OKUTEEKA OMUTIMA KU NDOGOYI
Ekiseera kitono ekyayita waliwo omukisa ogw’amanyi enyo mu kusooma ekitabo ekikwata ku “Mukiriza Omutufu.” Ekitabo kino kya wandiikibwa William Wilberforce Abamu kumwe mwawulira ku linnya lino era amanyikidwa nga omu kwabo abayamba nyo okuwera okusubula abaddu mu Bungereza mu kyasa ekya 18 ne 19 nga omusumba waffe Russell CT tanazalibwa.
Owoluganda mu ku kkiriza okwa mazima ayinza okulaba nga oku kkiriza kwabamu nga ekyambika (ekanisa yabulijjo) era nga okutagasa naye twetaaga okutwala ekiseera okutegeera omukiriza ono owabuljjo (Norminal believer) oyinza okwewunya okufuna obulongoofu mu mutima n’owulira okuswaala. Mu biseera bingi ogya kusanga mu kanisa eno akabonero akalaga nga balina omwoyo omutukuvu akola mu mu mitima gyabwe n’e mubulamu bwabwe, nga balina okwagala kwa masiya, nga bajjudde okuyayana kwo kuweereza Yesu, n'obukakamu, n’okusirika mu mutima. Empiisa nga zino teziriiko kibuuzo kyonna.
Ab’oluganda bwe tulemererwa okuba n’ekisa, omulabe waffe satani nga tunonya okutumalawo, natukuba obusaale asobole okutukiriza omulimu gwe, bwajja gyetuli ffe ab’omwoyo agya gyetuli n’obukambwe olwo nga anoonya ekitanggala kyaffe kiffe eri ab'ensi ebeere mu kwawula yawula ab’oluganda n’olugambo nga twogera obubi kubanaffe. Ebintu bino tebisaana kulabika mu b'oluganda abalina bendera ya mazima.
OKUYIGIRIZA OKUTALI KU KULU NYO.
Ab’oluganda waliwo okuyigiriza kwa Masiah okukulu enyo era omuntu yenna bwaba takulina taba mugoberezi wa mukama waffe Yesu, wabula waliwo okuyigiriza, nga kulungi, kwa mukisa naye nga sikukulu nyo eri omubiri gwa Yesu. Okuyigiriza kuno okukulu enyo abatukuvu babadde bakusanyukiramu okuva kulunaku lwa “Pentecost” n’okutusa leero.
Era naffe leero tulina engigiriza yemu, nagataako okutuwa omukisa gw’ekigambo mu kiseera kyaffe kino, ffe okuba n'amaanyi kyokka waliwo engiriza etali yansonga nyo ffe gyetuli kyokka nga yaliyansonga nyo eri abatusooka era nga balina okugugoberera basobole okuba ekitunde ku mubiri gwa Massiah.
Kuno kwekuyigiriza okukulu enyo eri ffena ab'omubiri gwa Massiah.
- Abaana ba Adamu bonna- Bayonona.
- Tewali atabagana ne katonda awatali sadaaka y’omununuzi Yeshua omufukeko amafuta amangi ennyo era OMwana was Kitaffe mu Ggulu.
- Yesu yajja munsi okuba sadaaka era omutango olwekiibi.
- Okuwaayo Omubiri gwaffe okuba Ssaddaka enaamu nga tuwereeza Omutonzi waffe. Olw’omutima gw’okununula omukiriza ayinza okweyawulira Katonda okuba omuwereeza nga saamu ekitibwa okuyitibwa kw'obulamu. Kuno abakiriza bonna bakituriza nga basalawo okubatizibwa mu linya lya Mukama waffe Yeshua Massiah eya tuffirira, olwo omuntu nassalawo okufiira awaamu ne Mukama we Yeshua mu kufa kwe era n'okuzikira awamu naye mukitibwa.
- Okujjula Omwoyo Omutukuvu.
Omukiriza bweyeyawulira Katonda okutusa ku nkomerero natukiriza okuyitibwa kwe awebwa omwoyo omutukuvu nasobola okutukiriza omulimu gw’okuwereeza kwe.
6. Okutekebwaako emikono gya bakadde.
Abakiriza bonna ab'omubiri ogumu ogwa Yeshua Massiah kibagwaniranga okuba
bakakamu abagondera abakadde abo abagora ekigambo kya Kitaffe gyebali nga
babasamu ekitiibwa ekibagwanira.
1Tim 5:17-22.
abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiriza.
Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye.
Tokkirizanga kiroope ku mukadde awatali bajulirwa babiri oba basatu.
Aboonoona obanenyezanga mu maaso g'abantu bonna, era n'abalala balyoke batyenga.
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awatali kusaliriza, nga tokola kigambo olw'obuganzi.
Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by'abantu abalala: weekuume obeerenga mulongoofu.
2Tim 1:6-7
Nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange.
Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga.
7. OKuzuukira kw'abafu bonna abalungi nababi.
Ebik 24:15-16
Nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna.
8. Omusango ogutaggwaawo.
2Abak 5:10
Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Massiah w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.
Kale, bwe tumanya entiisa ya Mukama waffe, tusendasenda abantu, naye tulabisibwa eri Katonda: era nsuubira nga tulabisibwa ne mu myoyo gyammwe.
Ekibuuzo: (Question:) Abakiriza bwetufuba okutukiriza bino waggulu tubeera baluganda era byo byonna byetagibwa eri omukiriza yenna, ebisingako wano tukiriza nga si bikulu nyo gyetuli neri abkiriza bonna?
Naye bwetubeera munaku z’okukyalira kwaffe nga tufunye okutegeera okusingako awo, kirungi era nafe tufuna okugezesebwa okwamaanyi okutegeera kwaffe kwe kulina okujjawo.
Amagezi getuwa ab’oluganda n’abantu ba Katonda mwena munsi yonna, temuteeka kikoligo kyona eri ab’oluganda, okusuka ku njigiriza enkulu eya Mukama waffe Yesu eragiddwa waggulu, ab’oluganda babeere ba ddembe mu kukungana nga bakiriziganya wamu buli muntu ne munne.
Bwewabaawo okwawukana munjigiriza ey’omusingi gwaffe ogw'okukiriza kale kisanidde kibeewo olwo no waberewo okugenda mumaaso eri buli muntu kubanga awatali kubusabusa wateekwa okubaawo okukontana n'okuwakana okwa buli kiseera n’olwekyo kya magezi nnyo okwawukana.
Kigwanira okubaawo okwetegereza obulungi ensonga ey’okwawukana ng’aboluganda era bwetukiriza nga ab’oluganda tebasobola kugenda mumaaso wabula okwawulamu ekibiina, buli kibiina bayige bokka ekyo kya magezi nnyo. Kyo kikulu nyo okutegeera nti ab’oluganda bano abawukanye okusigala nga tumanyi nti tebeganye ndagaano y’omusaayi gwa Yesu era bona bakyali mu ndagaano eno enkulu era tubatwala nga baluganda. Kikulu nyo okulowooza gyemulaga mungeri eno?
Ab'oluganda tetukwatagana kubanga batulimba okutulowoozesa nti okubbala kwe biseera bya Baibuli, oba Pastor Russell oba obwakabaka nti byebitufula abenjawulo, era abasanidde okusinga ab'ekanisa eya bantu baboligyo.
Obwo bulimba bwenyini nga buvila ddala mu mbala ya Malala eva eri taata wa balimba Satani. Obwo bulimba ddala obutekako olukomera mu bukyamu, era buno bwe bulimba obwakwata banaffe, mikwano gyaffe abagalwa sibuli ffe kyetwagala okuyita nti ye emmere ey’omukiseera kyaffe nti kye kireta enjawulo wakati waffe nabalala wabula okubeera n’ebbaluwa ya Yeshua ewadikiddwa obulungi mutima gyaffe.
Kiki ekola njawulo? Bye bino wamanga;
Okusooka ffena tulina okudda eri ekigambo ekitukuvu.
Zab 51: 10
Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.
Lukka 18: 10-14
Abantu babiri baalinnya mu yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza.
Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.
Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.
Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi.
Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
BEERA MUWOOZA SI MUFALISAAYO
Tusobola tutya okujjawo abafalisaayo mu ffe? Yebazibwe Katonda, tetwetaaga kutunula waala, tetwetaaga kumanya bingi nyo!
Laba okuyigiriza kwa Yeshua kuno okukulungi Mat 5:1-3
Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali.
n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti
Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu ggulu bwe bwabwe.
Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa.
Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.
Laba ebigambo bya Yeshua nga byeyakozesanga bijjudde omukisa ogwamanyi
Tokola ensoobi okubuuzabizibwa omuntu omukakakmu n’oyo omutti. Abantu bangi abakakamu bamanyi nyo mu mbaala yaabwe okufanana nga Musa omusajja asiingayo okub omukakamu era omuteefu omukakamu bufanana n’omuntu omwaavu mu mwoyo. Kino kitegeeza kubeera muntu eyeewaddeyo okugondera okwagala kwa Katonda. Obukakamu bukulenbeze bwebirowoozo byaffe, obulungi n’okwefuga bigamikiriza ne wankubadde nga wabaddewo obunyifu nga Mukama agezeesa embaala yaffe ey’okukiriza.
Mat 5:6
Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa.
Enjala eno yabutukirivu omuntu yenna alina omukisa alina enjala eno ey’obutukirivu.
Nalowoozanga ebyekyeegyo, ngamanyi nti okwagala obutukirivu kyangu nyo naye nazuulanga obukyayi n’obukambwe bw’ekibi bwe megana nabwo.
Ebirowoozo nga bino siri munonjo, sirimulungi sirimutukirivu ebyo birowoozo bya sitaani bya zimba muffe.
Amazima eg’ebuziba ago gegasinga okuba mazibwe nyo. Sogagera ku kubbala kwa baibuli (choronology), naye amazima agatukwatako n’etulaba nga tuli bubi mu mitima gyaffe.
Mazima tosobola kwagala butukirivu n’otokyawa bubi bwonna tekisoboka ekyo. Omutindo gwaffe ogw’okukyawa obubi gw’enkamira ddalal n’omutindo kwetwagalira obutukirivu.
Mat 5:7:
Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.
Laba kino amakulu gakyo oguna ekyo ky’owaddewo. Ekisa kya katonda sikyakupiima, ekisa kya Katonda kijjuvu nyo era kimala.
Kino kibala kyangu nyo era kireeta a kaseko ku mataama engeri ya Katonda eno eyewunyisa abba kitaffe atuwa amanyi ne bisumuruzo by’obwakabaka. Ekyama n’enkola ey’obuwanguzi yino.
Ekisa bwekyenkana kyetulaga abalala, era kyetulaga abalala, era kye kisa bwekyenkana Katonda kyatuwa. Gyetukoma okusonyiwa abatusobya naffe gyetukoma okusonyiyibwa katonda. Kale tosobola kuba n’akisa era bg’osonyiwa n’otaba muwombeefu, mukakamu era nga oli mwavu mu mwoyo, ebyo byonna kunyukuta ennya “Love” okwagala. Bwetubeera abaavu mu mwoyo omutma gwaffe guba guyayanira obutukirivu.
Mat.5:8
Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda.
Wali olowoozeeza ku mulundi gwo ogusooka okula ku katonda? Na maaso naye nga simwukwolesebwa oba mungeri ya kabonero, naye okumulaba nga bwali? Nina essubi okumulaba! Naye waliyo ki ekisinga kwe kyo?
Yagala buli omu muntu mune.
Mat 5:9:
Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira.
ABAANA BA KATONDA BONNA TUSAANA OKUBA EKITANGALA.
Mat 5:12 -15:
Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
Mmwe muli musana gwa nsi.
Embala ng'eeyo waggulu buli muntu eya kkiriza gyetaaga okusikira obwakaba bwa Yahweh.
EMPEERA NGA NEENE NYO ERI ABO ABAFUUKA OMUNNYO N'EKITANGALA
Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira.
So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.
Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza.
Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.
MBAGALIZA OKUFUUKA OMUSANA NE KITANGALA MUNSI.
Muganda wammwe mu kkiriza
Laban Ssewanyana Wakiso Ecclessia.