo ebibasomoza mu bulamu bwabwe. Kino okiraba nga kirungi nyo era Mukisa gw' amaanyi eri abakiriza gonna okuyiga, ekyenaku Kiri nti newankubadde nga omukisa guno weguli buli weeki wessanga nti abakiriza abasinga obugi okuyiga kino tebakuwa budde, kale nebweba nga bawaddeyo Ku budde bwabwe tebasayo mwoyo obulungi okuyiga newesanga nga okuyiga kwabwe kubeerawo oluvanyuma lwokufuna obuzibu n'ebalyoka bayiga okuyiga mu muliro, n'embeera enzibu nyo newankubadde nga bandisobodde okuyiga mu mwoyo oweddember nga bakungaanye mu wiiki wakati okwezaamu amaanyi n'obujjuri. Katuwe ekyokulabirako singa okyokuyiga kibadde kikwata ku " Mirembe gya Katonda," N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu. (Abafiripi 4:7) buli waluganda aba alina okulaba ngeri Ku ekigambo bwatambudde nakyo mu wiiki mu ngeri y'obulamu bwe ye, era nazzula nti Ku ekimusomozeza era ekimuremeseza emirembe gya Kitaffe okuba mu ye.. Kale abaluganda bwe bagabana kwebyo byebayiseemu eri abo ab'amaanyi wamu n'abanaafu abaluganda bona bafunamu nyo nebayiga okuva eri banabwe abaami n'abakyala.
Mukungaana kino era nga n'okungaana okulala kwona bwekuli, kirungi nyo okulaba nga okuyiga okusinga obulungi okukolebwa buli waluganda okuba n'eddembe nga tewali enkayaana oba okwesalamu era bubeera buvunanyizibwa bwa mu kulembeze okulungamya engeri y'okungaana bwenabeera buli omu namanya obulungi mumbudde buli waluganda n'eyetegeeka bulungi nga omutume Paulo bwa tukubiriza bwati; Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba. Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.
Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala. Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi. Era omutume Paulo atubulira awalala nti; Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola. Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira; n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe.
Omukadde ayina obufunanyizibwa okulaba nga obujjulirwa tebubeera buwanfu nyo obwa buli waluganda kino kisobozese buli waluganda bakungaanye okuba n'omukisa okuwa obujjulirwa bwe, ekilala omukadde ayina okulaba nga okungaana kino okw'obujjulirwa tekuwanvuwa nyo abaluganda kwetamwa kukungaana omulundi omulala, wabula kulina okugwa mu budde nga bwekigwanidde mu enteekateeka. Okungaana kino kulina kuba nga kulembera omukadde oba oyo alina ebisanyiizo ebifanana n'ebyomukadde nga asobola bulungi okuwabula n'okuyamba oyo yenna ayinza okuba nga tasobodde kukozesa bulungi lulimi mu kwogera, gamba ayainza okwogera obubi ku b'oluganda oba okuleeta ebintu ebitali ku mulamwa oguyigibwako. Kyandibadde kirungi nyo okugoberera ekyokuyigako mu kiseera kyaokyo. Lwaki kubanga omusajja ow'omageezi ga Katonda Kitaffe gamba bwati; Omuntu asanyukira okuddamu okw'omu kamwa ke: N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi! Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi. Akiwulira alemenga okukuvuma, Okuswala kwo ne kutavangawo. Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza. Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'ekyobuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda. Okungaana okwo nga kuba kulungi nga kulinga omunt addamu eby'ensonga kubanga afanana n'oyo anywegera emimwa gya Mukwano gwe gwayagala ebyo !!
Awamu ebyo kangambe bwenti; Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.
Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zisanyusa nnyo Katonda. era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi;
obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw'ebibi,
wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe.
Nkwagaliza okuyiga obulungi.
Nze Laban Paul Ssewanyana
Muganda wo mu Kanisa y'e Wakiso.