ENKOLA NE MPISA ZE KITONDE EKIGYA
6th Volume Pg 273 Electing Elders
ENKOLA NE MPISA ZE KITONDE EKIGYA
Bino byetugenda okwogerako; (Amakulu g'okwawula, Abawereza Ekumi nababiri, Abakulu b'eddini, Okulonda Abakadde, Okwawula Abakadde mu Kkanisa, Ani Alonda Abakadde n'abadinkoni, Empiisa mu Kkanisa, Okuyitibwa okwensobi mu kubulira, Okunenya mu lwatu, Okwewala okusasula ekibi olwekibi, Okubulirira mu kwagala, Okukungaana kwaffe awamu, Engeri y'enkungaana zaffe, Enjigiriza e nkulu ennyo, Omukisa ogw'okubuuza ebibuuzo, Enkungaana ezigasa zilagiddwa, Buli waluganda abeera nga manyidde ddala bulungi mu ye, Enkola ey'okuziika, Ekimu eky'ekumi, Ebiwebwaayo, N'obuyambi bwonna.)
Bwe tutununulira essomo lino kirungi nyo okulaga obulungi obumu bwaffe obw'ekkanisa emu eya mazima eri munsi yonna, bwekityo ekkanisa ya Katonda munsi yonna eri emu newankubadde nga eyawuliddwamu mubifo ebyenjawulo naye aboluganda abakungaana mukifo ekimu baba bakikiridde ekkanisa emu eya Massiah.
Ekkanisa eri emu munsi yonna era erina enkola emu (ffena tuli bumu nga Yesu bwali obumu ne Kitaffe naffe bwetuli) buli kitundu kyekanisa kyona kirna Yesu nga Gwemutwe, Abatume Ekumi nababiri zemunyenye era abasomesa baffe Yesu beyasawo n'omukono gwe yenyini era abakozesa nga abogeezi be eri ekkanisa n'okubalungamye obulungi bona yona ekkanisa gyeli mu kiseera kino eky'enjiri.
Buli kibiina kya baluganda oba babiri oba basatu balina kufuba kunonya kwagala kwo MUTWE kubuli nsonga yonna yonna. Abolugnda balina okuba nga balina obumu nabolunganda abalala bonna mu kukkiriza okumu musadaaka yo' Mununuzi ne mubisubiizo byo Mutonzi waffe. Aboluganda balina okufaayo okumanya embeera yabanabwe bweri, basobole okutegera engeri mukama waffe Omulabirizi w'ekkanisa gyayinza okubakozesamu okubawereza. Mukama waffe abeera agenda kukozeesa abo abawereza abwombeefu, abalina okuyayaana okulungi mu mazima, abajudde omwoyo omutukuvu. Bano abajudde omwoyo omutukuvu balina okuba nga betegeefu okukola obuwereza bwona obwetagisa mu Kkanisa yona munsi yonna ekiseera kyona okugaba omukisa gw'ekigambo era emmere mukiseera kyayo eri bonna. Aboluganda balina okujjukira okusubiza kwempeera kunkomerero kweyasubiza enyumba y'okukiriza. (Mat 24:45-47);
Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?
46 Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ngakola bw'atyo. 47 Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.
Kino kitegeeza nti mukama waffe yenyini yamanyi emikutu egy'omukisa era akola nga bwayagala. Aboluganda bonna Ku mubiri gwa Yesu abagatibwa Ku MUTWE balina okuba abanywevu okulaba nga ebisubizo bya mukama waffe bitukirira. Kyoka aboluganda balina okukebera omwoyo, okukebera enjigiriza eya buli muntu ajja gyebali okulaba nga ekwatagana ne ya Yesu wamu n'abatume ekkumi nababiri. Okukebeera omwoyo tekitegeeza kunyoma abo mukama waffe bawadde obubaka wabula okuzuula amazima. Kino kituyamba okumanya nti tetuwuliriza ddoboozi lya muntu wabula ddoboozi lya Katonda nga ayita mu Yesu wamu n'abatume ekkumi nababiri. Abo abakebeera omwoyo nebawulira eddoboozi ly'omusumba omukulu balya Ku mmere y'ekigambo nebafuna okwagala abawereza bonna nebafuka bamaanyi okusinga abalala kubanga bafuna okulungamizibwa okutuufu nebiragiro ebituufu okuva Ku namlondo ya kitaffe.
Obumu buno obwekkanisa ya Messiah, obumu mu kisa, obumu mukuyigiriza okuyita mu bantu batuufu mukama waffe bataddewo, kisobozesa bulungi okukungaanya abalunde be gyali mukiseera ekyokubeerawo kwe omulundi ogw'okubiri (Malaki 3:17, Mat 24:31)
Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza.
Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo.
Bwetugoberera obulungi engeri y'empiisa eyekitonde ekijja tusobola bulungi okuba obumu nga omubiri gwa mukama waffe Yesu.
Enkola esinga okuba ennungi ddala kwekuba nga tusilika obutayogera yogera netubeera nga abataliwo. Aboluganda bwebaba nga batono oba basatu oba batanno oba Kumi oba okusingawo balina kutunulira Yesu okubalungamya okulaba bameeka abasana okuba Abakadde, nga tumaze okulaba abo abasanira okusinzira mu byawandikibwa; abo abasobola okusomesa, si abakakyuka, abamanyi era abakuze mu mazima, abatalina kyakunenyezebwa Ku bulamu bwabwe abalabirira obulungi amaka gabwe era nga balina ekyokulabirako ekirungi eri ekkanisa n'abantu bonna.
Ekibiina bwekiba nga balina ekigambo ekyamazima n'omwoyo wa mukama waffe balina okukiriza ebivudde mu kulonda nti mukama waffe nanyinij Kkanisa alonze abawereza be. Kino tulina okukisaamu ekitiibwa nga tukiriza Abakadde abalondeddwa mukugera kwa Yesu mukama waffe. Abakadde abalondeddwa awatali kubusabusa bebasinga obulungi era bebasanidde okutukulembera.
Wabula kikulu nyo okuleta ensonga y'okulonda Abakadde n'abandinkoni mu kusaba nga okulonda tekunabaawo, wabengawo okulaba n'oluvanyuma abo abeyita ba memba Ku mubiri gwa Yesu (abasajja n'abakazi) abalonde nga balaga okusarawo kwa mukama waffe Yesu.
Abalina okulonda balina okuba nga bebo abenenya ebibi byabwe era balaga okubukakafu bwokukyuka mu bulamu bwabwe nga bafuba mungeri yonna nga bwebasola. Bano balina okuba nga bakiriza ssaddaka y'omutango Yesu gyewaayo nga ekkubo eri batwala mukutabagana ne Katonda, bano balina okuba nga baakola okusalawo okufa awamu ne Yesu nebazikibwa wamu naye era nebafuna essubi eryokuzukira awamu naye. (Babatizibwa, beyawula) okuba abawereza ba Yesu ne kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH. Balina okuba nga bagatibwa wansi wamafuta okufuka abaana ba kitaffe. Bano bebalina omukisa bokka okuba nga basanira okulonda okulaga okusarawo kwa mukama waffe Yesu OMUTWE gw'ekkanisa n'omubiri. Abo y'ekanisa era omubiri gwa MessiaYah naye walino nabalala abatanaba kusalawo, wabula bakiriza omusaayi gwa Yesu, nebano abasobola okubalibwa nga bamemba b'enyumba y'okukiriza abalindirirwa okusarawo essaawa yonna era nebano tubafaako okulaba nga batuuka kumutindo ogw'okubanga bafuna endowooza ya Yesu nebasarawo okufu eri okwagala kwabwe nebazikibwa wamu ne Yesu nebazukira mu bulamu obugya.
OKULONDA ABAKADDE MU KIBIINA KYA BAKIRIZA (ABASAJJA BOKKA)
Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza. Ebik 14:23.
Ekigambo kino wamu n'ebigambo ebilara bilaga bulungi empiisa y'ekkanisa mu kulonda Abakadde mu Kkanisa. Ekigambo Abakadde kitwaliramu a bawareeza bano; Ababuliizi, Abasumba, Banabbi, n'olwekyo tusaana tumanye amakulu g'ekigambo kino "Okulonda Abakadde" enaku zino ekigambo kino kikozesebwa abakiriza abamu nga "omukolo ogwokwawula n'okuteekako abakulu b'eddini" naye kino sigemakulu g'ekigambo kino (kirotoneo) mu luyonaani. Ekigambo kino kitegeeza "okulonda nga owanika omukono" era kino ky'ekigambo kyekimu n'okulonda. Soma mu kitabo " Young's Analytical Bible concordance. Katulabe ebyawandiikibwa ebilimu amakulu g'okulonda; (Yok 15:16) Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.
(2Tim. 2:7) Nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima.
(Isaaya 61:1) Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;
(Ababa 6:1) mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa.
Kikulu nyo okukimanya nti bamemba bonna abomubiri gwa MassiaYah bafukibwako amafata okuva Ku Mutwe era batwala omwoyo Ku mwoyo gwa Yesu ebatyo nebawulibwa mukuwereza kwa mazima okusinzira kukirabo ekiri Ku bulamu bwe. Bwetwogera kulondebwa kwa Abakadde mu kibiina lya bakkiriza ekitonde ekigya nga tuwanika emikono tulaba nga y'empiisa eyagobererwa abatume Okwawula Abakadde wona mu Kkanisa. Engeri eno omutume Paulo ne Siira gyebalondebwamu okugenda okola omulimu gwo kubulira enjiri ebweru w'ekkanisa nga bakilira ab'ekkanisa.
Wewawo Abatume batambula nga awatali kusalawo kwa Kkanisa bwebafunanga okuwereeza okwamangu. (1Tim1:15) abekkanisa babalekera eddembe okusalawo ekyokola ng'omwoyo omutukuvu bweyabalungamyanga. Kyoka olumu nga ekkanisa esobola okusalawo oba okugaana Abatume newankubadde nga bebakiise babwe oba abakulembeze babwe.
Tewaliwo kwawulibwa kwa Abakadde okuli mu ndagaano empya okuleka kino okukolebwa okuyita mu kulonda. Katubuuze waliwo engeri gonna ey'okuweebwa obuyinza okubulira enjiri? Abakiriza bangi okwawulibwa bakutwala nga okuwa obuyinza eri omukadde alyoke awereeze. Mazima situufu nti okwawula Abakadde kitegeeza kubaawa obuyinza Nedda sikituufu. (Tito 1:5) Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga nga nze bwe nnakulagira;
omuntu bw'atabangako musango, ng'alina omukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataloopebwa nga balalulalu, so si abatagonda.
Bwotulira ekigambo kino tulabanga Tito yaweebwa amaanyi okuteekako Abakadde awatali okusalawo kwa Kkanisa! Era bangi basalawo okuteekako abawereeza gamba Abakatoliki, Methodist, Epsicapal, Pentecostal, nabalala bangi. Bona bagamba nti Abalabirizi (Bishops) balina obuyiza okusalawo watali kwagala oba kulonda kwa bamemba b'ekkanisa.
Wabula bwewetegereza ekigambo kino okizuulanga waliwo ekibulawo kubanga omutume Paulo yagoiberera enkola entuufu, webuuza kisobooka kitya okuba nga Paulo akola kilala ate ne Tito akola kilara!! Tekisobooka wateekwa okubaawo ensoobi mukuvunura.
Omutume Paulo yagoberera enkola eno (Ebik 14:23) Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza. Kino abutume ne Kkanisa wonna wonna y'enkola gyebagolera.
Tewali waluganda asaana kutwala buvunanyizibwa mu Kkanisa wonna wonna nga talondeddwa baluganda newankubadde nga tewali nsonga yonna eri kubulamu emulemesa okuba omukadde. Kigwanidde okutegeera nti aboluganda bonna batekwa okugoberera obulagirizi bwe ekigambo kya Katonda ekiraga okulondebwa okulonda kwa Abakadde n'abandinkoni nga tukozesa enkola entuufu eyokulonda Abakadde nga tuwanika emikono. Okusaawo okulonda nga tenaba kuwereeza kyetuufu era yenkola gyetulina okugoberera ebyawandikibwa; kino kinyweza omukadde ate nekijukiza ekkanisa emirimu n'obuvunanyizibwa bwayo nga abalonzi abakirira mukama wabwe mu kulonda kwa Abakadde ekkanisa yetukiriza okwagala kwa Katonda. Kino kyongera okuwa ekkanisa omukisa okulagana obulungi n'Omukadde mu bulk ekigambo kyonna nga omuwereza wabwe era omukiise wabwe mu bwakabaka Katonda.
Kiyamba Abakadde okumanya nti bano sibantu be wabula bantu ba mukama bawereeza era tawereeza bwayagala wabula Katonda byagala mu linya lya mukama waffe Yesu byakola era byagoberera.
Lwaki enkola eno eyokulonda Abakadde tetegerekeka bulungi era negobererwa? Lwansonga nti abantu mubutunde bwabwe bagala ekitiibwa n'okugulumizibwa kale ekigambo bwekigenda eri abantu bano abalina ekitiibwa era abamanyi munsi bawulira nga tekisobooka kwetowaza wansi we mukono gwa mukama waffe nebakola byebagala. Kyanaku nyo nti abantu abakiriz bangi barowooza nti enkola ya Babuloni yesinga obulungi era yentuufu abatanasooma okutegeera ekigambo kya Katonda.
EBBANGA OMUKADDE LYAMALA NGA AWEREEZA (EKISANJA)
Tewali kyogerwako mu ebyawandikibwa ekikwata kubanga Abakadde lyebaggwanidde okumula mu kisanja: Tulibaddembe okusalawo ekisanidde kunsonga eno. Abakadde abamu babeera abantu abakulakulanye mukuwereeza kwe kkanisa, era bayinza okuba nga bamugaaso nyo gamba Ababuliizi, Abasomesa, Abasumba, abakyala abakulu mu Kkanisa bank bebabeerawo oba balondeddwa oba Nedda abatume babogerako nti bantu bakitiibwa Abakadde abalondeddwa nebweba nga bafunye obuzibu bano abantu abakulu bayamba ekkanisa okugenda mu maaso.
Kyoka ekisanja kiyinza okumala Omwana, oba ekitundu ky'omwaka ekiseera kino ekitono kiyinza okuyamba Abakadde okwegendereza nga bawereeza ekkanisa ya Katonda. Wabula kigwana nyo buli bamemba b'ekkanisa okwesalirawo ebbanga lyebalaba nga ligwana (kisanja).
ABAKADDE BASANA KUBA BAMEKA MU KKANISA?
Omuwendo gw' Abakadde sigwasalira okusinzira ku byawandikibwa, omuwendo gw' abakadde gusinzira ku bunene bw'ekibiina ate era n'omuwendo gwabo abalina ebisanyizo ( tewali n'omu alina okulondebwa nga ekkanisa telina bukakafu mu bigamba ne bikolwa ebyomukiriza yenna oyo ayagala okuba omukadde, ateekwa okuba nga waliwo obukakafu okuva mu aboluganda nga omuntu oyo yafa eri okwagala kwe mulwattu nga yakola akabonero akokubatizibwa okumala ebbanga eriwerako) nga alina obujjulirwa bwa aboluganda, bweba nga bonna balina ebisanyiso basobola okulondebwa nebawereeza aboluganda. Buli Kkanisa yonna yonna erina okuba nga ssomero lya mukama waffe. Abakadde bonna abakwatira abalala obujja omuwereza tulina okubatwala nti banafu era tebasobola kola mulimu gwa Abakadde. Tubajjamu obwesige netubawumuza Ku mulimu gwa mukama waffe. Ate Oyo akyali omupya mukukiriza eyakyuka talina okulondebwa mu kuwereeza kw' Abakadde. Ekkanisa erina okulonda nga Yesu mukama waffe bwabasubira okulonda nga bakozesa omwoyo w'okwagala n'amazima ne bakola enkyo kabona asinga obukulu kyayagala.
Kino kikulu nyo aboluganda nti situufu nakamu okulonda Abakadde mu Kkanisa wonna nga tewali nomu alina bisanyizo, bwetwesanga nga tewali n'omu asanira okulondebwa okuba omukadde, tusanidde obutalonda okusinga okulonda omukadde atasanira kiba kibi nyo, tusaana okukyewalira ddala ddala. Kirungi nyo obutaba n' Abakadde okusinga okulonda atasaana. Okungaana kakubeere mungeri yabulijjo nga baibulinba ekitabo kyona (text book) Omusumba Russell CT ababeere omukadde wamwe.
ANI ASOBOLA OKULONDA ERA TULONDA TUTYA?
Ekkanisa yokka (omubiri - Abasajja n'abakazi) ekitonde EKIGYA abo bebalonzi. Abamemba abalala ebenyumba y'okukiriza abatanaba kweyawula mu kuwereeza okwabwe tebalina mugabo mubuvunanyizibwa buno obw'okulonda; kubanga okulonda kuno okuba kusalawo kwa mukama waffe Yesu nga akozesa omubiri gwe. Abeyawulira Katonda belonda books abalina omwoyo wa mukama waffe. Omu Ku bamemba awaayo erinya nerisembebwa era tuwaayo ekiseera okusaba gamba weeki namba nga tulindirira omukama waffe okukakasa abawereza be Ku murimu.
Abamu bagamba nti okulonda kwandibadde kwa kyaama aboluganda basobole omusalawo mu ddembe bulungi eri omuntu gw' ebagala. Tuddamu kino nga tugamba nti, oba mu bulungi oba mu bubi obusobola okubaawo nga okulonda kuwedde; gamba okusiwuka empiisa n'okwolesa embara etali nungi, tetusobola kuva Ku ekigambo lya Batume "ekyokuwanika omukono" bulk memba yenna alina okuyiga okuba ow'omusana, mukwagalana and nga mwesimbu. Tusanidde okujjukira nti okulonda kuno Katonda yenyini mu linya lya Yesu yalonda Abakadde. Kuno okuba kusalawo kwa Katonda sikwabantu kati tulina okulera mu musaana. Tewali n'omu alina kankakana oba okurowooza obubi ku aboluganda tukola Kuteesa n'okwagala kwa Katonda sikwaffe.
ABANGI BEBASALAWO?
Munkola ey'ensi eddobozi elya bangi lyelisalwo; naye amazima sibwekigwanidde okuba mu Kkanisa ya Yahweh era omubiri gwa MassiaYah. Kino kyekitelebwa munkola, aboluganda balondebwa mukukanya n'omutima gumu awatali kwesalamu abo bonna abalina ebisanyizo ebyokubeera Abakadde nebawereza nga tetusinzila kwani assinga omulala wabula bonna abalina obusobozi. Abamu bayinza okufuna obuwagizi bwa bangi ate abalala basobola okulondebwa bonna abomukibiina, bonna bawereeza awatali kwesalamu. Wabula ab'ekakkanisa bayinza okusalawo ku muwendo oba babiri oba basatu oba abasingawo nebabawereeza mu mpaalo aboluganda bonna nebaba nga bakiriddwa mu kibiina. Era bwewabawo okwagala okwamazima mu Kkanisa era nga aboluganda batambulira mu mazima ga mukama waffe Kiveera kyangu ddala okuyita mu kusaba okulaba aboluganda abasanidde newankubadde nga bonna balina ebisanyizo n'ebirabo mukuwereeza. Mujjukire nti bulk kimu tukikola bwetuti;
(Abafiripi 2:3) temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; (Abafeeso 4:1-3) Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa, n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza,nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
Era mu ngeri yemu abaddinkoni balondebwe (abaami n'bakyala) about abalina embala ennungi era nga abalina ebisanyizo bino;
(1Tim 3:8-13) Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu;
9 nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
10 Era nate abo basookenga okukemebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
11 Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna.
12 Abaweereza babeereaga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo.
13 Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
OMUWEREEZA OKWENJAWULO.
Nga bwetulabye nti Abakadde balina ebisanyizo n'birabo eby'enjawulo abamu nga basinga kubananbwe mungeri ez'enjawulo, abamu mukusomesa, abalala mubunabi oba mukwogera, abamu mukubulira enjiri era nga bamuyimusa aboluganda abalala basaumba nga balabirira ekisibo mu ngeri ez'enjawulo. Omutume Paulo alaga Abakadde b'e Kkanisa engeri gyebalina okola mu obuwereeza bwabwe nga abawanika ab'esiggwa. Ekigambo bye bikulu nyo okukwata nga twegendereza n'emukusaba eri bonna abatwala okuwereeza okw'obukadde, agamba bwati;
(Ebiko 20:28) Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini. Okirabye ekyo!! Abakadde balina okusooka okwekebeera bo b'enyini sikulwa ekitiibwa kibaletera amalala n'ebefuula abakama oba abakulu eri ekisibo kya mukama waffe Yesu, nebatwala obuyinza bwa nanyini ekisibo omusumba omumkulu !! Okulisa ekisibo ogwo murimu gwa mukama waffe Yesu nga bwetukiraba mu (Isaaya40:11) Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
Kale ow'oluganda bwa londebwa okuba omuwereza oba Omukadde w'ekkanisa, abeera akikirira Omusumba Omukulu okubeera omukutu mwayisa obubaka n'emmere eri ekisibo mu kiseera ekituufu ku bigambo eby'edda n'eby'omumaaso.
(Jeremiyah 23:1,3,4) Zisanze abasumba abazikiriza abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange! bw'ayogera Mukama.
2 Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera bw'ati eri abasumba abaliisa abantu bange nti Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.
3 Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala balyeyongera.
4 Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba balibula, bw'ayogera Mukama.
OKUTEKEBWAKO EMIKONO GYA BAKADDE
1. Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu
n'okuteekebwako emikono gy'abakadde. (1Tim 4:14).
2. Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda
Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne
Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e
Antiyokiya; 6 ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako
emikono. (Ebiko 6:5-6)
3. Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba
ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni
eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo. Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.
Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.
(Ebiko 13:1-3)
4. Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu. (1tim 5:22)
5. Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula. (Ebiko 19:6)
6. Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu.
Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza
ng'agamba nti Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu. (Ebiko 8:17-19)
7. Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange.
Bwekityo tusaamu ekitiibwa okutekebwako emikono gy'abakadde mu kkanisa nga bweturabye nga kikolebwa abatume mu Kkanisa. Emikono gyitekebwa okuboluganda okubakakasa eri ensonga gonna eyobuvunanyizibwa ebeera ebatumiddwa okola.
Ekyokulabirako Ku Timoseewo (Ebiko 21:15-19) Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu ne tulinnya e Yerusaalemi.
16 Era n'abayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'edda, agenda okutusuza.
17 Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batusembeza n'essanyu.
18 Ku lunaku olw'okubiri Pawulo n'ayingira wamu naffe omwa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo.
19 Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe. Abakadde bonna bakiriza wamu omurimu mukama gwakoze nga babasaako emikono nga akaboneero akokiriza emirimu mu mukono gwa Paulo ne Timoseewo.
Abadinkoni bwebatekebwako emikono tebaweebwa buyinza okubulira enjiri okubanga tewali muntu alondebwa okubuliira enjiri naye ffena abakiriza twayitibwa Katonda okukikola wabula ffena tetwayitibwa kuba Badinkoni, n'olwekyo abatume bwebateeka emikono ku Bandikoni Bali babakaka ku buvunanyizibwa bwa Kkanisa okuyamba ku Abakadde omuwereza. Omukiriza yenna bwafuna okufukibwako amafuta ag' Omwoyo Omutukuvu affuna obuyinza okubulira enjiri nga bakozesa ebirabo n'omukisa gwonna ogwokuwereza oguba gufunise. Ekyokulabirako tulaba Setefaano awatali kumuwa lukusa lwonna oba bbaluwa yatandika okubulira amawulire amalungu Ebikolwa bya batume essula ey'omusanvu. N'olwensonga eyo abadinkoni okutekebwako emikono abatume kali kaboneero akokukakasa omukisa ku bulamu Bwabwe okuwereza.
Era kituufu nti Paulo he Barunaba okutekebwako emikono tekyali kubawa lukusa oba buyinza okubulira amawulire amalungi, bano bali balondebwa dda okuba Abakadde b'ekkanisa bali babulira era ng'a basomesa. Ekyokulabirako;
(Ebik 9:20-29, 11:26)
Amangu ago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo ye Mwana wa Katonda.
Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti Si ye wuuno eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.
Naye Sawulo ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi n'akwasanga ensonyi Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng'ategeereza ddala nti oyo ye Kristo.
Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta.
Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'ekiro okumutta.
Naye abayigirizwa be ne bamutwala kiro ku kisenge, ne bamussiririza mu kisero.
Bwe yatuuka e Yerusaalemi n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa: ne bamutya bonna, nga tebannaba kukkiriza nga naye muyigirizwa.
Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu. N'abeeranga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi,
(Ebik 11:26) Bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
Bwekityo okutekebwako emikono abatume kyali litegeeza kusaamu ekitiibwa omurimu ogw'okuwereza kwebali bagenda okukola.
Timoseewo okutekebwako emikono bawereeza banne mu Kkanisa kyali kitegeeza kabonero ka ku musaamu kitiibwa olw'omurimu gw'okuwereza asobola okubeera n'obuwagizi mu murimu.
Mu kuwereeza kwaffe tewali yetagaaga bbaluwa oba ekiwandiiko ekyenjawulo ekimuwa obuyinza okubulira enjiri okubanga obuyinza bwonna buuza eri Katonda mu linya lya Yesu. Abakola bwebatyo tebagoberea nkola ntukuvu ey'eggulu. Abatume n'ab'ekkanisa eyasooka tebakikola naffe tetuyinza okukikola. Okigeera eky'okubulira enjiri ekiva ku kigeera eky'omwoyo he birabo ebituweebwa okuva eri ye omugabi w'ebirabo ebirungi.
ABAWEREZA BALINA OKUSASULWA?
Obuwereza obw'okusasulir enaku sino webuli era abangi bakola bwebatyo, oyinza okuyamba nti y'enkola egobererwa abangi, kyoka eno siyali enkola b'ekkanisa eyasooka. Mukama waffe n'abalonde be Ekumi nababiri (abatume) abali balina ekisa ekimala okumanya tebakolera empeera yansimbi omurimu gw'okuwreza. Wabula okuwangayo okwakyeyagalire eri Abalevi nga enkola ya BayudaYah bweyali bagenda nakyo mumaaso. Abayigirizwa balina ensaawo yabwe eyakwatibwanga Yudah; (Yok12:6) Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu. (Yok 13:29) Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti. Mazima bano tebabulwa kintu kyonna kyebetaaga okukola omurimu gw'okuwereza atera tebasabiriza buyambi bwonna babeera n'ebibamala. Mukama waffe Yesu wamu n'abayigiriza besiga Katonda okugabirira, abakyala ab'esigwa n'ebawereza mukama waffe n'abatume.
(Mat 27,55,56) Waaliwo n'abakazi bangi abaayimirira ewala nga balengera, abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, abaamuweerezanga:
56 mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.
(Luke 8:2,3) n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu,
3 ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina.
Abaluganda okuyigiriza kwa mukama waffe Yesu tekwalimu kusolooza sente n'abyabugagga. Wabula tulaba nga mukama waffe wamu n'abayigiriza be babeera bawereeza abateyagaliza bintu wabula abamalirira okola ekyo kitaffe kyayagala, okujjako omu Yudah eyayagala ebintu era tulabanga yalemererwa omuwereza owe (Yok 12:5-6). Okwagala essente n'enbitu n'okusabiriza sente okwa Babylon leero kuva munkola ey'obutayagala kuyiga mazima okufuna omwoyo ow'amazima. Kino kitekawo abakiriza abatalina mwoyo Omutukuvu abanonya ebya bwe gamba okunoonya sente okuba mu bakkiriza. Bwekityo mu kiseera kino ekya makungula mukama waffe wali okugabirira omurimu gwe atali kusabiriza buyambi okuva abakiriza oba gavumenti oba aboluganda.
Abo abalala amasanyu n'ebyobugagga babunonye nga bakola eby'obusubuzi n'amakolero naye simu enjiri ya mukama waffe ey'ekitiibwa; naye waleme okubaawo n'omu afuuka omuwereza w'enjiri ya MassiYah okuba mimics rendered as ekilala kyona okuleka okwagala Katonda, Yesu n'amazima g'ekigambo kye wamu n'aboluganda: Okwagala okusanyukira mu kuwaayo sadaka y'obulamu bwaffe eri mukama waffe n'ekitaffe ey'obuwereza bwaffe bw' amageezi nga tuwaayo, obugagga, ekitiibwa ekiva eri abantu, emasanyu g'ensi, emikwano, ebirungi nebirala. Wabula abakiriza b'omunsi bino by'enyni byebanonya era bangi befunidde ekitiibwa ebinene enyo gamba; (Reverenda, Very Referenda, Most Referenda, Doctor, Senior Pastor ) n'ebirala bulk ekitiibwa n'omusala sikuyamba omuwereza eri obwetaavu bwe wabula okulakulanya omuwereza mu byobugagga asobole okungaanya bangi okumwegatako abeere n'kibiina ekinene, enkola eno evuddeko bangi okuba banabi b'olimba, abasomesa ab'obulimba, abawereza ab'omululu;
(IsaaYAH 56:10-11) Abakuumi be bazibe ba maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baagala okubongoota.
Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
(Mika3:11) Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako.
(Abafiripi 3:2) Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala:
(2Tim 4:3-4) Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.
Omutume Paulo atuwa eky'ekulabirako mukuwereeza owe (2Abak 12:14-15)
Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?
Nga tugoberera mu bigere bya Yesu n'abtume tewali wetulaba ng'abawereza basasurwa, era kiragiddwa bulungi; (Ebik 20:33-35) Seegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.
Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.
Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.
era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda bwe baava mu Makedoni, baatuukiriza ebyali bimbuze; ne mu byonna nneekuuma obutabazitoowereranga, era nneekuumanga bwe ntyo. (2Abak 11:9).
Mazima eddembe lyaffe mukuwereeza lyelimu ddala ddala ng'abatume era nab'ekkanisa eyasooka, ekyo kitegeeza nti tulina okutambula nga bwebatambula munsonga zonna ez'okuwereza. Mukama waffe Yesu, abatume n'abawereza abalala bonna abatambula nebawaayo obulamu bwabwe, obudde bwabwe eri obuwereeza bwa mazima bakiriza nga ebirabo ebyabaweebwanga mukweyagalira okuva eri aboluganda okubayambako mu byetaago.
Tewali bakadde bonna eb'ekkanisa wonna wonna abali bawereza nga baweebwa omusaala oba ensako olwokuwereza, kino kirungi nyo ddala ekkanisa okubeera n'omuwereza atakolera mpeera. Omuwereza yenna atunulira mukama waffe Yesu eyamuyita ku mulimu neyesiga Katonda okumuyamba okumulabirira' sikituufu okukozesa ekirabo kyolina okufunamu amagoba oba okusalawo okumuwereza ng'abakusasula.
Mukama Katonda ow'ekisa agate omukisa ku kigambo kino.
Bivunuddwa muganda wamwe
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclessia