EWEEMA ESSULA EY'OKUNA (Chapter IV Tabernacle Shadows)

"OLUNAKU OLUKULU OLWOKUTANGIRIRA EKIIBI"
Tulusooma Mu Kyabaleevi 16:3-33; Tugenda kulaba enkola n'amakulu g'olunaku luno, amakulu gokuyingira n'omusaayi Mu watukuvu wa watukuvu, Akawuwo oba evvumbe eliwunya obulungi, Okuyingira awatukukuvu ennyo, Ssedume w'ente, Embuuzi ya Mukama, Embuuzi ya azezeri wamu n'okuwa omukisa abantu ba Katonda kitaffe YHWH.
Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkufbira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala.
Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri.
Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu.
Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe:
awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi:
awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa:
awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu.
Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira:
era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
So temubanga muntu mu weema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri.
Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu: awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese: era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu.
Awo Alooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo:
awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
N'oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama.
Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe: lye tteeka ery'emirembe gyonna.
Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu:
era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
Olunaku olwokutangirirako ekiibi lulina okuba nga lutwalibwa nga lwanjawulo nyo era nga lwawulibwa kubisikirize ebilala byona ebya weeks. Mazima bulk kintu kyonna ekya weeks kyanjawulo okuva kukinewakyo era kirina amakulu gakyo n'okuyigiriza kwakyo, kyoka byonna byonna bikiriziganya era bikwatagana bulungi bulk kimu nekinakyo. Byonna byona nga balina amakulu agasonze ku Mutwe (Yesu Messiah me Kanisa ye).
Okutegeera obulungi amakulu g'olunaku olwokutangirira ekiibi n'emilimi g'olunaku luno tuteekwa okumanya nti Yesu Omwana wa kitaffe Omukulu ye Kabona Omukulu owa bakabona bonna ab'ekanisa eyomurembe guno ogw'enjiri, era bakabona bano gwe mubiri gwa Yesu Mukama waffe, kyoka atera Yesu Mukama waffe gw'emutwe gwe Kanisa era ffe tuli bitundu bya mubiri gwa KABONA OMUKULU nga Aaron bweyali Kabona Omukulu eri Bakabona beyawereza n'abo Muweema kyoka yalifukibwako amafuta okubeera Kabona Omukulu ow'abantu bonna Yisirali eyali ekikirira abantu ab'omunsi abali betaaga okutangirira okugibwako ebiibi basobole okudda munkolagana ennungi eyokugonda okuwereza Kitaffe YHWH OMUKULU owamaanyi.
Nga bwekiri nti okwawulibwa kwa bakabona kwabonna abakola ebitundu by'omubiri gwa Massia, atera nga omulimu guno gutwalira ddala ebbanga ely'omuerembe gw'enjiri ogwona bwekityo omulimu okwokutangirira oly'ekibi n'okuwaayo ssadaka olw'ekiibi gutandika me Yesu Mukama waffe Omutwe naffe ebitundu by'omubiri gwe naffe n'etugabana kubonabona Mukama waffe kweyatulekera okumugoberera mu bigere bye. Era okubonabona kuno kutwalira ddala ekiseera n'omurembe gwonna ogw'enjiri nga bwetusobola okukirba mu;
(1Petero 4:13) naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
(Abarumi 8:17) naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.
(2Abako 1:7) era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tumanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.
Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu: (Abafiripi 3:10, Abakolosayi 1:24, 2Tim2:12, 1Petero 5:1,10).
Olunaku "olwokutangirira ekiibi" mu kisikirize lwali lunaku lwa ssaawa abbiri munya (24 hours), kyoka tulaba nga mukitukiridde ekyomwoyo nga nga murembe mulamba ogw'enjiri gwona lwe lunaku olwokutangirira ekiibi. Era nga omurembe ogw'enjiri bwegugwaako omulimu ogw'okutangirira gukooma awo, olwo ekitiibwa, n'omukisa n'ebitandika nga Kabona Omukulu ow'ensi (Yesu n'omugole we nga bagatiddwa wamu Omutwe n'omubiri) bonna bayimirire Kabona Omukulu wamu ne bakabona abawereza wansi we okuba KABAKA era KABONA mungeri ya Melkizadeki nga bwetukiraba mu (Abebulaniya 5:10) nti Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
Mukiseera ekyo Yesu Mukama waffe Omutwe era Omwana wa kitaffe Omukulu aliyimirira kunsi (nga bikulwa eri bonna naye nga talabika n'amaaso ga mubiri) nga so KABAKA na KABONA OMUKULU kyoka, nga NAABBI OMUKULU "Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba. Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga. (Ebikolwa 3:22-23). Kino kiribaawo ddi mu myaka olukumi egyebufuzi bwa Massia wamu n'eba Kabona be, olwo nga Naabbi OMUKULU, KABONA OMUKULU era KABAKA asomesa bonna ab'omunsi okutegeera amazima bonna basobole okutegeera n'okugondera kitaffe YHWH OMUKULU era abali lemererwa balizikirizibwa okuva munsi nga bagenda mu kufa okwokubiri (Second death).
Kunkomerero y'omurembe gwa Bayudayah Yesu Omwana wa kitaffe Omukulu yewaayo yekka eri Yisirili nga NAABI, KABONA era KABAKA nga akola emilimu Gino;
Nga NAABI yasomesa nga KABONA yewaayo yekka kyetusooma mu (Abebulaniya 7:27); atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. Nga KABAKA yebagala Ku Ndogoyi nayingira Yerusalem ekibuga ekikulu nga amaliriza obuwereza gwe munsi omurundi gwe ogwasooka okujja (Matayo 21:5-9) Mubuulire muwala wa Sayuuni nti Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, N'akayana omwana gw'endogoyi.
Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira
ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; n'azituulako.
Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo.
Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava ennyuma ne byogerera waggulu, ne bigamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Ozaana waggulu mu ggulu.
Wewankubadde ebyo byonna byaliwo kyali kyanaku nti sibangi abamutegeera Yesu Omwana wa kitaffe YHWH OMUKULU nti yali Naabi, Kabona era KABAKA.
Mukiseera kino eky'engiri eKanisa ya Yesu Mukama waffe, Omubiri gwe bokka bebasobodde okumutegera nga Omusomesa eyaava eri Kitaffe YHWH OMUKULU newankubadde nga siKanisa yokka yelina okumutegera, naye abantu gonna bagenda kumumanya bulungi nga ekkanisa emaze okugatibwa awamu obulungi ne Omutwe gwaayo Massia Omwana wa kitaffe YHWH OMUKULU.
Mukwawulibwa kwa bakabona mundagaano enkadde twalaba Aaron n'abaana be bakirira Mukama waffe Yesu Omutwe wamu n'eKanisa ye Omubiri gwe about abayitibwa ekitonde ekigya, ssedume w'ente nga ekikirira obulamu obw'omubiri, kyoka kati mukitukiridde; Aaron n'ebatani be kye Kibiina ekyabo abafukiddwako amafuta (Omutwe n'Omubiri) kyoka ente n'embuuzi biragga enjawulo newankubadde nga bilaga okubonabona owe kumu Omutwe n'omubiri nga gonna bawaayo okuwereza olwokutangirira ekiibi.
OLUNAKU OLUSOOKA OLWOKUTANGIRIRA -ENTE
Ente yari ekikirira Yesu nga amaze okuweeza emyaka asatu (30) omutu atukiridde eyewaayo yekka okufa Ku lwaffe. KABONA OMUKULU nga bwetumaze okulaba nti Yesu eyafukibwako amafuta kitegeeza Yesu Omutwe era n'omubiri gwe bamanyibwa kitaffe YHWH OMUKULU okuva kukutondebwa kw'ensi. Enjewuulo eri wakati w'ekitonde ekigya n'omuntu ow'omuka eteekwa okulagibwa bulungi kubanga omuntu Yesu eyewaayo kuba omutango Ku myaka 30 yeyatondebwa (mukitibwa eky'omuggulu) era nga mugagga naye kulwaffe yewaayo naleeka ebitiibwa, nafuka omwavu kulwaffe bweyayambala omubiri asobole okuba omutango ogwetagiisa okununula omuntu Adam ne abaana be Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.
Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu. (1Abak 15:21-22)
Olwokuba nga ekibonerezo ky'omuntu kwali kufa kyalikigwanira omununuzi okufuuka omuntu (okwambala omubiri) awatali ekyo kyalitekisobooka. Omuntu Adam yayonona era ekibonerezo ekyamuweebwa kyakufa, n'olwekyo kyalikigwanira Yesu okufuka omuntu nga Adam alwoke asobole okusasula omutango ogwetagisa era asobole okudda mukifo kya Adam awatali ekyo kyalitekisobooka omuntu okununulibwa. Okuteesa kwa kitaffe YHWH kutulagibwa mu (Yokana 1:14) Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
(Isaaya 53:10) Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
Bwekityo engeri Messiah Yesu gyeyewaayo okuba omutango, okununula omuntu Mu kiibi Yesu bweyafa era nazzukira kyali tekisoboka ate bwe yazukira okuddamu okuba mu kitiibwa ky'omuntu. Kale yebazibwe Kitaffe Katonda omuyinza webintu byonna kubanga saddaka gyeyawaayo yali ya Mirembe n'amirembe okununula Adam ne zadde lye okuba mubisibe me komera ely'okufa era nga ekyo kyali ekibonerezo ekyokulya ekibala. N'olwensonga YHWH olwokuba yali nga agenda kumuwa ekitiibwa yalina okumuwa obulamu n'ekitiibwa obutali bwa kunsi obutali bwa kitiibwa.
Eno yali enteekateeka ya YHWH eri Omwana we Yesu Massia, okumugumiriza okusinga omuntu gwe yanunula era nga alina okumuza Mu kitiibwa kye ekyasooka ekyo mu Ggulu ekisinga bamalayika n'abobuyinza, n'abamasaza bweyamugulumiza n'amutuuza ku mukono ogwa dyo namuwa okusikira obulamu bwa YHWH kitaffe omuyinza w'ebintu byona. Kale bino n'essanyu eddala elyatekebwa mu Yesu mu maaso he bweyamala okugumikiriza omusalaba munsonyi nga bwekiragiddwa mu (Abebula 12:2) nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.
(Abafiripi 2:9) Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi,
(Abebu1:3,4) oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu;
ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo.
Obulamu obugya Mukama waffe Yesu bweyafuna obwekitiibwa mukifo ky'obulamu obw'omuntu era nga empeera olwa sadaka gye yawaayo bwebulamu obwa obwokuba Kabona. Wadde kituufu nti sadaka Yesu gyeyawaayo teyatukirira okutuusa nga kiwedde Ku musalaba (Ku muti) era n'ekirabo oba empeera nayo teyatukirira okutuusa okuzukira nga enaku satu zimaze okuyitawo kyoka mukulaba kwa kitaffe YHWH kyali kiwedde Mukama waffe Yesu bweyawaayo yekka nga sadaka (ente ssedume) nga alaga ekifanaanyi kyokufa kwe Mu kubatizobwa. Owa kimubalibwa okuba nga afudde eri obulamu obw'okunsi n'ebigendererwa byo obulamu munsi muno gamba ekitiibwa, obugagga, obufuzi, amasanyu, okuwasa n'okuzala, bwekityo mungeri yemu kitugwanidde okufa eri obulamu n'ebitiibwa ebiri munsi muno nga Omutume Paul bwatulaga mu (Abarumi 6:11) Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
Kale ekibi kiremenga okufuga nu mubiri gwammwe ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo: so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.
Mukama waffe Yesu okukirizibwa kitaffe YHWH omuyinza w'ebintu byonna, mukiseera ekyo kweyawula, n'okukiraba nga ekiwedde era nga omufu, kyakakasibwa nga afukibwako Omwoyo Omutukuvu nga akabonero akakasa nti Mukama waffe Yesu okukirizibwa kitaffe YHWH. Bwekityo tukiraba nti okutibwa owe ente enume kwali kulaga kufa kwa Mukama waffe Yesu Mu kiseera eky'okufukibwako amafuta nga juzibwa Omwoyo Omutukuvu. Bino ebigambo bimwogerwako nabbi mu (Abebu 10:7,9,14) bwebiti;
Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda. Era bwati nti
Kubanga olw'okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa.
Muzima okutibwa kwa ssedume w'ente olw'ekibi kwali kulaga emyaka essatu n'ekitundu Mukama waffe Yesu gyemala nga mubuwereza nga giraga bulungi ddala nti byonna ebyo mubulamu bunk kunsi yali abiwaddeyo okuvira ddala mukaseera akokubatizibwa.
Mukama waffe Yesu nga maaze okujuzibwa Omwoyo Omutukuvu, mukiseera ekyo yali kitonde kigya mu obulamu bwa YHWH kitaffe omuyinza w'ebintu byonna (waffe nga yali tanazzukira) era awo mumbeera eyo yayogera ebigambo bino mu (Yokana 14:10,24)
"Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi." Era n'ewano bwati;
"Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma."
(Lukka 22:42) ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe. Bwatyo Mukama waffe Yesu neyewaayo nga sadaka nga atukiridde bulungi nga omuntu nga talina kibi.
Kale tufube okwetegereza amakulu g'olunaku olwokutangira tusobore okutegera obulungi; Aaron yanazibwa amakulu nti abeere nga mulongofu nga talina kibi, bwekityo Omutwe n'omubiri bya Mukama waffe Yesu biteekwa okuba nga tebilina kibi nga Omutume (1Yokana 3:9) Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we.
Ekitonde ekigya tekikola kibi era omulimu gwekitonde ekigya kwekuuma bulk kiseera okulaba nga omuntu omukadde n'ebikolwa bye tebiddamu okuba n'bulamu muye omulundu ogwokubiri. Kubanga omuntu omukadde gwagabana obulamu n'omuntu omugya kitegeeza nti omuntu omukadde akyali mulamula era nga omuntu omugya alemereddwa okuwangula, kyokka omukadde bwa wangula nafuga omuntu omugya kitegeeza nti omuntu omupya afudde.
Aaron yayambalanga ebyambalo ebyenjawulo nga agenda okuwereza nga bwekiragibwa bwe kiti;

Aaron bwatyo nayingira Mu watukuvu n'awatukuvu enyo me ssedume w'ente y'ekutangirira ekibi wamu he ndigga eyekiwebwayo ekyokyebwa. Awo Aaron nawaayo ente eyekiwebwayo olw'ekibi (ente nga ekikirira ) he bwatyo neyetangirira wamu me bakabona bawereza nano wamu n'enyumba he (abakiriza bonna bano be Baleevi) nga bwekigibwa wano (Ekyabaleevi 16:11) Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe:
Awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi: ate era kiragibwa bulungi (Ekyabaleevi 16:3-13) bwekiti;

Awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa:
Bwotununurira Mu kisikirize n'ekyo kyenyini ekitukiridde, katugerageranye emitendera egyebyo Mukama waffe Yesu byeyakola wamu nekifanaanyi kyobunabbi Mu mirimu gye; Mukama waffe Yesu yeyawulira obuwereza Ku myaka 30 era amangu ago ekitonde ekigya naweebwa Omwoyo Omutukuvu, obulamu bwe nga omuntu nabuwaayo okubaka sadaka (gw'emusaayi gw'ente ennume) era ekinunuro kyangi eri kitaffe YHWH okujjawo ebibi bya bantu nga sibabakiriza bokka wabula abantu byonna munsi. Bwatyo nayingira Mu watukuvu nabeera awo nga awereza okutuusa okufa natwalibwa Mu watukuvu enyo Mu obulamu obw'omwoyo nga kitaffe YHWH bwalina.
Kino tukisomoko Mu (Abebulaniya 5:8) nti;
newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona:
Awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;
Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu.
Katweyongereyo tulabe amakulu amalala mu (Abaleevi 16:27-29)

Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: kino kyali kiraga emirimu gya Mukama waffe Yesu nga ensi bweyali egilaba. Gyebali bwali busirusiru okuddira obulamu bwe nabuwaayo okuba ekitagasa gamba okubwonona, era Bali tebasobola kulaba nti Mukama waffe Yesu ekiwebwaayo era omutango okusasulira ekibi kya Taata Adam, era tebasola kulaga obugonvu Mukama waffe Yesu bweyalina eri kitaffe omuyinza w'ebintu byonna.
Bwetunurira obulamu bwa Mukama waffe Yesu okumala emyaka esatu n'ekitundu, gyona emyaka esatu gilaga ekifanaanyi bwekiti; sadaka ye okuwaayo omubiri gwe eri ensi busirusiru eri abakiriza sadaka eyakirizibwa kitaffe YHWH etabulako yadde akatono bwekati. Emyaka esatu nga yewaddeyo teyakola byayagala wabula okwewaayo okuba omutango Ku lwekibyonono by'abantu. Mu kitabo kya (1Petero 3:18) Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;
Era yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu
(1Cor 15:44) gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwosyo oguleeta obulamu.
Omurimu ogwaddako nga amaze okuwaayo obulamu nga omutango kwekutwala omusaayi Mu watukuvu enyo nga bwekiragibwa mu (Ekyabaleevi 16:14) awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu.

Kino kyenyini Mukama waffe Yesu yalina okutwala omusaayi kuntebbe ey'okusasira nga Aaron bweyakola mu kifaanyi kubanga ffe twagulwa n'amusaayi nga bweragibwa omutume mu (1Petero 1:19-21) wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo:
eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe,
abakkiriza ku bubwe Katonda eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda. Bwekityo Mukama waffe Yesu oluvanyuma owe nakku Anna yagenda mu Ggulu Mu kubeerawo kwa kitaffe YHWH okumuwa aripota y'omurimu gwamaliriiza nga bwetusooma mu
( Abebub 9:24) Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo.
Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda, ku lwaffe:
OKUTANGIRIRA OKUDAAKO EMBUZI YA MUKAMA.
Kati katuuve Ku ntebbe ey'okusasira tufulume ebweru tulabe omurimu omulala ogukolebwa (Ekyabaleevi 16:5-10) Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa. Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.

Embuzi ebbiri zino azagyibwanga mu banana ba Yisirairi zali zikirira abantu bonna Mu murembe guno ogw'enjiri abayingira Mu Kukiriza nebawaayo obulamu bwabwe okutuusa okufa nga bawereza kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH kino kyogerwako mu (Abebu 13:13) Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye. Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja. Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye. (Abebu 2:15) era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.
Okuba amakulu ku Mbuzzi ebbiri okufunako Embuzi emu ebeere eya kitaffe YHWH era mbuzi Ku ey' Azezeeri. Kino nakyo kikulu nyo kubanga omutonzi awa abantu be omukisa abamukiriza okusalawo ekyo kyebalina okuba. About abasalawo obulungi okumugondera nga bwayagala abawa empeera. Buli omu ayewaayo okuba sadaka mu Mirembe guno ogw'enjiri (olwo lunaku lw'okutangirira) okutibwa kujja eri bonna abamukiriza mu kiseera kino. Abakiriza be tusoma mu kitabo kya (Abarumi 8:17)
naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. Era bulk amukiriza mukiseera kino nayingira Mu lugya nawaayo obulamu bwe okuba sadaka akirizibwa. Kati abo abafuba okukuma endagaano yabwe mu bwesingwa nga bawereza kitaffe omuyinza w'ebintu byonna abo y'Embuzi ya Mukama waffe, ate about abaremererwa okukuuma endagaano yabwe y'Embuzi ya zezeeri.
EMBUZI Y'AZEZEERI
Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu: awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese: era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu. Jjukira nti EMBUZI eno tugwogeddeko emabega n'etugamba eno entegeeza abo abakiriza abwaayo sadaka naye nebatukiriza endagaano yabwe. Abakiriza bano bebasalawo okufa eri ensi naye nebaremererwa okukituriza, bano sibebamu nano abasalawo okudda emmabega nebaava mu kukiriza wabula bano be bagala ekitiibwa by'ensi, obulamu, kyokka nga bagala ne Katonda, balagiddwa Mu (Okuba 7:9, 13-17) Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli gwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, ga bambadde ebyambalo ebyeru, amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe;
Omu ku bakadde n'addamu, ng'aŋŋamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?
Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga.
Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.
Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna:
kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.
Era bano abakiriza bogerwako omutume Paulo mu (1Abak3:15).
Newankubadde nga bano bafirwa empeera n'engule olw'obutatukiriza buvunanyizibwa bwabwe, balina ensiggo y'obutukirizi era bagala kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH munda mitiima gyebwe bogerwako bwebati (1Abak 9:27) naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga maze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
Waliwo esuubi eri bano okulokorebwa kubanga tebavola Omwoyo Omutukuvu (1Abak5:5) okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gutokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
SADAKA EY'OKEEBWA

awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu. Esadaka zino ebbiri zirina ebifanagana ente wamu ne mbuzzi nga bwekiragibwa mu (Ekyabaleevi 16:3-5) amakulu agalimu nti Mukama waffe Yesu kyeyayitamu naffe tukiyitamu era tulina okutambulira mu begere bye; Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,
ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.
OMUKISA OGUDIRIRA OKUTANGIRIRA
Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,
ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro. Awo kitegeeza nti abantu batabaganye ne Mutonzi wabwe era nga Bali omu. Era kino kyekijja okubaawo mangu ddala eri abalonde bonna; (Okuba 21:3-5) Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe:
naye alisangula buli, zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo.
N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N'ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.
N''aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne.
Omutonzi aganda kufula emmeza y'ebigere bye ey'ekitiibwa n'ettendo bwati; (Isaayah 60:13) Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n'omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa.(Isaayah 66:1) Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
2 Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira. Okutangirira kulina engeeri ebbiri (1) Okutangirira okwensi yonna okugibwaako ekibi kya Taata Adam (2) okutangirira kwa bakabona era guno omurimu gwegusooka mu kiseera kino eky'enjiri era n'oluvanyuma OKUTANGIRIRA abantu bonna mu murembe oguddako kale abaoluganda tufuube nyo okufuna empeera n'omukisa gwetwafuna okutegeera amazima;
Okubanga bwetutagonda okuwulira Omwana we omu era nabbi Omukulu tujja kusalibwako ku mugabo ogw'ekitiibwa ogw'okusikira oby'obusika bya kitaffe omuyinza w'ebintu byonna YHWH mu linya Yesu Amina.
Nkwagaliza okusooma obulungi n'okutegeera
Bivunuddwa Muganda wamwe
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ekklesia.