OKWAWULIBWA KWA BAKABONA
OKWAWULIBWA KWA BAKABONA
Tabernacle Chapter 3
Bakabona nga bawulibwako kulw'omulimu ogwokuwereza Kitaffe Katonda neleero abantu beyawulira Kitaffe Katonda okumuwereza mu linya kya Yesu Omwana wa Kitaffe omulamu. Okwawulibwa kuno kitegeeza ki;
Okubeera omwesigwa okutuusa okuva nga omuntu aweereza Kitaffe Katonda owamaaanyi, kitegeeza okwetukuza okubeera nga Kitaffe Katonda bwali omutukuvu, era kyaava agamba nti nange njabatukuzaKubanga nze Mukama Katonda wammwe: Kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi. Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu (Ekyabaleevi 11:44-45)
Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza. Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye.
Yoswa n'agamba abantu nti Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.. Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu. Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe. (Yoswa 3:5-6)
Okwawulibwa kwa Bakabona kyali kifananyi kya okwawulibwa kwa Yesu Omwana wa Kitaffe Katonda nga Ali mubulamu obwomubiri munsi kino wamu n'okwawulibwa kw'omubiri gwe ekkanisa okukola okwagala kwa Kitaffe Katonda Yahweh. Okugonda n'obuwulize bwa Yesu okutuuka okuva, n'okugonda n'obuwulize bwe kkanisa okutuusa okufa nga babonabona olwobutukirivu okwo kweyawulira Kitaffe okwali kukiriddwa mu Aaron n'batabani be. Bino ebyakolebwa Aaron n'e batani be kyali kisikirize ekyomulembe gw'enjiri gwetulimu era gwetumarako Kati. Abewaayo okweyawulira Kitaffe Katonda mu linya kya Yesu kati bebagenda okubeera ba Kabona era bakaba mu Mirembe ogudaako guno nga guweddewo.
Okweyawula kitegeeza okwewaayo, n'okuwaayo byonna ebintu ebirungi ebyo mubulamu buno eri Kitaffe Katonda n'e Yesu okukola ebyo Kitaffe Katonda n'omwana we omu yekka bwati byayagala. Kubanga abo abeyawulira Kitaffe Katonda bwebasalawo okuwaayo essubi lyabwe, ebintu byabwe byonna mu kuwereza Kitaffe Katonda bank bafuuka basika awamu n'omwana we Yesu. Kitaffe Katonda abakiriza omuwereza bwabwe abafuula banana be era bitonde bigya Ku bwa mukama waffe Yesu. Tebafuna ekyo kyokka wabula omugabo ogwekitiibwa okubeera n'obulamu obwobuzaliranwa bwa Kitaffe Katonda atagwaawo nga bwekiragiddwa mu;
naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,
alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe. Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda. (Abaga 4:4-7)
kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye; ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba. (2 Pet 1:4)
BEERA MWESIGWA OKUTUUSA OKUFA.
Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani. Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu. (Okuba 2:9-10)
Kisoboka okuba nga omuntu yewaayo kyokka natasobola kutuuka kukigeera ekyomugabo ogwokubeera BAKABONA era BAKABAKA bonna abawaayo obulamu bwabwe nga sadaaka okubonabona awamu n'e Mukama waffe Yesu mu kufa kwe balina omugabo okusikira awamu okwakaba bwa Kitaffe Katonda Yahweh. Kyokka waliwo nabo abagenda okuyiga mu muliro (okubonabona okungi enyo) kyoka nga tebafunye ngule eyo eyabaleeta mu kweyawulira Kitaffe kubanga tebasobola kutukiriza bulungi kuwereza kwabwe nga bwekigwanidde okutambulira mu bigere bwa Kabona omukulu Yesu Omwana wa Kitaffe Katonda Yahweh owamaanyi enyo.
Waliwo n'abantu abalala abasalawo okweyawulira Kitaffe Katonda naye tebagenda okufuna ku mugabo bebano;
Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,
ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu.
(Abeab 6:4-6)
Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu:
Mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa?
Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be.
Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. (Abeab 10:28-31).
Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga (1 Yok 5:16)
Waliwo abantu bangeri bbiri abalagibwa mu kifaaanayi kya Aaron n'e batabani be, abbabiri besigwa n'abbabiri sibesigwa eri endagaano ya Kitaffe Katonda;
Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga.
Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama. Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira.
Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira.
Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde.
Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza. So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali. (Ekyab 10:1-7)
Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko. (Abeab 4:1),
Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe. (Rev 15:3).
MWETUKUZE MUBEERE BATUKUTUVU NGA YE BWALI OMUTUKUVU
Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. ndi omutukuvu. Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza. (Abaleevi 20:7-8)
Okuyitibwa kuno eri abakiriza okweyawula oba okwetukuza eri mukama kulwobuwereza bwa Kitaffe Katonda, kuno kuyitibwa kuwaayo saddaka okwefiriza ebintu n'okwagala okwomunsi eno olwokuwereza Kitaffe Katonda owamaanyi nga tuli batukuvu enaku zonna ez'obulamu bwaffe, n' oluvanyuma okukirizibwa okubeera ekitonde ekigya nga tuweebwa omwoyo omutukuvu owa mazima, awo Kitaffe Katonda owamaanyi nalyoka atwawula nga atubalira okuba abatukuvu nga ye bwali omutukuvu.
Kale okwawulibwa kwa Aaron n'e batabani be kulaga okwawulibwa kwa mirindu ebibiri; Okwawulibwa okwaffe nga tuwaayo saddaka ey'obuzaliranwa bwaffe eri Kitaffe Katonda n'okwawulibwa okuva eri Kitaffe Katonda nga akiriza okwetukuza kwaffe bwatyo natwawula okuba Awatukuvu nga ye bwali omutukuvu nga tusoma mu Kyabaleevi 8:14-33. N'olwekyo okuyiga mu musaayi gwa saddaka ogwayika bonna ebewaayo okutegeera amakulu ga saddaka eno batukuzibwa. era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe..
Tulaba Musa nga awaayo; Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa. N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
Yongera olabe Musa nga awaayo; N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo, N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. Amakulu abali mu kino tulaba nga Yesu (Aaron n'abaana be) bonna betaba mu kuweereza okwokutangirira ekibi nga kiwandikiddwa omutume Paulo mu (Bakolosayi 1:23-24) bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo. Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa; Era Mukama waffe Yesu bweyogera nti Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda.
Bw'ayogera waggulu nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng'amateeka bwe gali),
n'alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by'oyagala. Aggyawo eky'oubereberye, alyoke anyweze eky'okubiri. kale nga mukama waffe Yesu bweyewaayo okukola Kitaffe Katonda bywayagala naffe bwetutyo bwetwayitibwa okuba nga ye.
Abolunganda MWETUKUZE mube batukuvu nga ye bwali. Mukama waffe Yesu n'e Taata agatte omukisa Ku ekigambo kino.
Bivunuddwa muganda wamwe,
Laban Paulo Ssewanyana
Wakiso Eeclessia Uganda.