OKUBIRIZA BANAFFE MU KWAGALA
OKUBIRIZA BANAFFE MU KWAGALA
(Abebulaniya 10:24-25)
Era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.
Ekigambo kino ky’okubiriza mu kwagala kiraga okuyimusa omuntu mu bikolwa bye ebirungi wadde nga kikozesebwa mungeri ey’okusomooza naye kirungi kubanga kiraga okuyimusa omuntu mu mbala ye.
Endowooza z’obuzaliranwa zelagira mu kweyagaliza n’okwagala ebintu eby’omunsi okunafuuya abalala n’okweyimusa n’okwogera obubi, awo wewaava engyogera nti (1Abak 15:3) Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera.
Buli muntu yenna ow’omubiri munsi muno kino akimanyi bulungi nti asobola okuteeka obububi ku kintu ekituufu n’ekyononeeka. Makama Katonda waffe kyaava atulungamya nti; (Zaabuli 1:1 ) Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma. Omuntu yenna bwanyoma okuyigiriza okwo tekyewunyisa agwa mu kukemebwa ne mukibi era abantu abalungi bamwesarako.
Abo ekitonde ekigya mu Yesua bebo abalina omwoyo wa mukama waffe, abalina omutima omugya, endowooza empya eya Kitaffe wamu n’amafuuta amagya ag’okumanya, eri abo endowooza enkadde nga eweddewo era nga byonna bifuuse bigya. (2 Abak 5:17) Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.
Bano bafukibwako omwoyo omutukuvu nebafuna essuubi erigya mu mukamaka waffe Yesua bebo omutume Petero bayogerako nti; Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. Abantu bano batukuvu balina amageezi ga Katonda agaava mu Ggulu, basanyukira mu butukuvu, ekisa, mubukakamu ne babala ebirungi nga Yakobo bwabogerako (Yak 3:17-18) Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi. Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe. Abatukuvu bawebwa amafuuta gano basobole okuyamba, okubiriza aboluganda basobole okuba n’ebikolwa ebirungi ne birowoozo ebirungi.
Bino biragiddwa bulungi mu byawandiikibwa;
(Mat 7:16) Naye ggwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga ne mu maaso
(Yok 3:11) Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. Era mukama waffe yenyini yagamba nti
(Mat 7:20) Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.
Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
Kale bwetyubanga twagala okumanya obulsmu bwaffe engeri gyebulimu tusobola okwekebeera nga tununulira wetutuuse mu kutta omubiri gwaffe ne mbala yaffe enkadde nga tukozesa ekipiimo kye kigambo kya Katonda okutuwa ekyokuddamu. 2Abak 11:31-32, Abebu 6:11-12.
Kale bwetutyo bwetumala okyukira ddala obulungi nga tutunulira “RABBI” waffe tusanyake era twenyumirize mwooyo mukutambula kwaffe kwona. 2Abak 10:17-18, Zab 105:3.
Bwetwesanga nga waliwo okulemererwa kwona tuweeyo obunafu bwaffe eri omusawo owamanyi Yesua alina abujanjabi bwona okutuwoonya ekibi, obunafu obw’embala enkadde. Omusomesa waffe alina obusobozi okutuyamba kubanga waali ku lwaffe.
Omutume Paulo ayogera ne Kanisa eya Bawule ebitonde ebigya mu Massiayah Yesu nga agamba abalonde ba Katonda tufuube, okulaba, mu mpiisa ennungi ne bikolwa ebirungi nga tufuluma okuyamba buli kinomu mu kwagala.
Mazima omutume Paulo yayita mu nakuze ngaffe bwetuziyitamu kati, kyoka kibi nyo nti bangi ku balonde balemereddwa okwagala nga basanidde okuyitibwa okwo okwa waggulu mu mpiisa zabwe n’ebikolwa byabwe. Kale ebiriwo kati era byaliwo mu biro mu biro by’Omutume, nalyoka akubiriza aboluganda mukwagala basobole okukyukira ddala okugoberera amageezi ga Katonda.
Katulab Omutume Yakobo wamu ne Yesu bwe bayigiriza
(Yak 3:5-6) Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.
N'olulimi muliro: ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.
(Mat 12:34) Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.
(Luke 6:46) Era mumpitira ki Mukama wammwe, Mukama wammwe, so nga temukola bigambo bye njogera?
Abolunda eno eba nsoobi okurowooza nti ekibi bwe kyogerwako mubukakamu kiba kifuuse kituufu era kirungi, nedda ekibi kiba kibi mungeri yonna, n’olwekyo kiba kirungi ddala okumanya nti omutima omulongoofu ogujjudde okwagala gwewala engeri yonna ey’ekibi ekyengeri yonna.
Tukimanyi nti omulabe waffe setan buligyo ayambadde ebyambaalo eby’ekitangala asobole okwelaga nga omulungi naye nga mubi, muusi era mutemu awedde emirimu eri abo abakola endagaano ne Yahweh n’Omwana we Yesu Massiayah.
Kale kimanye bulungi ddala nti nabo abagunja ebigambo n’ebirowoozo abo abawereza ba setan naye baba bebuzabuza, basobola okwogera nga n’okukaaba bakaaba n’okusasira n’olaga ekisa ekingi, nga banonya okungaana awamu naffe kumbe nga balabe baffe namba emu twegendereze abantu nga abo kubnga eno yesonga lwaki abantu abo bogera bulungi nebasobola okufuna obuwanguzi mukusiga obukyaayi, ebirowooza ebiibi mu mitima gyobo abalina embala enkadde nga ekyafugira mubo.
Tuteekwa okufaayo enyo eri banaffr so sikuffa ku byaffe byoka, aboluganda mungeri yonayona eyempuliziganya gyetukozesa tufube nyo okufaayo kubanaffe mungeri gyetwogeramu.
Tulina okulaba nti ebyo ebiyamba banaffe mu lugendo luno yensonga ekulembeera tulabe nebyo ebitayamba muntu tubyewale. Wabula ebyo ebizaamu amanyi byetuteekwa okukola, okwogera tulyoke tuyambe aboluganda bonna okuwakana obulungi okufuna engule ey’obwakabaka eri mumaaso gaffe. Bwetuba nga tuli balonde ebeyawulira kitaffe netuwaayo Saddaka ey’obulamu bwaffe buli kyetukola, kyetwogera kiteekwa okubanga kitambulira wamu n’amazima ekigambo kya Katonda kitaffe (Zabuli 13:8) buli waluganda yenna yandibadde kitangala ekyaaka nga buli kigambo kyayogera n’ebikolwa bye byonna nga biyamba oyo gwasisinkana. Ekyo nga kitukiridde ekkanisa yandibadde mukisa mwerere eri abantu bonna munsi !!. Tufube nyo ffe abaliwo leero okubeera ekyo kitaffe ne Yesua mukama waffe kyayagala Amina. Kino kyenyini ddala Omuteme Paulo kyayogera gyetuli nti tufube nyo okuyamba banaffe mu kwagala ne bikolwa ebirungi. Twewaale buli kigambo kyonna ne kikolwa kyonna ekisobola okuleeta obukyaayi, obugya, enkwe, okwesalaamu, obukambwe, enaku n’obulumi (ebirowoozo ne bikolwa ebibi) ebya setan.
Omutume akwataganya okuyigiriza kuni ne kigambo ekyobulekayo kungaana wamu ng’aboluganda, abaan ba Katonda. Tewali n’omu kuffe owamanyi nyo mu mbala empya ey’obulamu obugya nti asobola okubeerawo nga takungaana n’ebane okugabana. Newankubadde nga tuwulira nga tuli bagumu ekimala, omwoyo w’okwagala atuwaliriza natuleeta mukungaana ne baganda baffe. Kale ffe newankubadde nga tetulina kyetubafunamu, naye tulinga nnimi za muliro (oba ekyo ky’omuliro) bwozawula enku oba ennimi z’omuliro zizikira mangu ddala, naye bweziba wamu zeyongera okwaka mu maanyi. Mukama waffe Yesu atukubiriza okunonya n’okunyikira okungaana awamu ne banaffe mu mukwano okusoma ekigambo kya Katonda, mu kusaba, okwebaza n’okwegayirira nga twelangirirako omukisa nga abaana ba Katonda omu owamazima abakunganye awamu nebwetuba nga tuli babiri
(Mat 18:19-20) Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
(1Abak 14:26) Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba
Kino kituufu ate kyewunyisa nti abantu abesudde ebbanga nga babeera bokka bebasinga okuba abesigwa nga bewaddeyo nyo okufanaana mukama waffe Yesu, kino tetusobola kugamba nti obwesigwa bwabwe buuva mu kubeera wala n’aboluganda naye olukuba tewali ngeri yonna gyebasobola kungaana. Mukama waffe abayamba mumbeera yabwe kubanga Yesu amanyi bulungi ensonga ebalemesa n’abateekako ekisa ekyenjawulo nabakuma mu kisa nga besigwa. Wabula omuntu nga oyo singa afuna omukisa gwonna ogw’okungaana asana agukozese bulungi kubanga singa tagukozesa najja neyetaaba wamu naboluganda mu kusinza n’okusoma ekigambo mukama waffe tagenda mukolera byamageero nga ye yenyini yeyelemeesa okungaana. Asobola okulemererwa okudduka okufuna engule. Twegendereze!
Katonda waffe wamu ne mukama waffe Yesu basobola nyo okola ebyamageero gyetuli mu kaseera kooka akobuzibu eny nga tewaliwo mukisa gwona ffe nga abaana be gwetuyinza okukozesa okuva mubuzubu bwo. Katonda waffe asobola nyo okutayamba Amina.
Kale twebaza Katondanwaffe nyo mu biro byaffe newankubadde nga omutu abeera wala nyo n’aboluganda, kitaffe yateekawo engeri y’okungaanamu gamba; okuba “esiimu, okuwandiika ebbaluwa nga tukozesa Posita, Telegram ne email, zoom, adobe connect, Whats app, Facebook. Tweeter” n’ebirala. Sikyangu owoluganda okulemwa okiugaana n’ebaganda be. Owuluganda bwasalawo yekka okweyawula ku boluganda kale ye yenyini yewokunenya.
Omutume waffe omwagalwa agamba nti olunaku lutuuse, kale kyetagisa nyo okugoberera okuyigiriza kuno okwobutalekayo kungaana awamu nga abaana ba Katonda abawereza mu linya mukama waffe Yesu, banange kigwanidde ffe okungaana awamu nga ekkanisa eyasooka bwe yeyiisa;
(Ebik 2:40-44) Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu ng'enkumi ssatu. Ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba. Buli muntu n'atya: eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume. Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassa kimu mu byonna.
Mulabe olunaku olunaku olwemyaka olukumi lutuuse nga lujja ne mirimu emikulu mu birowoozo, n’omubiri ne bugumu lingi mu kukola emirimu gya mukama waffe Yesu, kale tufube mukiseera kino ekitono ekisigaddeyo okwetegeeka obulungi tuwangule ebirowoozo ebyobulamu buno tusobole okuba aboluganda abatambulira mu bumu nga Katonda waffe bwayagala nga tuyambagana, tweyimusa mukusaba, mukusinza nga tukungaana wamu okuyiga ekigambo kya Katonda era nga tukikola.
(Yokana 14:23-24) Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala,anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.
(Okub 3:10-11) Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi. Njija mangu: nyweza ky'olina, omuntu aleme okutwala engule yo.
Obadde okimanyi nti nga tetunayingira mu Sabbit ekulu ey’emyaka olukumi (1000) wagenda kubaawo olunaku “olwokubonabona” olunaku luno lugenda kubeera ku nsi, naye mukama waffe Yesu yasubiza ekkanisa eyabalonde nti agenda kubalokola mu lunaku luno;
(Lukka 21:36) Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.
Awo buli lunaku yayigirizanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
Olunaku luno kyekiseera ekyo ekyokuteekateeka ku lwe myaka olukumi (1000) obwakabaka bwa Yesu ne kkanisa okufuga, ekiseera kino kyanjawulo nyo kubanda kigenda kuba kyakubonbona olwokugezesebwa eri ekkanisa kubanga omusango gutandikira my nyumba ey’okukiriza enyumba ya Kitaffe Yahweh. (1Peter 4:17) Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukola obulungi okusinga nga mukola obubi.
Tulabanga okugezezebwa kuno nga kugenda mu maaso eri bao abayita n’abakabirira erinya lya Mukam waffe Yesu nga tebagoberera kigambo kye (abakiriza kungulu) abakiriza abetewaayo okuba saddaka okuba obuwereza bwabwe obwa mageezi, n’okusingila ddala omusango guli kubakulu mubifo ebyewaggulu gamba Paapa, Bishop, Pastors na Bakadde. Olunaku luyitibwa lwabusungu bwa Katonda okusooka eri ekkanisa oluvanyuma amawanga kale buli kiyitbwa ekkanisa oba ya mazima oba ya bulimba erina okuyita mu kugezesebwa. Ekkanisa ya baana ba Katonda ababeryeberye amany gabwe abawandiikibwa muggulu bagenda ku wangula balabisibwe mu kitiibwa wamu ne Yesu n’abatuvu abatusooka.
(Malakai 4:1-2) Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
Kale omutume waffe omwagalwa kyaava atukubiriza bwati;
(Abefeeso 6:13-16)
Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira. Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe; era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda:
Aboluganda mulabe olunaku lulinaffe kati tusanidde okunyikira mu kuyimusa banaffe mwakagala n’okubiriza mukwano ne bikolwa ebirungi bwetutyo tusobole okweyamba okwambala ebyokulanyisa bya Katonda waffe owamanyi atujjuze omwoyo ow’okwagala mu bukakamu, okugumikiriza, ekisa, okwagala aboluganda, obulungi, okukiriza n’esuubi lino libeere gyetuli obukumi n’ebokulwanyisa eri omulabe waffe setan mu lunaku olwomusango gwaffe tusobole okuwangula tufune engule yaffe ey’obulamu obutaggwawo n’obwakabaka obwe mirembe ne mirembe Amina. Amazima gali nti bwetuba tetulina byakulanyisa ebyobutukirivu tetusobola kuwangula, tusana okumany nti ebyokulanyisa bino bisukuluma nyo mageezi omuntu galina, nolwekyo kituufu okwesiba obutukirivu mu kifuba, obulongoofu mu mutima, engabo y’okukiriza, ekitala ky’omwoyo n’okutambulira mu kwewaayo eri Kitaffe Katonda mu bigeere bya Yesu.
Omutume yeyongeraokuyigiriza ku kibi ekyovoola omwoyo omutukuvu (ekibi eky’okufa), abaoluganda kino kikulu nyo okwegedereza sikulwa ogenda mu kufa okwokubiri. (Abebu 10:26:32) Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw'ebibi, wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe. Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu: mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa? Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be. Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw'ebibonoobono;
Omutume Paulo tayogera ku kibi ekitali kigenderere oba ekiva mutamanya, ekibi ekitali kya kufa, wabula ekibi ekigenderere omuntu tayinza kusonyiibwa kubanga akikola alina okutegera era nga amanyi tewali sadaaka ekirizibwa olw’ekibi ekyo.
Ow’oluganda ayinza okugamba nti ndi bulungi tewali era siyinza kwonoona mungeri eyo, sisoboola kola kibi kigenderere, naye katulabe kino abemikwano, waliwo engeri ekibi bwekiyinza okujja gyetuli mukiseera ekyo nga sikibi kigenderere, oluvnyuma nekifuuka ekibi ekigenderere. Ekyokulabirako buli bugyemu bwona obukolebwa mubutamanya oba mukumanyako okutono kisobola nyo okufuuka ekibi ekigenderere oluvanyuma bwetufuna okumanya n’okutegeera amazima agakwata kunsonga eye kibi ekyo netulemwa okwejjusa n’okukyuka (okwenenya), eri Katonda kitaffe okusonyiibwa. Kyokka netugenda mu maaso nekib awo tuba tumaze okola ekibi eky’okufa era ekigenderere mu maaso ga kitaffe ne mukama waffe Yesu.
Okwekiliranya mu kibi nga tumaze okumanya nti kibi, ekyo kiba kuvoola mwoyo mutukuvu era kola kibi kigenderere.
Kunsonga eyo waggulu omuntu tasobla kwelaba mu mutima gwe n’ebirowoozo nga atukiridde bulungi era nga tasobola kola kibi kigenderere mukama waffe kyaava atuwa omukisa guno (Mat 5:23-24) Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo,
leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.
Omutume Paulo agenda mumaaso okulaga mungeri eyobuboneero nti Omutima gw’owoluganda bwegubeera nga gusasira ekibi negutakiwakanya, oyo aba mulabe wa mwana wa Katonda, kubanga Yesu teyakwatira kibi kisa munegeri yakyo yonna, bwatyo yewaayo okutunula okuva mu manyi g’ekikolimo g’ekibi.
Omutume agamba nti abakola ekibi nga bagenderera abo be balabe ba Massiayah abalinyilira obutukirivu wansi w’ebigere byabwe.
(Abebu 6:4-6) Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja, ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu. Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:
Nga twogera ku kkanisa engeri gyeli mu kabi akekibi ekigenderere n’okugwa okuva mu bwenyevu bwa Massiayah n’enkola ey’obutukirivu egobererwa, omutume atuzamu amanyi tweyongere okulwana ne kibi n’enkola zonna eziyinza okutusula mukwonoona (2Abak7:1) Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda. Omutume atukubiriza okudda ku musingi (Abebu 10:35-36) Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene. Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.
(1Tim 6:12) Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. Aboluganda mugende mu maaso okulwana olutalo ne nsi, omubiri ne setan. Kino kisoboka nga tunyikira okuyiga ekigambo n’okungaana awamu.
Kino kitujjukiza ebigambo bya Yahweh okuyita mu Nabi (Mal 3:15-17) ebigambo bya Setefaano (Ebik 6:15, 7:60) Tewali nakimu ekiyinza okulemesa omuntu ajjudde omwoyo okulererwa ngawa mu kwonoona, katugoberere eby’okulabirakop abo abatambulira okumpi n’ebigere bya mukama waffe Yesu Amina.
Provoking One Another [R2314 edited]
Bivunuddwa
Owuluganda Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclessia