OLUNAKU OLW'OBUSUNGU NE KIRUYI ERI ABABI

The Day of Vengeance
Lwaki olunaku luno abalonde balina okulumanya?
Isaaya 63:4 Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.
Isaaya 34:8 Kubanga lwe lunaku olw'okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni. N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka.
Nabbi Isaaya ayaogera Ku olunaku luno mungeri yemu ne Danyeri 12:1) olunaku olwokulaba enaku n'okubonabona okutabangawo kasoka wabeerawo gwanga; Olunaku lwe lumu Malakayi naye alwogerako (4:1) agamba nti "Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku lujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi." Ate Omutume Yakobo alwogerako nti; Kale nno mwe abagagga, mukaabe mulire olw'ennaku ezijja ku mmwe. Obugagga bwammwe buvunze, n'ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. Ezaabu yammwe ne ffeeza zitalazze; n'obutalagge bwazo buliba mujulirwa gye muli, bulirya omubiri gwammwe ng'omuliro. Mwakuŋŋaanyiza ebintu mu nnaku ez'enkomerero. Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe, gye mulyazaamaanya, ekaaba: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama Ow'eggye? Mwesanyusa ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegezzezza mu mitima gyammwe nga ku lunaku olw'okubaaga ebya ssava. Mwasala omusango okusinga omutuukirivu, ne mumutta; naye tabawakanya. Ye Yoweri alwogerako nga olunaku olwebire ebikwaffu (2:2) ate Amosi (5:20) agamba nti silunaku lwanzikiza eranga tewali kitangala mulwo! Kyo mukama waffe Yesu alwogerako (Mat 24:21,22) nti lubeera olunaku lwakubonabona okunene okutabangawo kasooka wabaawo gwanga era sings telwakenderezebwako tewandiwonye muntu henna alina omubiri.
Olunaku luno olwekizikiza lwogeddwako banabi nga olunaku lwakulamurwa eri amawanga, ebibina by'eddini nga bwekiragiddwa mu byawandikibwa. Wabula tusana okumanya nti waliwo enjawulo mukulamurwa kwa mawanga nenkola ate n'okulwamulwa kw'omuntu sekinomu. Newankubadde nga abantu sekinomu bekola amawanga, era nga bebavunanyizibwa kubyonna ebiganda mu maaso naye Katonda Kati alamula nkola za bantu n'oluvanyuma okulamurwa Ku bantu sekinomu.
Olunaku olwokulamurwa okwabantu sekinomu kugenda kubawo mu myaka olukumi (1000) Katonda w'eggulu nga ataddewo embeera ennungi okubanga setani alibeera asibiddwa nga waliwo ekisa eri abantu okutegera okwagala kwa Katonda. Kino kyekiseera ekyendagaano empya okuwa abantu bonna omukisa ebezadde lya Adam okumanya amazima, obuyambi byonna obwetagisa Katonda w'eggulu agenda kubusawo okuyita mubatuku nga baliwamu me Mukama waffe Yesu bonna abali kunsi bayige obutukirivu.
(Yeremiya 31:31-33) Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda:
32 si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama.
33 Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange:
Eno pulani ya kitaffe nga nungi nyo kubanga abantu bonna okufuna omukisa okumanya kitaffe n'omwana okulokorebwa n'okutukira deals okumanya amazima.
1Tim 2:3 Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda, ayagala abantu bonna okulokorebwa n'okutukira ddala okumanya amazima.
Wabula mukulamurwa kwa mawanga nebibina bya maddini Kati, ebyobufuzi bifunye ebbanga ddene nyo era tekisobooka Katonda w'eggulu okubyongera kiseera kyonna kubanga tebiyinza okuyamba Bantu kutegeera Katonda wabula no befunidde ekitiibwa nebegagawaza nebavuwaza abasinga obungi kubanga enkola zonna ziri my kweyagaliza so so okuyamba balala.
Kiragiro kigamba nti obufuzi bugenda kubagibwako era oyo agawanidde obuyinza n'obusika kumawanga buwebwe Massiaya me Kanisa ye nga bwekiragiddwa mu byawandikibwa bino;
(Ezek 21: 27) Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.
(Dan 7:27) N'obwakabaka n'okufuga n'obukulu obw'obwakabaka obuli wansi w'eggulu lyonna, abantu ab'abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza galimuwulira.
(Okub 2:26-27) Era awangula nakwata ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga 27 era alibalunda n'omggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika era nange nga bwenaweebwa kitange, (Zab2:8).
Wulira ekigambo Kya mukama mwe amawanga agakunganyizibwa eri omusango: Mujje kumpi mwe amawanga muwulirize mwe abantu, muleke ensi ewulire nebonna abatula munsi wamu nebintu byonna ebiri munsi muno. Obusungu bwa Katonda buli ku mawanga nekiruyi kiri ku balwanyi, mukama ye KABAKA owemirembe me mirembe, eri obusungu bwe ensi gonna ekankana, tewali gwanga erisobla okuyimirira eri ekiruyi kino. Okukaaba kugenda kuva mu buli nsonda yensi, kubanga mukama awakna na mawanga...bwayogera Mukama Katonda ow'egye. Laban ekibi kuva mu gwanga okutuuka mu gwanga ne kibuyaga owamaanyi (okubonabona okwamaanyi) kugenda kubaawo okuva kunkomerero y'ensi. Nindirira ogenda okulaba kyenkola ku lunaku lwendiyimirira okusasula amawanga kubanga maliridde okufuka ekiruyi kyobusungu eri amawanga gonna n"obwakaba bwonna (enkola zonna eziri munsi) bugenda kusanawo n'obusungu bwange n'oluvanyuma ndiwa abantu olulimi lumu basobole okuyita erinya lya Mukama era bamuwereze n'omutima gumu.
Isaaya 34:1 Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2 Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3 Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirisaanuuka olw'omusaayi gwabwe.
4 N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.
5 Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
Yeremiya 10:10 Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo: ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe.
11 Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.
12 Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe:
Lukka 21:25 Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo;
26 abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
27 Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.
28 Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.
Jer 25:31 Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina empaka n'amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama:
32 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z'ensi ez'enkomerero.
33 N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.
(Zef 3:8-9)
Awatali kubusabusa olunaku lwa mukama waffe YHWH lugenda mu maaso Kati era mu kiseera kitono nyo ebintu byonna bigenda kuba nga bikola okutukiriza okuteesa kwa YHWH
Tusana tukimanye burungi nti omugaaso okutegeeza olunaku luno gwe nga omwana wa Katonda osobole okudaamu amaanyi n'okuguma nga kitaffe akola emirimu gye. Oleme nawe okuba nga abensi abatamanyi era abali mu kizikiza ekikutte.
Olunaku luno tewali n'omu ayinza okuluziyiza okuleeka Omutinzi yekka nanyini kuteesa buli kimu kimave okweteekateeka okuleeta enkyukakyuka okumalawo enkola ezobyobufu, eddini, ebyenfuna nebyobulamu.
Ekirubirirwa ekikulu sikubulira nsi ettegere balabike nga abanakuwadde olwokutya, nedda wabula okuleeta eddembe eri abalonde, okubanzamu abamaanyi bonna eb'enyumba y'okukiriza baleme okunakuwalana wabula bategere nti ekigenda mu maaso enteekateeka y'obwakabaka bwa Katonda ey'okuleeta emirembe n'obukozi obujjudde eri abawanguzi.
Olunaku luno bagenda bange lukwatagaana bulungi n'enteekateeka ya Katonda ey'okwagala okungi kwalina eri omuntu, omurimu ogugenda mumaaso okumenyamenya enkola za setani n'obufuzi obuliwo Kati, omurimu gwo guteeekateeka bwakabaka bwa bwa Katonda obw'emirembe n'emirembe obujjudde essanyj elingi eri bonna. Olunaku luno luteekateeka bwakabaka bwa Katonda obw'emirembe n'emirembe Amina.
Nabbi Isaaya (63:1-6) ayogera bwati my olunaku luno; Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;
2 Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde;
3 okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa ye.
4 Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi.
5 Era bannaggwanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalongooserezanga emizabbibu.
6 Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.
Bweetuturira Kati mu makungula og'omurembe gw'engiri tulaba owamaanyi omuwanguzi, nga yambadde obuyinza era nga avuuga endogoyi ey'obuwanguzi eri abalabe be bonna, ebyambaalo bye nga bijjuddde omusaayi. Era nga abuuuza abagwira nti ani oyo ava mu Edomu nga ebyambaalo bye binyikiddwa okuva mu Bozira? Yo yo alina ekitiibwa ekingi mu byambaalo bye era nga ava mukitiibwa era nga area mukitiibwa, ava mu buwanguzi nga da mu maanyi.
Mujjukire nti Edomu lye linya lya Essau muganda was Yakobo oluvanyuma lwokutunda obusika bwe (Gen 25:30-34) erinya elyo Edomu lyaweebwa n'egwanga elyaava mu Essau wamu n'ensi yatwalwa erinya lya Edomu (Gen 25:30; 36:1, Okub 20:18,21; Jer 49:17) kyoka erinya lino Edomu ligwanira okuba akabkneero kabantu ab'omurembe guno abatunda mungeri yeemu obusika bwe mungeri yeemu ey'omugooyo nga Essau.
Erinya lino likozesebwa banabi bangi okwogera ku kibiina kyabantu abangi abeyita abakiriza naye nga tebatuuka ku mutindo ogw'okukiriza ogw'etagisa (Babulooni) abakiriza b'ensi. Era bano berowooza okuba nti baana bwakabaka.
Bano balina embaala eyokweggulumiza etaava mu mazima ga Bayibuli, bano bebakiriza ab'omunsi era abagoberera ebyomunsi. Tebakwata ebiragiro bya Katonda wabula nakwata bulombolombo bwa bantu; (Mat 15:5_8) Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,
6 alireka okussaamu ekitiibwa kitaawe. Mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa
7 Mmwe bannanfuusi, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe, ng'agamba nti
8 Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe gundi wala.
9 Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
Amawanga agakulembeddemu okusinza kuno okwobulimba gafuna omukisa munene okukiriza amazima era buli mukisa gwonna ogw'omuggulu gubaddewo gyebali naye nebasalawo nga Essau okutunda obusika bwabwe eri abantu abanafu ab'omunsi muno ekyawandikibwa kitukirire nti abagaga sibangi, abayivu sibangi, abebitiibwa sibangi abayitibwa okumanya ekyama Kya Katonda. (1Abak 1:24_30) naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda.
25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi:
27 naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi;
28 n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo:
29 omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30 Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:
Erinya Edomu tuufu nyo okubanga likozesebwa kubantu bano Babulooni abakiriza ku mutendera gw'ensi era abagoberera ebiibina bya maddini, batunda amazima Yesu geyaleeta wamu n'abtume ne banabi nebakwata obulimba era nebawanyisa amazima olw'obulimba. Kibi nyo okuba nga bantu batunda amazima nebagulamu obulimba bwe batyo nebatunda obusika bwabwe okubeera abasika bwobwakabaka era bakabona mu bwa Kabakaba bwa Massiayah.
Abantu bano newankubadde nga bamaanyi era nga belaga eri ensi okubanga balina erinya lya Yesu era nga beyita ekkanisa lya Katonda, era newankubadde nga bazimbye ebibiina ebyamaanyi nga beyita kitundu Ku mubiri gwa Massiyah, era bantu nga bawandiise ebitabo bingi okunyonyola obulimba bwabwe, bataddewo amasomero g'eddini ne seminare (bible colleges) era bano bakoze ebintu ebyamaanyi bingo ebyewunyisa abantu munsi eno, bazimbye ebizimbye ne bibuga mu amawanga kyoka nebalemwa okwewaayo eri omulokozi okuyiga okuva gyali ! Kyanaku nenkubadda nga omukisa gubaddewo okudduka enkola zona naye nga omugaga eyatokoterera nga Yesu amugambye atunde ebintu bye abigabire abaavu kyamulema era nebano bwebatyo balemererwa olw'obugaga obungi bwebakooze.
Ekisobooka Kiri kimu Kati abatono Katonda basasira olwekisa kye ekingi kyebasobola okola kwekuvaayo ne bafuluma Babuloni. Enkola za babuloni nyingi nyo era ab'oluganda tusana okulaba nga tusenguka bulk ngeri yonna eva mu Babuloni, Lwaki Babuloni nkola omuntu ayinza okuva mu kunganiro erimu nagenda mu deals naye omuntu bwaba takyuuse mutima gwe asobola okusigala mu Babuloni ne wankubadde nga yaava mukifo eky'ekunganiro. Ensonga eyo nkulu nyo twegendereze!!
Banabi batulaga bulungi nti Omulwanyi owamaanyi he mukama waffe Yesu, ye mulwanyi awangula okuteeka wansi enkola zonna eza Babuloni. Isaaya 34:6 Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe.
Kati tulabe erinya lino Bozira, erinnya lino litegeeza ekisibo ky'endiga kyoka mukisibo kino ate mulimu ne mbuzi era olunaku luno lugenda kwawula endigga me mbuzzi. Embuzzi zikirira engaano y'omunsiko kyo endigga zikirira abatukuvu abalina okuyita mu kubonabona okungi;
Okuba 7:14 Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, e bayoza ebyambalo byabwe, ne abitukuza mu musaayi gw'Omwana w'endiga.
1Abak 3:1 Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaaua abawere mu Kristo.
1 Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaaua abawere mu Kristo.
Bano bebalemwa okukozesa omukisa ogubawereddwa okudduka okufuna empeera ey'engule ey'obugole. Yesu tabagoba naye bayita mu kubonabona naye balokola obulamu bwabwe.
Ono ava mu Bozira nga awangula nga ayogera mu butukirivun owamaanyi era Alokola onto y'omu ayogerwako mu (Kub 19:11-16)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.
12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.
13 Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda.
14 N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi.
15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.
16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi.
Omulimu guno omukulu ogwokusanyawo obulimba mukiseera kino ekyamakungula tulina okugwa nga amawanga gakunganyizibwa okugasalira omusango.
(Okuba 14:18-20) Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.
19 Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20 N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.
Kino kikulu nyo abaluganda okukitegeera nti omulimu ogw'okumalawo omurembe guno teguli mukono gwa muntu mulala yenna wabula Katonda w'eggulu yekka kyava "asamba esogoleero yekka" Katonda w'eggulu YHWH yekka yalina obusoboozi okola omulimu ogwo yeeka.
Katonda teyetaaga kumuyamba bwaba nga akola emirimu gye. Ojjukira abaana Isirayari Katonda bweyabarwanira nga nekati agenda kulwanira abatukuvu be.
Mukama waffe agenda kufuga ensi n'omuggo ogw'ekikyuma n'omuka gw'omukamwa ke; naye anaasaliranga omwavu emisango gya nsonga, era anaanenyanga n'obutuukirivu olw'abawombeefu abali ku nsi: era alikuba ensi n'omuggo ogw'omu kamwa ke, era alitta omubi n'omukka ogw'omu mimwa gye. (Isaaya 11:4 Okuba 19:15; Zab 98:1)
Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse.
5 Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira: omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi n'ekiruyi kyange kye kyampanirira. Mazima olunaku lutuuse olwabanunure be.
(Koseya 4:1-3) agamba nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n'abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi.
2 Tewali kintu wabula okulayira n'okumenya endagaano n'okutta n'okubba n'okwenda; bawaguza, n'omusaayi gukoma ku musaayi.
3 Ensi kyeriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo.
Katumalirize bwetuti;
(Yeremiya 25:31) Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina empaka n'amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama:
(Mika 6:1-2) Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo.
2 Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri.
3 Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize.
4 Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.
5 Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.
6 Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu?
Mazima Katonda agenda kumalawo obujjemu munsi era abantu gonna bagenda kuyiga era badde eri Katonda bamusinze mu mwoyo n'amazima.
Bivunuddwa muganda wamwe
Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Ecclesia.