KIKI EKIRI MUBOWOMBEEFU OBWAMAZIMA
R5842: KIKI EKIRI MUBOWOMBEEFU OBWAMAZIMA
What is Embodied in True Humility
Temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;
Obwetowaze n’obuwombeefu mbala yamakulu nyo eri agirina, okutunulira buli nsonga nosiima Katonda yekka wamu n’abantu abalina embala eno ennungi. Omutume Paulo atukubiriza okubeera n’endowooza ey’obuwombeefu, ffena abantu ba Katonda embala eno yetagisa okukulakulana muffe n’obugumikiriza.
Abantu ba Katonda bonna sibawombeefu mu ndowooza zabwe, abamu belowoozako nyo bokka okusinga abalala, abamu balina amalala olw’okufuna amazima era nga basobola okuwereza amazima eri abalala. Tusana okukimanya nti engeri ya malala yonna kitaffe agigaana mu maaso ge era kitegeeza nti alina embala ya malala, alina okulowooza kutono nyo okw’obuwombeefu. Mazima tugwanidde okuba nendowooza munda muffe nga eya Yesu ey’obwetowaaze, obukakamu n’obuwombeefu, obuterowooza kuba kintu kyonna ekyegombebwa;
(Bef 2:6-9 ) oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba. Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; bwetutyo abaana ba Katonda tuteekwa okuwaayo omuwendo okulaba nga tuli bawombeefu. Abamu balina embala eno okuva mubuzaliranwa, naye abasinga obungi balina okufuba okulaba nga bagifuna, nebejjamu endowooza embi ey’okweyimusa, amalala n’okulowooza nti bamuwendo okusinga abalala.
EKIROWOOZO EKY’OKWEKEBERA
Bwetutunulira okuyigiriza kw’omutume Paulo, kunsonga y’obuwombeefu tusaana okuyimusa abalala okusinga bwetweyimusa. Tufuna ekibuuzo omutume Paulo yali ategeeza ki? Abo abaze eri Massiayah bateekwa okugenda mu maaso ne bakizuula nti balina webatuusa okusinga webaali nga tebanajja eri Massiayah. Abo abakiriza Massiyah balina okumanya nti sibebasembayo okuba abawansi munsi era Omutume Paulo tagamba nti aba Massiayah balina okwetwala nga bebasembayo okuba abawansi nedda, ye yeyogerako nti ye mukulu mubononyi kubanga yali omu kwabo abali bawakanya amazima. Era Yesu yagamba nti eyo atuusa obulabe eri omu kubayigiriza be abato oyo ye mulabe namba emu (omujemi) tetusobola gamba nti ffe tusinga mu bonoonyi. Tulowooza nti abaana ba Katonda twandigambye nti nze ndi mwonoonyi omukulu” 1Tim 1:15 Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubelebelye; tetusaana kwewaako bujjulizi bukyamu.
Ekigambo Omutume kyayigiriza tusanidde kukitegeera tutya? Mungeri eno; tusaana okumanya abantu babiri abali mu Mukama waffe Yesu tebafanagana. Bwetuba tulina endowooza entuufu eri Mukama waffe Yesu, tulowooza kutalanta zaffe mubuwombeefu tukimanya nti tulina obuvunanyizibwa eri Mukama waffe era twekebere okulaba nga talanta tugikozesa mubwesigwa nga bwensobola singa nesanga nga talanta gyenina esinga kuya mulilwana wange oba muganda wange nina okugikozesa okuyamba munange nga bwensobola.
ENDOWOOZA ENNUNGI ERI AB’OLUGANDA
Bwetutunulira munyumba yaffe ey;okukiriza tulabayo obunafu bungi nnyo muboluganda. Tutekeddwa obutateeka nnyo maaso gaffe ku ngeri y’obunafu buno ne mbala za'bolunganda wabula amaaso tugase ku mbala yabwe ennungi n’okusingira ddala obugoonvu bw’omutima, tubeere n’endowooza egamba Katonda yamuyita era namukiriza. Buli lwetulaba omuntu azze mu mazima tumugambe; tusanyuse okulaba nga tetufaayo kyonna kyali, Katonda yalaba ekirungi mu mutima gwe ekyamanyi era ekituufu. Engeri Katonda gyamukwatamu nga omwaana nange nteekwa okumutwala nga omwana era muganda wange. Wewaawo tetuteekwa kumuyimusa nyo mungeri eno ey’omuntu omukadde. Tusanidde okumukola obulungi nga bwetusobola.
Tetusobola kuba nga ono tumutwala nyo okuba omuntu w’okulusegele, kyoka Katonda asobola okuba nga omuntu oyo amwagala okusinga bwatwagala, kuba aba akimanyi nti tulina bingi byetuyinza okuyiga okuva eri omuntu oyo.
Abantu bonna babeera balinayo embala enungi gyetusanidde okuyimusa n’okwagala, Omukyala omukadde olumu yagamba nti ne setani alinayo wakiri embala ennungi emu nti “alemerako kunsonga” tusanidde okulaba ekirungi omuntu kyalina n’etumwagala olwekyo. Tetusobola kulaba nga Katonda bwalaba ekyo ekirungi kyalina tumwagale olyekyo era tumuyimuse okusinga obunafu bwalina.
1Bak 13:6-7 tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.
Bag 6:10 Tuleme okuddirilanga mu kukola obulungi: kubanga ebiro bwe birituuka, tulikungula; nga tetuzirise. Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.
OBUWOMBEEFU LY’EKUBO ERIGENDA MU KITIIBWA
Omutume Paulo ne Yakobo nabo banyweze ensonga y’obuwombeefu nti omuntu wa Katonda asanidde okwambala obuwombeefu nga ekyambaalo. Bano batubulira nti oteekwa okuba n’embala y’obuwombeefu bwobeera mukwagala kwa taata waffe mu Ggulu. (1Peter 5:5 Yakobo 4:6) Omutonzi waffe atulaga nti teri nakimu bwekiti eky’okwenyumiriza kulwaffe, kubanga byonna ebyaffe biva eri Katonda kitaffe.
Ebyawandikibwa bitulaga bulungi eby’okulabilako ebiva mu malala. Lucifa omu kwabo abakulu mu malala yafilwa ekifo kye mu Ggulu nafuuka setani omulabe wa Katonda. Singa maama Kaawa (Eva) yalina embala y’obuwombeefu omusota bwe gwandimukemye yandigambye nti sisobola kujjemera Katonda Omutonzi waffe yekka amanyi byonna ebirungi gyetuli (Engero 16:18) Amalala gakulembela okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembela ekigwo.
Wabula tulina eky’okulabirako ekirungi enyo eri oyo eyalina omwoyo gw’obuwombeefu, tulaba engeri Katonda gyeyamugulumiza (Beb 1:9) Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno (Baf 2:9-10) Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, singa tusalawo okwewombeeka netugonda naffe agenda kutugulumiza era omutume Petero atukubiriza nti (1Pet 5:6) Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde butuuse;
Taata waffe alina okwagala okwebuziba eri abawombeefu, eno y’ensonga lwaki tuteekwa okuba abawombeefu, taata akyaawa abamalala. Obuwombeefu yemu ku mbala ennungi gyetulina okuba nayo mundowooza zaffe tulyoke tusobole okufuna ekisa ekisukulumu okuva gyali.
OBUWOMBEEFU BUTEGEEZA KI DDALA
Okubeera omuwombeefu kitegeeza kwelaga nga abanafu abatalina kyetusobola kukola? Nedda endowooza bwetyo ebeera nkyaamu, wabula tuteekwa okulowooza obulungi ku bulamu bwaffe. Tuteekwa okulowooza ku busobozi bwaffe obuva eri Katonda kitaffe. Bwetwesanga nga tulina obusobozi obwamanyi okusinga ku banganda baffe ne balirwana baffe, twebaze Katonda. Tusanidde obutalowooza wadde eddakika nemu okulaga nti tuli bawaggulu okusinga abalala, ekyo kitufula abamalala. Kino ekirabo Katonda kyatuwadde, tukyebaze era tukisanyukire kubanga tubadde tetukirina, twewale okweggulumiza.
Omuntu yenna eyazalibwa n’omutima ogwamalala bwamala nagonda era nakakana abeera ayoleseza embala y’obuwombeefu, kyoka n’oyo Katonda gweyatonda nga mukakamu mu mutima gwe, naye agonda eri taata nga alaga okusiima mubuwombeefu mu neyiisa ye n’ebirowoozo bye. Kale engeri gyetwagala okuwereza Katonda tugonde tukole taata byayagala. Tufube nyo okuba abawombeefu, abawombeefu buli lunaku beyongera okuba abalungi era basanyusa Katonda buli lwebafuna embala ya Massiayah, amagezi ga Katonda, endowooza entukuvu, banno bafuna nyo okuyiga mu kigambo olw’embala ennungi mu bulamu bwabwe, Katonda abagatako ekisa buli lunaku buli lunaku ne bafuna okutegera kwona ate nga okutegeera lyekubo ely’obuwombeefu.
OKUKAKANA OKUTUUFU
Tewali n’omu ayinza okweyawulira Katonda awatali mukama waffe Yesu omutabaganya. Tuteekwa okulaga nga twetaga Yesu kubanga watali tewali kyetusobola okola (Yok 15:4) Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Mazima tewali n’ekimu bwekiti kubanga nze sirina kyendi, wabula ndi mwononyi awedde emirimu, niina obunafu bungi nyo, netaaga Katonda okunyamba kubanga yalina byona byona byenetaga era newombeeka wansi w’omukono gwe ogw’amanyi anyambe nsobole mu linya lya Yesu Amina.
Ensi egamba setaaga kwewaayo bwekiba kibonerezo ngyakikola eno yendowooza ya bantu munsi abatanayiga mugaso ogw’okwewombeeka. Naye abalina omutima omuwombeefu beyawulira Katonda nebewaayo mubukakamu eri okwagala kwa Katonda mu linya lya Yesu. Bano bakimanyi bulungi ddala nti waliwo ekkubo limu ely’obuyambi ye Katonda kitaffe mu linya lya Yesu omulokozi waffe. Abo bokka abakiriza okufuka abayigirizwa ba Yesu bawolereza era batabaganya era tewali mutabaganya mulala wabula Yesu yekka era yakwanjula ewa taata yekka n’okirizibwa. Tusubira omukisa ogwamanyi mukiseera ekyokuza byona obugya wabuli tewali agenda gyali awatali kuyita mu Yesu omutabaganya.
Bino byebisanyizo ebyokufuka omuyigirizwa
Oteekwa okwewaayo n’okwefiiriza obulamu bw’omunsi nebirubirilwa byona. Ebirubirilwa byaffe byona tulina okubiwaayo eri taata bwasiima natukiriza okuba abayigirizwa ba Massiayah we atufukako omwoyo omutukuvu natufuula ekitundu ku mubiri gwa Massiayah.
Bwetusalawo okugenda ne Yesu mu mutima gwaffe tugamba nti “okwagala kwo kukolebwa taata” tukimanyi nti okwagala kwa taata kwekusinga obulungi. Omuntu nga akyali mu mbala ey’obunafu alaba nga okwagala kwe kusinga obulungi, naffe abaze eri amazima tugamba nti “nakola ensobi nyingi nyo nga simanyi, naye kati njagala okwagala kwa taata kukolebwa munze nga sifaayo ku mbeera yange mwendi, oba nungi oba mbi omwoyo w’okwagala ansobozesa.
Entambula bwetyo eba n’obukakafu obwobuwombeefu newankubadde nga omuntu abadde namalala abeera yelaze nga mukakamu era nga agenda mu maaso okuyiga mungeri ennungi. Banange tufube twewombeeke, tukakane tetuba n’akwagala kwaffe wabula okwagala kwa taata kwoka.
OBUWOMBEEFU MUBUKUUSA
Waliwo embeera eno eyobukuusa nga omuntu asobola okwerimba ye mwenyini, omuntu asobola okwogera ebintu bingi ebikwata ku kugondela okwagala kwa Katonda, naye naga ye akyogera bwogezi nga akola kwagala kwe.
Tusanidde n’olwekyo okwekebera okulaba obanga mazima tukola kwagala kwa Katonda okwo kwetwatula n’olulimi lwaffe, n’okukebera buli lunaku okutambula kw’obulamu bwaffe nga twebuuza “Kuno kwekutambula mukama wange kwayagala ntabule? Kuno kwe kwagala kwa Kitange mu Ggulu?”
Okwewaayo kuno okola okwagala kwa taata kulina omukisa munene nyo, Katonda atugezeesa okulaba oba nga tukola okwagala kwe mubuwombeefu. Tetusobola kulowooza nti ne Yesu mukama waffe eyali atukiridde, yali talina buyinza bwankomeredde, oba yalina birowozo ki muye, yewaayo eri kitawe nga agamba nti “sikwagala kwange wabula okukwo taata kukolebwe” (Mat 26:39) omuntu yenna alina okwagala okukwe siwuwe. Tukimanyi nti twandiyagadde okuba n’okwagala kwaffe, wabula ate tulina okukimanya nti tetusobola kubeera nakwo wabula okwagala kwe kwoka, n’olwekyo kyetuva tufuba okunonya okwagala kwe ku buli nsonga yona yona tugikole nga bwayagala.
OKUGEZESEBWA OKW’ OKUGONDA
Ebiseera ebimu omukono gwa mukama guba muzito; bwekityo bwekyali ku mukama waffe, yanyigrizibwa natekebwa wansi naye Yesu bweyawulira omukono gwa taata nga gumutadde wansi nakakana wansi w’omukono gwa taata we mubuwombeefu nga anonya okumanya okwagala kwe bwekuli. Yakakana wansi w’omukono naye omukono tegwamulirawo ddala newankubadde nga yalabika nga anyigiriziddwa nyo. Kyewunyisa nti gwali mukono gwa kwagala!! Amina. Taata yali akebeera okugonda kwo mwana we bwekuli, bambi yagezesebwa naye omukono gwegumu gwe gwa muyimusa waggulu “namuteeka ku mukono ogwa ddyo” mu Ggulu okusinga abafuzi, n’abobuyinza mu banga buli linya lyona eliyitibwa mu Ggulu n’ekunsi eno negenda okujja (Bef 2:9)
(Bef1:20-23) waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja: n'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa, gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.
Bwekityo bwekiri eri ffe, singa tusangibwa nga tuli besiggwa Katonda kitaffe agenda kutugulumiza mu kiseera kyaffe. (1pet 5:6) kyoka tasobola kugulumiza muntu yenna atali muwombeefu. Okugonda kitegeza okukiriza. Tetusobola kugonda ffe kulwaffe okuleka nga tufunye obugumu obwamanyi mu Katonda. Sikukiriza kwoka, naye n’okugonda nakwo kwetagisa nyo, n’olwekyo taata atugezesa mu mbala zino ebiri (2) nga tetulina mbala zino tuba tetusanira bwa Kabaka bwa Katonda, bwekityo okugezesebwa okwekiseera kino kugezesebwa eri okukiriza kwaffe, obugonvu n’obuwombeefu eri Katonda waffe omu owa mazima nengeri gyetugondera okwagala kwe (Beb 2:7) abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo:
Tuteekwa buteekwa okuzuula eby’obwa Katonda nga tubinonya. Tuteekwa okusubira okuteesa kwa Katonda mu bulamu bwaffe. Tulina okutambula mu bulamu nga tukimanyi nti tetulina kyetwekolera wadde kyetuyinza ku lwaffe. Kale naga abaana bwe batunurira abazadde, omuyizi omusomesa we naffe amaaso gaffe tugase ku Katonda waffe mu linya lya Yesu (Zab 123:1-2)
ENTEGERA YAFFE EGEZESEBWA
Okuteesa kwa Katonda kwetulina okunonya mu bintu byona. Ekyokulabirako singa wabawo obuzibu ku mulimu, omuntu omulimu gwe nga gufudde oba guweddewo. Omwana wa Katonda atayiganga kugondera kwagala kwa kitaffe, asobola okunenya abalala amangu ddala, oba okuzuula ensobi ku bakozi banne. Naye engeri entuufu ey'abaana ba Katonda yandibadde bweti "Taata amanyi byonna ebikwata kunsonga eno", nkimanyi nti akikoze bwatyo kulwekyo ekisinga obulungi gyendi. Wabula kyayagala njige ngenda kufuba okukimanya. Bwakizuula nti wabaddewo obunafu oba obugayaavu ku ludda lwe awo amanya bulungi lwaki affiriddwa omulimu oba ekifo kye.
Oluvanyuma lwokukebeera obulungi ensonga n’okizuula nti wabaddewo obutali bwesiggwa eri omulimu oba wabaddewo obulagajjavu ateekwa okutunula n’asaba “ Mukama taata nsaba kunsasira onsonyiwe embera gyendimu sinyangu, ntunuridde gwe okunyamba musonga yange taata”. Netaaga okufuna omulimu era bwentyo nsaba okunyamba ompe emmere yange eyaleero. Sisobola kweyamba nakamu mumbera eno simanyi bulungi okuteesa okuva gyoli mumbeera yange naye nsaba ekisa n’amagezi okuva gyoli taata mu linya lya Yesu.
Era nga bwosaba, mukiseera kyekimu nonya okuteesa kwa Katonda kubanga omwana wa Katonda yenna alina okuba nga asaamu Katonda ekitiibwa era nga akimanyi nti Katonda mwesigwa mu mbeera yonna ey’obulamu era Katonda yagenda okuteema ekkubo olw’obuwanguzi mu bwa Kabaka bwe. Okugulumizibwa kulina okugenda eri abo bonna abagondere okwagala kawa Katonda mungeri yonna ey’obusobozi bwe nga bwebuli.
OBUWULIZE KU MUTINDO OGUSINGAAYO
Omutume Paulo atukubiriza tubeere ne ndowooza ya Massiayah agamba bwati; Baf2:5 Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu;
Wano omutume atulaga embala eyetaagisa mu kanisa okukirizibwa Katonda nga abaana be. Mumbala eno mulimu okunyikira okusanyusa Katonda. Omutume atukubiriza okufuba okutambulira mubuwombeefu n’okugonda nga mukama waffe bweyagonda eri taata we natulekeera eky’okulabirako okutambulira mu bigere bye. Omutuvu Paulo akinyweza nti okubeera n’endowooza ya Massiyah kikulu nyo. Ekyokulabirako n’obukakafu obwa mukama waffe bweyaali omubuwombeefu; Omutume atulaga ebyo ebyaali ku Yesu nga tanaba kujja ku nsi. Ono yaali kigamba kya Katonda, yali mungeri ya Katonda ey’omwoyo. Wabula yali mwetegefu nga tanoonya bibye kububwe byayagala. Yewaayo okuleka ekitiibwa eky’omwoyo asobole okukola ekyo taata kyayagala. Endowooza ye yali yanjawula nyo okwawukana ku lucifa. Kigambo teyalowooza kutwala kifo kya kitawe newankubadde okwelaga nti yenkanankana ne Katonda we. Wabula yetowaaza nnyo, n’obuwombeefu obungi. Kale endowooza eno ebeere mu mwe nga twewombeeka wansi ow’omukono gwa Katonda ogwamanyi ennyo, awo ye alyoke akugulumize nga ekiseera kituuse.
Owulunganda kitegeere bulungi ddala nti nawe wayitiibwa okujja mukitiibwa okwa waggulu, olyoke ofune ekifo ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda kitaffe atagwaawo nga ne Yesu bweyawangula naweebwa ekifo ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda we, bwotegeera kino omanya endowooza ya Massiayah erina okubeera mugwe. Katonda teyakakatika mbala ya buwombeefu ku mukama waffe Yesu era naffe bwetutyo bwetuli.
Mukama waffe ngamaze okufuna ekitiibwa era Katonda nga amufudde omununuzi w’abantu bonna kunsi, kyamwetagisa okusigala nga muwombeefu okusobola okuleeta ekibala eky’okugumikiriza. Emyaka esatu ne kitundu (3 ½) kyekiseera kyeyalina okumala asobole okutukiriza omulimu okutuusa nga kiwedde ku musalaba. (Yokana 19:30-31) Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
(Beb 12:2) nga tutunulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda. Bwetufuuka abayigirizwa ba Yesu era netukiriza okumugoberera ekigambo kye tutukiriza okuyitibwa kwaffe okwawaggulu, era bwetukiriza endowooza eno ey’obuwombeefu okukola muffe tusobola okufanaana Yesu mukulu waffe era Omutwe gwaffe.
OBUWULIZE OBUSANIDDE ERI BONNA
Tukilabye nti kigambo teyalina ndowooza yakwegulumiza okwenkana ne Katonda naye yetowaaza, lucifa ye yatwala endowooza ey’okwegulumiza yagamba nti N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono: ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.
Wano tulina ekyokuyiga okumanya ki kyetutalina okukola. Eno yenkola y’obufuuzi bwe Ggulu; (Lukka 14:14) era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu.
(1petero 5:6) Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng'obudde butuuse.
Buli kitonde kya Katonda oba Malayika oba muntu kirina okuba nendowooza ey’obwetowaaze era n’obuwombeefu. Okugezesebwa okw’omukiseera ky’engiri kino, kugenda eri mukama waffe ne kkanisa ye, bwekuba kugenda neri abalala ekyo kiba kibuuzo! Tekisoboka kuba nga okugezesebwa kuno kungenda neri bonna. Abo abalina omutima omulongoofu bakola okwagala kwa Katonda mubuli mbeera yonna awatali kubusabusa, bamalayika bandiyagadde okukola omulimu gwa Yesu ogw’okununula ensi eno era malayika yandisanyuse nyo okukola ekyo wabula tewali nomu amanyi bwe kyandibadde singa bamalayika tebagondera kigambo okukola okwagala kwa taata.
Ensi egenda ku musango mu myaaka olukumi (1000), endowooza eyatagisa eri buli kitonde kiyina okuwaayo byonna mu mulimu gwa taata. Kigenda kuba kiseera kirungi eri abantu okufuna obulamu obutagwaawo. Naye tujjukire nti eteeka ely’obwenkanya teliwa mukisa muntu okweweraayo saddaka.
Wabula okuyitibwa kwe kkanisa kwetagiisa obuwombeefu n’obuwulize obwa manyi enyo “okutuuka okufa”, kyoka taata yasubiza empeera eyamanyi eri abawulize bonna mu Ggulu ne kunsi. (Okub 2:10).
Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.
Bivunuddwa Muganda wamwe
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclessia