OKUBATIZIBWA KWE KITONDE EKIGYA ( BAPTISM)

Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe
bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi;
kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.
Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;
bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.
Bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;
Era kaakano be gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.
Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.
Abakiriza bonna balina obumu obwokutegeera nti endagaano empya eyigiriza okubatizibwa newankubadde nga waliwo okwawukana mungeri gyekukolebwa mu namakulu.
Okwawukana kuli okwogerebwako omutume Paulo mu (2Abaseso 2:3)
Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira,
aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.
Okutandika n'ekyaasa eky'okubiri okwawukana kuno kwali kutandise era okuyigiriza okwokubatiza okutuufu kwali kukyusiddwa okuva Ku kuyigriza kwa mukama waffe Yesu wamu n'abatume nekudda mu enkola ey'engeri endala era n'amakulu negakyusibwa. Okubatiza kwa mazzi kwafuka okwokuyingiza omuntu mu kanisa, okumujjako ebibi eby'edda wamu n'okufuna emikisa okuva eri Mukama Katonda kubanga omuntu akkiriza okumubatiza. Era enkola yafuka okuba nga yengeri omuntu omupya jayingizibwa mu kkanisa.
Ekyewunyisa mu kkanisa eyasooka tebabatizanga baana bato era n'abakulu abasalangawo okubatizibwa bategeera nga nti eno bakola ndagaano wamu ne mukama waffe Yesu ne Katonda Kitaffe wamu n'egye lye lyonna ely'omuggulu. (Abaru 12:1-2) Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
Oluvanyuma lwokwawukana kuli abantu batandikawo enkola endala okubatiza abato nga babaterawo abayima oba ababasemba abayitibwa abazadde ab'omwoyo. Abazadde bano nga beyama okuyigiriza abaana bano engeri yonna ey'eddini yabwe kubanga baba bafuuse "bataata ne bamaama ab'omwoyo"
OBUJJULIRWA BWO KUBATIZIBWA MU BYAWANDIKIBWA.
Abayudaya balina enkola ey'okurongoosa ebibya ate n'enkola ey'okumansira naye kunkola sino zombie tekuliko makulu ga kigambo kubatiza okuba okunyika, Yokana nga bweyabulira munkomerero y'omurembe gwa bayudaya nga abulira okubatizibwa okwokwenenya okugibwako ebibi eri abayudaya gonna.
Okubatiza kwa Yokana kwali kulina amakulu agalaga okwenenya n'okukyuka okuba mu kibi n'obukwata mateeka, bwekityo kyabagwanira okwenenya basobole okudda mukubo ely'obutukirivu nga barongoosa emitima gyabwe.
Buli Muyudaya kyali kimugwanira okubatizibwa Yokana n'ekigendrerwa ekyokugibwako ebibi era banazibwe okusobola okudda mu nkolagana yabwe n'Omutonzi wabwe kale buli eyakolanga ekikolwa ekyo nga abalibwa nti asanidde okubeera munkolanga ey'obutukirivu n'eKatonda, era nga ekigendererwa ekikula enyo nga kwekuteekateeka abantu olw'obwakabaka bwa Katonda n'okujja kwa Massiayah Yokana gweyogerako nti ajja mangu ddala bwati; Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya,
ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka. (Mat 3:1-4)
Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali; n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
Era nabategeeza nti Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira. (Mat 3:11)
Kale abantu bonna aba Yisirayiri nga balina okwenenya batereze emitimma gyabwe okweraga nga balibasanidde okwaniriza omusubize Massiayah was Yisirayiri basobole okufuna emikisa gyonna okuva mu ggulu olwokuteesa kwa kitaffe eri aba Yisirayiri nga eggwanga lye eddonde okuva mutondebwa kwensi; Muwulire ekigambo kino Mukama ky'aboogeddeko, mmwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonna kye nnalinnyisa nga nkiggya mu nsi y'e Misiri, ng'ayogera nti Mmwe mwekka be nnamanya ku bika byonna eby'ensi zonna: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwammwe bwonna. Buli muntu yenna Omuyudayah yali wansi wansi w'endagaano ya mateeka ga Musa era nga balibwa okuba munyumba ya Musa gyakulembera era bano bona babatizibwa nga kiragiddwa wano (1Abak 10:1-2) Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; enyumba ya Musa talk nyumba ya baddu (Abeab 3:5) Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.
Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;
naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero. Kale buli eyabeera omwesigwa mu nyumba ya Musa mundagaano ya mateeka kyali kiraga nti Oyo yali yetegeese okwaniriza Massiayah ajja eyali alabikira mu kisikirize kya Musa omuwereza was mukama waffe era Kitaffe atagwawo.
Nga bwebabatiza mu nyanja ne mukire, bwekityo okukiriza Massiayah mukifo kya Musa kyali kitegeeza nti bayingidde mu Massiayah era kitundu tundu ku Mubiru gwe nga bo bafuka bawereza wansi ye nga ye gwe mutwe. Bwebatyo abawereza be ndagaano empya abo abatukiridde era Massiayah agulumizibwa, omutwe n'ombiru nga oyo ye mutabaganya wa Katonda n'abantu bonna Mirembe guno n'ogujja mutiibwa ekitagwawo emirembe me Mirembe.
N'olwekyo Yokana tebatiza abakiriza be mu linya lya Massiayah wabula yabatiza okuleeta abakiriza okwenenya, nga abakomyewo eri omukurembeze wabwe Musa nga abali ettabi ely'obutonde ku muzabibu nganbwekiragiddwa mu (Barumi 11:16-21)
Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu: era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu.
Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni;
teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe.
Kale onooyogera nti Amatabi kyegaava gawogolwa nze nsimbibweko.
Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga:
kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira. Kale okubatiza kwa Yokana kubanga kyali kwa okwenenya okujibwako ebibi kwali kwa bayudaya books kubanga banaggwanga tebalina kakwate mu nyumba ya Musa eya abaana ba isirairi. Banaggwanga bonna abakiriza elinya lya Yesu abayingizibwa mungeri eno so singa aba isirairi nga omutume Paul bwatubulira nti ffe twali zabbibu ely'omunsiko;Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni;

kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira.
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa.
Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate. Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
Tewali muwendo ogw'okwenenya oba okweddabulura omunaggwanga ogwali guyinza okuyamba omunaggwanga okugatibwa munyumba ya Yisirayiri okusobola okugabana Ku bisubizo by a Katonda okujjako okusasula kw'obwenkanya okununula bonna era okugata awamu ebibiri
Abantu bonna abamawanga okusobola okugatibwa ku kiikolo eky'omuzabibu ogwa mazima okubeera ettabi ku muti ogw'obulamu. (Abag 3:16) Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.
Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa.
Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza,
Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi.
Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza, mu Kristo Yesu.
Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.
Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.
Kino kiragibwa bulungi omutume Yokana mu (Yokana 1:12) Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
OKUBATIZIBWA OKUYINGILA MU KUFA KWA YESHUA
Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?

Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe (Abarumi 6:3-5)
Ffe abazalibwa nga tuli banaggwanga tetulinayo bubaka bulala bwetuyinza okukiriza obukwata Ku okubatizibwa okuleka buno obutuwereddwa omutume Paul era nga obwo bweyawa abakiriza banaffe mu Roma kubanga nano bali banaggwanga era nga baana ba busungu abatawulira.
Munyiri ezo esatu omutume atulaze nga okubatizibwa mulimu akabonero okokunyika mu mazzi, naye kitegerekeke bulungi nti omutume Paul talina makulu gonna galaga agakwata kubatiza okwamazzi kubanga okubatiza kwa mazzi kabonero akalaga okubatiza kwenyini okwokufa awamu ne Yesu ate n'okuzukirira awamu naye. Amazi kabonero akakozesebwa okunyika oba okuziika omuntu awamu n'e Yesu mu kufa owe.
Tulaba Omutume nga ayogera eri bamemba b'ekanisa, kyaava abuuza nti; Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?

Era mu (1Abak 12:27) Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu. Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero?
bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula? Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi.
Katurabe Lukka (12:50) kyagamba kunsonga eno; Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa!
Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi;
kubanga okutanula kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawukanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. Ensi yonna effa naye mukama waffe Yesu n'ekkanisa ye bokka bebayingira mu kuffa kino okwo okubatizibwa naye ensi teyetaba mu kuffa kino eri okwagala kwa bwe. Omugole wamu n'ekkanisa bokka bebetaaba mu okubatizibwa. Waliwo enjawulo yamaanyi nyo ddala, abantu bonna munsi bafira mu Taata wabwe Adam mu kikolimo kye, naye Yesu Massiayah ye teyali wa munsi era nga tali mwabo abafa okufa kwa Adam tukimanyi bulungi ddala nti obulamu bwa Yesu Massiayah bwali butukuvu nga tewali kibi kyona kyona muye bwekityo yali ayawuliddwa Ku bonoonyi. Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.
26 Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu;
27 atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.
Ekyaama kyaffe abakiriza okubeera awamu mukubatizibwa kwa Massiayah me saddaka emu awamu naye mu Ku batizibwa okwokufa mu Mirembe guno ogw'enjiri ate nenkolagana yaffe Eva mukugatibwa awamu mu ekitiibwa kye ekigoberera ensi tesobola kukiraba newankubadde okukitegerera ddala n'akamu bwekati; ebyawandikibwa bitugamba bwebiti;
(2Tim 2:12) Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye
oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe:
oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba.
(Abar 6:8; 8:17) Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;

Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe. Mazima okubatizibwa okwokufa kwekubatizibwa ddala okw'ekkanisa era nga bwekali okubatizibwa okwa ddala eri mukama waffe Yesu, okubatizibwa okwa mazzi aka nga kabonero bubonero oba ekifanaanyi kyekyo kuenyini. Ensonga eno yenyini mukama waffe Yesu Massiayah gyeyamba abayigiriza be nababiri, Yakobo ne Yokana abamusaba okubatizibwa nga ye;Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.
N'abagamba nti Mwagala mbakolere ki?
Ne bamugamba nti Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo.
Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze? Ne bamugamba nti Tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa; nabalaga okubatiza kwa Yokana bwekwaali; (Yok 3:32,23; 4 Mako 1:4) Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. Bwatyo Yesu nagenda mu maaso okubayigiriza;
Ate n'atanula okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu nnyanja; ekibiina kyonna ne kibeera ku nnyanja ku ttale. N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti Muwulire; laba, omusizi yafuluma okusiga: awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
FFENA TWABATIZIBWA OKUYINGIRA MUBIRI GUMU ERA N'OMWOYO OMU.
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.
Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri. Kale omuntu yenna aleme obutategera omutume bwayogera ku batiza kwaffe nga okuyingira mu kufa kwa mukama waffe Yesu ekyo sikyekitegeeza okubatizibwa kw'omwoyo Omutukuvu. Okuva n'omwoyo omutukuvu byanjawulo era n'okubatkzibwa kino kwanjawulo ddala. Okubatizibwa okuyingira mu kufa kwa Yesu ekyo kibeera ku muntu omu nga ye nga asazeewo yekka era kino buli muntu yenna ayagala okufuuka ekitonde ekigya kino alina okukikola neyeyawulira Kitaffe era nawaayo okwagala kwa okuba saddaka, bwatyo omuntu bwakirizibwa ayambibwako omwoyo gwa mukama waffe Yesu nawereeza amazima n'aboluganda mungeri yonna esoboka.
Ate okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kwali okubatizibwa kwa mulundi gumu eri ekkanisa yonna. Kino kyabaawo mu kisenge ekya waggulu Ku lunaku kwa Pentecost era tewali kyetagisa kukiddamu okuba nga ekirabo tekivanga ku kkanisa okuva okwo n'okutuuka leero luno. Omulundu omulala lyekyabawo kwali okubatizibwa kwa Koloneriyo naye kino kyabaawo okuwa obukakavu eri Petero n'aba Yudaayah okumanya nti omwoyo omutukuvu aweebwa n'abamawanga abakiriza Katonda era bwati bweyayogera.
(Ebik 10:34-35) Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza. Okunyikibwa omwoyo omutukuvu okwa Pentecost mukifo ekya waggulu eri a b'oluganda 120 bonna banyikibwa mu mwoyo omutukuvu. Okubatizibwa kw'omwoyo omutukuvu kufanagana n'okufukibwako amafuta kwa bakabona n'ebakabaka nga bafukibwako amafuta, amafuta nga bagafuka Ku mutwe negadduka okukirira wansi ku mubiri gwona. Bwekityo okufukibwako amafuta ku mutwe gwe Yesu mukiseera kye eky'okweyawula okukola emirimu gya kitawe Ku myaka 33 awo Taata namuwa omwoyo ataliko kigera; Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamugera. (Yok 3:34)
Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
Olunaku kwa Pentecost bwelwatuka mukama waffe Yesu omutwe kwaffe nga tusuuse mu kubeerawo kwa Kitaffe era amaze okutangirira ensi olw'ekibi bwatyo nakirizibwa okufuuka omwoyo omutukuvu era bonna n'ebanyikibwa mu amaanyi ag'Omwoyo omutukuvu. Kano Kali kaboneero akalaga okukirizibwa mukama waffe Yesu wamu n'ekitaffe eri bano 120 bamembe b'ekanisa abo abali musenge ekya waggulu (ekitonde ekigya) okuva kwolyo n'eleero omwoyo omutukuvu Ali n'ekkanisa, bwekityo buli memba eyegaata ku kkanisa a funa okufukibwako oba okubatizibwa omwoyo omutukuvu.
Kyo waliwo engeri okubatizibwa kw'omwoyo omutukuvu bwekukwatagana mu n'okubatizibwa okwasekinomu okuyingira mu kufa kwa Yesu. Nga bwetukirizibwa okuba abatukiridde olwokwewaayo mu okubatizibwa okwokufa era bwekityo bwetukirizibwa n'etubatizibwa n'omwoyo omutukuvu n'tusibwako akaboneero. Bwetumala okunyikibwa mu mwoyo omutukuvu Awo olugendo lwaffe okukola okwagala kwa Taata ne lutandika paaka kufa era nga omutume bwatulaga wano;
Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.

A b'oluganda mwena mbakubiriza okunywera tutambule mu lugendo nga bwekyetagisa.
Bivunuddwa nze muganda wammwe
Laban Ssewanyana
Wakiso Ecclessia