EWEEMA EY'OKUSISINKANIRAMU
EWEEMA EY'OKUSISINKANIRAMU
Olusisira, Olujja, Ekyoto kya Saddaka, Ekinabirwamu, Emeeza y'emigati, Etabaaza, Ekyoto ekya Zaabu, Entebbe ey'okusasira, Essanduko ey'obujjulirwa, Omulyango gwankaki, Enjiji erisooko, ejiji ery'okubiri, Omugaaso n'amakulu gaweema.
Mukama n'agamba Musa nti Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.
Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;
4 n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.
Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.. Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola
Eweema Mukama Katonda gyeragira abaana ba Israeli okuzimba mu ddungu ely'ekibi era nga ekwatagana n'emikolo gyebwe egy'okusinza byakolebwa nga Omutume Paulo bwatubirira bwati; abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng'ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi.
Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi. (Abeab 8:5)
Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera.
Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. (Abeab 10:-2)
Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo. Amazima gegaano, egwanga byonna elya Israeli wamu ( n'amateeka n'emikolo gy'eddini egokuwereza kwona) nga bwe byali. Kuno ne kubeera okutegeera okutuufu okwenteekateeka ya pulani ya Katonda ey'obulokozi okugenda kati mumaaso era wamu n'esuubi ey'omumaaso eliyina okutukirira okuyita mu kusooma obulungi ebisikirize bino ebyali ku baana ba Israeli oly'okuyigirizibwa kwaffe okuva mu bintu ebyo ebyakolebwanga buli mwaka buli mwaka okufuuka ku Mirembe gw'enjiri okutulagira ddala ebyo ebituufu ebisikirize kwebyali bisonze nga bwekyawandikibwa bwekityo; ( 1 Abak 10:11 ) Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe.. Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.
Nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera. Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza. ( 1petero 1:11 )
Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera. Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate. Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka.
( Heb 10:1 -3).
Sikyangu okufuna amageezi g'ebyafaayo n'engeri ya Bayudayah mu kuwereza okwokusinza Kati kyetwagala okutegeera obulungi amakulu g'emikolo ginno nga bwejaweebwa abayudaayah.
Bwetuba nga tunategeera bulungi n'etuyiga okuva mubisikirize tuteekwa okwetegereza bulungi engeri Katonda gyalagiuramu emirimu gye gino okukolebwa. Okusooka Katonda yatwala Musa kurusozi namuwa engeri yokolamu eweema, era namulabula okukola byonna nga bwabimulaze okubikola, mungeri yenyini eyo obutakyusako n'ekimu bwekiti era naye bwatyo bweyakola; era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira. (Okuva 28:43)
Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu. (Okuba 4:15)
Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n'agikwatako; kubanga ente yeesittala.
7 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda. (Sam 6:6).
OKUZIMBA KWA WEEMA.
Ebiragiro ebyaweebwa Musa ebya weeks tubisanga mu Okuva 25 okufuuka 27 ate enkola ey'omurimu gwonna netugisanga mu (Okuva 35 okufuuka 40). Otunulira okwagala kwa Katonda mu kukola ebisikirize, tekituuwa bugumu bwoka wabula n'obutuufu bwona kubanga tewali yadde akatonyeze akatalitukirira. Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza.
Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu nensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu akomu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira. (Mat 5:17-18). Kino kituletera many a nti eri abo abasalawo okweyawulira Katonda era n'ebabatizibwa n'omwoyo omutukuvu era abaana ba Katonda abanonya, era abakonkona bazuula era bagulirwawo enziiji z'okutegera amageezi ga Katonda.
BWETI WEEMA BWEYAZIMBIBWA:
Mukama n'agamba Musa nti
Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.

n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
6 amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;

Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.
Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.
Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri.
Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu.
Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esituli bwenga n'egyo.
Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu.
Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.
Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.
Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.
Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.
Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.
Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.
Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.
Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.
Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo:
n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri: ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;
ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:
n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.
Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.
Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.
Ne ttabaaza eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.
Bino byebyaali mu weema ey'okusisinkaniramu:
Mu luggya nga muilimu ekyoto kya saddaka nga kikoleddwa mu muti era nga kibikiddwako ekikomo