ISIRAIRI, AB'ALEEVI N'E BAKABONA
ISIRAIRI, AB'ALEEVI N'E BAKABONA
Tabernacle Chapter 2
Abantu ab'enjawula munsi nga bwebakikriddwa aba isirairi, Ab'a Leevi n'abaKabona abafukibwako amafuta, amakulu n'omugaaso ga Kabona omukulu, ebyambaalo bye, endagaano ya Ibrahim, Endagaano y'Amateeka ne Ndagaano Empya.
Kirungi nyo era kyamugaaso nyo ffe okutegeera engeri y'aweema n'ebyona ebirimu, wabula ate kyamugaaso nyo ffe okutegeera amakulu ga Bantu abawereza mu weema eyokusisinkaniramu.
Isirairi ekozesebwa mungeri ez'enjawulo okutegeeza amakulu g'ekanisa. Eky'okulabirako isirairi bwebaava e Misiri mu busiibe bali mukisikirize kya abaana ba Katonda abwulira eddobozi elyokuyitibwa okuva munsi bajje mu kusinza Katonda Kitaffe omu kwa maxima.
Olugendo oly'omuddungu mwebayita lukikirira olugendo oly'okukiriza abantu mwebayita nga banonya okutuuka mu Kanani ekibuga ekisubize eky'omuggulu. Wulira eddobozi nga liyita (Mat 11:28 -29) Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.
Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe. Ekiwumuro kino kiri mu Kukiriza n'okuteeka essubi mu bisubiizo bya Katonda Kitaffe owamaanyi enyo. Kale bonna abalina essubi elyo eddamu tebabusabusa wabula banyikira okutambula obulungi nga bwekigwanira abaana n'e Katonda Kitaffe. Tulaba nga isirairi ekikirira ensi yonna n'abantu bonna. Saddaka ey'ekibi ey'okutangirira eyawebwayo Yesu Omwana wa Kitaffe yali yakutangirira isirairi n'e nsi yonna nga bwekyawandikibwa (Abeab 9:23) Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo. Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda, ku lwaffe:
Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu: n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi zonna.
Bino ebisatu Isirairi, Aba Leevi n'e BAKABONA wamu n'e saddaka byali kisikirize era okuva okujja kwa mukama waffe Yesu olundi ogwasooka nawaayo omutango olwebibi by'ensi, oluvanyuma yayimusibwa waggulu ebyo okusinga abamasaza, n'bamalayika nabeera nga kyekitukiridde ekyamazima ekyali kikwekeddwa mu kisirize kya saddaka, aba Leevi n'e BAKABONA wamu ne Isirairi yonna.
Isirairi nga bweyali ekisikirize ky'ensi yonna, bwekityo Aba Leevi kyali kisikirize kya nyumba y'okukiriza oba gamba abo bonna abakiriza erinya lya mukama waffe Yesu nga saddaka eyaweebwaayo okubatangirira olw'ebibi byaabwe. Ate BAKABONA bo kyali kisikirize ekyekisiibo ekitono abakola omubiri gwa mukama waffe Yesu era nga ye gwe mutwe gw'ekisibo. Ekisiibo ekitono era be BAKABONA mu kiseera kino eky'enjiri ab'ewaayo okuba saddaka okufukira Katonda ba kabala era BAKABONA okufuga ensi (Isirairi) awamu naye (Okuba 5:10) Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osaanidde okutoola ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga,
n'obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi. Bwekityo tukiraba nti mukama waffe Yesu kabona omukulu, sikabona mungeri ya Aaroni eyali ekisikirize obusikirize wabula nga bwekyawandikibwa (Abeab 3:1, 4:14) Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;
eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.
Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba.
Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.
Era obwa kabona bwe bwogerwako nti; Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe. Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.
Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga.. Aaroni mu kisikirize yakirira okubonabona kwa Masiyah, obwetowaze n'obuwombeefu nga omuntu olwokuturekera eky'okulabirako kyoka ekisirize ekijjudde kyali kya Melekizadeki (Melchisedec) olwokuba nga ono yali Kabaka atera kabona. Kino mukama waffe Yesu kyali leero kabaka waffe atera kabona waffe omukulu.
BAKABONA abawereza wansi wa Kabona omukulu nga tebanaba okugatibwa wamu n'e Mukama waabwe okufuna naye balina okuyiga mu kubonabona nga ye bwe yali bayige okugonda okusobola okuweebwa ekitiibwa awamu naye. Laban bwekyawandikibwa (2Tim 2:12) Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba. Era Omutume Peteero a gamba nti; Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda. Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye:
Munange togwamu amaanyi n'esuubi Laba ekisubiizo kino; naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo. (1Pet 4:13-16)
Omutume Peteero ayongera okutulaga nti ekisiibo ekitono be BAKABONA Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli. (1Pet 1:2) Omutume alaga obwa kabona bwaffe wano; Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo:
edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa. Bwatyo Kitaffe yatuyitira ettendo n'kitiibwa ekyamaanyi enyo nga bwekiragibwa wano;
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu, tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu, amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero.
Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira, okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa: gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu. N'olwekyo abo bonna betwogeddeko abawereza ba maxima newankubadde nti sibonna babuliizi kibagwanidde bonna okwewaayo nga saddaka basobole okubalirwa awamu n'e Masiyah nga bwekyawandikibwa nti; naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa. Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. (Agar 8:17-18).
Kabona omukulu era omutwe gw'ekanisa, ekisiibo ekitono ye mukama waffe Yesu era omutume Paulo akitulaga nti Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;
Waliwo ensonga enkulu wano eyokutunulira nga tukimanyi nti aba Leevi kyekisikirize kya abakiriza, tujjukire bulungi nti abaleevi babeerawo nga obwakabona tebunaabawo bwekityo obwa kabona obutukiridde bwatandika n'okufukibwako amafuta ku Mukama waffe wano nga Kabona omukulu mukubatizibwa kwe. (Luka 3:32, Ebiko 10:38) Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka.
Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nti Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.
Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.
Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti. Abakiriza bangi abaliwo naye nga kabona omukulu talagibwa ekyokulabirako, Bulaimu yakiriza Katonda Kitaffe era naweebwa obutukirivu olwokukiriza. Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.. Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu. Bambi Burayimu yali yali mu Leevi olwokukiriza so sikabona kubanga kabona asinga omukulu yali tanaba okujja kufukibwako mafuta ga bwa kabona. Tekitegeeza bonna abakiriza Bali wansi wakisikirize kya Aaroni nga balindirira kabona omukulu. Kale kabona omukulu bwamaaze okujja okulondebwa kwa BAKABONA abawereza awamu naye nekulyoka kutandika. Era okuvira ddala mu okujja Kwa mukama waffe Yesu kabala era kabona omukulu omurimu ogw'okwawula n'okulonda BAKABONA abawereza wansi we omubiri gwe, ekkanisa ye gwatandikira awo. Bwekityo abolunganda abamweyawulira okwewaayo nga saddaka batendekebwa okubeera ebibya era amayinja agokozesebwa mu bwa Kabaka bwe okuwa ensi yonna omukisa okukiriza Massiayah n'okuyiga amazima gonna nga bwekyawandikibwa nti; Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.
OBWAKABONA
Kirungi nyo okutegeera nti mubuli mukolo ogukwatagana n'okwawula omuntu Ku murimu gwa obwa kabona, kabona asinga omukulu yasookaz era bwekityo nemubwa kabona obutukiridde era Yesu yeyawulibwa okusobola kubanga ye Mukulu era kamanda w'egye, omukulu w'ekisiibo ekitono. Bwekityo bakadde baffe abarungi enyo bataata Yiburaimu, Yisaaka, Yakobo, Noowa nabala okufuuka ku Yokana tewali yafuna Mukisa okubeera omuwereza wamu n'e KABONA asinga omukulu mungeri ya Melekizadeki (Kabona ate Kabaka). Kyoka kikulu nyo okukitegeera nti bano abawereza ba Kitaffe abamaanyi enyo mungeri ey'ekisikirize kubanga byonna byebawereza byali bisonze Ku mutwe n'omubiri era nga abaleevi mu bwakabaka bagenda kukola omulimu ogwamaanyi enyo okulemberamu abantu ba Katonda bonna munsi yonna okusinza oyo Kitaffe omu owa mazima.
Ekubo effunda lyeligenda mu bulamu obatagwawo era ekubo lino telyagulwawo telyagulibwawo okutuusa okujja kwa mukama waffe Yesu, ono yeyasooka okufuna obulamu buno nga bwekiragidwa mu (2Tim 1:10) Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga.
Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali; eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo, naye kirabisibwa kaakano olw'okwolesebwa kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa n'amulisa obulamu n'obutazikirira olw'enjiri. Oyo bweyagulaawo ekkubo effunda naffe netuweebwa omukisa okutamblira awamu naye nga abaana era abawereza awamu n'e Yesu., abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obulamu n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo: naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe.
OKUFUKIBWAKO AMAFUTA.
Wansi weteeka ely'okufukibwako amafuta wewali okuwereza okwokwawula BAKABONA okuyitibwa okufukibwako amafuta Awatukuvu nga bwekiragibwa mu kitabo Ekyokuva 30:25-38) era amafuta gano nga gakikirira omwoyo omutukuvu ffe BAKABONA abatukiridde omwoyo atuweebwa olw'okusibwako akaboneero (Ebef 1:13-14) Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuwa buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo: nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala: bwe yatwawula edda okumufuukira abaana.
Aaroni kabona omukulu yali kisikirize kya Yesu kabona omukulu, omutwe gw'e Kkanisa. Aaroni eyali omwononyi nga abalala bonna yalina okunazibwanga okusobola okuba nga awereeza nga ekisikirize kya mukama waffe Yesu, atalina kibi era nga n'e kkanisa ye enezibwa namazzi gekigambo (Ebef 5:26) alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo, alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu eteriiko bulema.
Alone nga mazze okunazibwa nga yabazibwa ekyambaalo ekitukuvu ekirungi era ekyekitiibwa n'oluvanyuma nafukibwako amafuta Ku mutwe gwe, buli kitundu kyekyambaalo kya Aaron nga lukirira embala n'ekitiibwa eky'omununuzi omukulu omutwe era n'ombiru nga Kitaffe omutonzi bweyateekateeka okubikula Omwana we mukiseera kyeyasaawo okutukiriza byonna byeyasubiza okukola okuyita mu Massiayah we.
KABONA ASINGA OBUKULU MU KYAMBAALO EKYEKITIIBWA EKIRUNGI.
Eno yali engeri y'ekyambaalo kya Kabona asinga omukulu; Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona. Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, nebafuta.Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. (Okuva 28:4-10)
Kabona asinga obukulu alina okubanga nga obulamu bwe bwona bwaweebwayo nokukola Kuteesa kwa Taata Yahweh. Massiyah nga alina kuba kabona atuula Ku ntebbe ye nga kabona emirembe n'emirembe mungeri ya Melekizadeki (Zaka 6:13, Zab 110:4, Abeab7:17)
Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye. Ekitundu kyekyambaalo kya Aaron kabona asinga omukulu kyali kulina amakulu eg'endagaano empya (Mat 26:28, 1Abak 10:16)
Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.
Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa. Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza,
.Baganda bange mbagaliza okusooma obulungi.
Bivunuddwa
Nze Laban Ssewanyana okuva mu kanisa y'e Wakiso