TUNULIRA OYO EYAKOMERERWA
TUNULIRA OYO EYAKOMERERWA (A Look at the Crucified One)
Omulokolozi yatufirira nga bwe kya wandikibwa; Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera 1Abak 15:3.
Newankubadde nga ebyawandikibwa byogera ku kukomererwa kwa mukama waffe, bimwogerwako mungeri nyangu nyo. Kyoka ate nga eno yensonga eyandibadde n'enyanjula eye njawulo enyo mu byafaayo bya Yesu.
Mazima tewali kitabo kirara kyonna ekiyinza okwanjula okukomerwa kwa Yesu okusinga wano. Mukama Omutonzi yayolesa filimu eno ku stage nga omwoleso eri bamalayika n'abantu okulaga obwenkanya n'okwagala byonna nga bili wamu.
Abantu abalaba Yesu n'emirimu gyeyakola tebamukiriza, omuntu eyali oweddembe nawaayo saddaka ku lwe bibi byaffe naye abo abamulaba, tebamusiima wabula bamuddulira nebagabana ebyambaalo bye nga babikubira akalulu okulaba engeri gyebabigabanamu nebatula wansi okulaba engeri bonabona.
Mazima tusobola okugamba nti engiri ya Yesu yaleeta enkyukakyuka mu bantu,munsi mu ngeri y'obugunjufu. Kale tusiima Kubanga abantu Bali bafuga era nga bayiisa bubi abantu naye bantu bangi bakyuka olwenjiri ya mukama waffe Yesu era bangi bagenda bakyuka mu mitima gyaabwe.
Abantu bangi leero beyongera okumanya n'okufuna amageezi okusinga kwabo abaliwo mubufuzi bwa Roma.
Omuntu bwamala okumanya n'okuyiga nti okufa n'okubonabona kwa Yesu kwaliwo kulwange tayinza kufanaana baserikale, ba Roma awo okumulaba nga
Omuntu yenna bwawulira era nategera nti Yesu ye Mukama wange era ye mununuzi wange ekyo kiba kirungi nyo ddala kubanga okuva kwolwo, omuntu oyo aba takyali mulabe wa musalaba wabula abeera awereddwa obuyinza okufuka omwana wa Katonda. Oyo awulira ekigambo era nategera nti Yesu yabonabona n’affa kululwe kyoka eyeyisa mu mpiisa ya baserekale ba Roma abeera mulabe wa musalaba wa Yesu era n’ekanisa ye. Buli atali kululwe ye mulabe waffe Lukka 9:50, Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe.
Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma.
Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.
Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
(Makko 9:38-41)
Kyewunyisa nnyo ekiwandiiko Pilato kyeyasa ku mutwe gwa Yesu ku musalaba nga kisooma nti “ YESU KABAKA WA BUYUDAYAH” Pilato yali akimanyi bulungi nti abafuzi ba Bayudayah be bawaayo Yesu okumuta kubanga balina obujja kutuutumu ly’okuyigririza kwa Yesu. Bamutekako omusango nti yeyita “Kabaka” ffe tetulina kabaka mulaala wabula Kayisali, b’akozesa obunafu buno ne bawaliriza Pilato okumukomerera nga bagamba nti bwogaana ng’otoli mukwano gwa Kayisali.
Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.
Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa.
Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe!
Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali. Awo n'alyoka amubawa okukomererwa. Awo ne batwala Yesu: (Yokana 19:12-16)
Pilato yasalaawo nakola kyebagala era omusango neguba ku Bayudayah n’abaana baabwe, wabula yali tamanyi ddala nti omusajja onno Yesu yeyali Yesu ddala owamazima eyava eri Katonda okununula ensi yonna oyo gw’ebata mu kufa okwensonyi nga bamukomerera.
Bweyawandiika ebbaluwa y’omusango nti “YESU KABAKA WA BAYUDAYAH” abayudayah ne bagala akyuse ekiwandiiko naye Pilato nagana nga agamba nti kyempandiise ky’empadiise kitukirire nti KABAKA waffe akomereddwa nga bwekiwandiikiddwa.
Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA.
Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi.Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya. Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise. (Yokana19:19-22)
Tuyinza kwebaza tutya mukama waffe Yesu okuba nga mukama waffe yagumikiriza okubonabona bweyali mu bulumi natarowooza bubi mutima gwe era natarowooza okusasula obubi abo abamukola obubi naye nasalaawo kimu okukola okwagala kwa Katonda mubuwombeefu n’obukakamu okutukiriza enteekateeka ya kitaffe ali mu Ggulu.
Mazima bamemba ab’omubiri gwa Yesu n’olw’aleero munsi tebabategera bulungi, sibantu ba munsi bokka wabula nabo ebeyita abawereeza abamanyiddwa nga abamanyi enyo mu ngeri eya bafalisaayo ne ddini (abasumba munkola y’eddini). Mazima Yesu nga bweyali munsi naffe bwetuli. Nga ensi bwetategera makama waffe mukama waffe mukubonabona n’okugezesebwa kweyayitamu nga ensi telaba era tesaamu kitiibwa ekyo kyeyali akola okuwaayo Saddaka (Omutango) olw’ebibi byaffe, wabula okubonabona kwa Yesu abantu bakutwala nga kuswala n’akulekebwaawo nga bwekyawandikibwa mu Isaaya 53:4.
Ekituufu kiri nti okuva ku Mukama waffe Yesu Katonda abadde agenda ayawula abantu be munsi okubeera abasika abebisubizo eby’obugaga n’omukisa mu bwakabaka bwe.
Bano balina obusika obw’omugulu era balina okuyitibwa okw’omugulu bano balina ebisubiizo bino;
Abar 8:17 -18: naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.
Abaf 3:8-9:
Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna;
2Tim 2:12-13. Oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: Oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba.
Yesu yakomelerwa saawa meeka?
Okukomererwa kwa Mukama waffe Yesu kwabaawo kusaawa mwenda (9) ez’olweggulo nga bwekilagiddwa
Lukka 23:44-46.
N'agamba nti Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu bwakabaka bwo.
Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.
Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa essaawa mwenda,
enjuba obutayaka: n'eggigi ery'omu yeekaalu ne liyulikamu wakati.
V Awo Yesu n’ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
Saawa Mwenda ez’okumakya nga bwebudde bwa Saddaka ey’okumakya Yesu bamukwata nebamusalira omusango nga wamaze okuyitawo essawa mukaaga ku saawa mwenda nga bwebudde bwa Saddaka eyakawungeezi okusinzira ku Bayudayah, musaawa ey’omwenda Yesu naffa okuba omutango kulwe bibi by’ensi yonna.
Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? (Mat 27:45-46)
Ngali ku musalaba abayigiriza be bamwegaana.
Mat 26:56-62.
Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte;
ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri,
ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu.
Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza?
Mazima Yesu yaffa lwa ku mumenya mutima, mikwaano gye bonna nga bamweganye era y’ensonga lwaki yavaamu omusaayi n’a mazzi mubirizi ze bwe ba mufumita ngamaze okufa.
Lwaki Yesu yalabikanga alekeddwawo ku musalaba? Abayigiriza wamu ne kitawe! Lwaki ddala? Ensonga yeno nti Omutango gweyaali asasula tegwari gwa kuffa kyoka wabula waliwo n’okusasulira enkolagaana eyali evuddewo wakati wa Adam n’Omutonzi y’ensonga lwaki yalabika nga alekeddwawo alyoke atukirize ekibonerezo okugula enkolagana y’omuntu 1Peter 3:18.
Bwatyo yalina okulekebwaawo kitawe abonebone okugula omwakano n’enkolagna ya Adam n’abaana be! 1Abak 15:21-22.
Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.
Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.
Bwatyo Mukama waffe Yesu bweyabonabona ku musalaba naffa ku lwange nze neeme okufa era ebigambo byeyasembaayo bibino;
Yok 19:30: Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti
Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
Lukka 23:46.Awo Yesu n’ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
Mazima okufa kwa Yesu ku kakasibwa Omutume waffe Paul mu Heb 9:22.
Saddaka Yesu gy’eyawaayo yamala emyaka esatu ne kitundu (3 ½) yatandika olunaku lweyewaayo okubatibwa Yokana mu Yoladdani era okubatizibwa kwa Yesu kwali kulaga eri kitaawe nti yewaddewo okola okwagala kwa kitawe okutuusa ku saawa esembaayo, bwatyo ku musalaba yamaliriza omulimu kitaawe gweyamuwa okola y’ensonga lwaki yagamba nti kiwedde, bwekityo omulimu ogw’okununula gwagwa omulimu omulala ogutanaaba kugwa gw’e mulimu ogw’okuwa ensi omukisa eri buli muntu yena n’okulaga ekisa eri abantu bonna kingi ekyali mu Saddaka gye yawaayo olw’ekibi ky’ensi. 1 tim 2:3-5.
Nawaayo omwoyo gwe. Mwoyo ki gweyawaayo?
Emyaka asatu Yesu yawaayo ekitiibwa kye eky’omugulu najja kunsi
(Abaf 2:6-8) oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda,
naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
Omwoyo gweyawaayo bw’ebulamu bwe nga omuntu ku lwabalala. Yawaayo ekitiibwa ng’ajja munsi, nabeera omuntu nga ffe, bweyali ngaddayo eri kitawe nawaayo obulamu bwe ng’omuntu naffa nazzukira kitawe namugulumiza nyo; Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
Buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi,
Era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa. (Abafi 2:9-10)
John 6:62 kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?
Yoka 17:1-5:Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza.
Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
Yesu okuwaayo obulamu bwe eri kitawe kitegeeza yali amanyi ekigambo okufa kyekitegeeza, “obulamu okugwaawo”. Kyoka yali amanyi bulungi ddala nti tagenda kubeera mubafu enaku zonna, naye ng’akimanyi nti agenda kuzukira, era nga akimanyi bulungi nti obulamu bweyawaayo okola taata we byayagala nga bujja muddizibwa ku lunaku olw’okusatu;
Lukka 24:6-7;
Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya,
ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukira.
Yesu yalina obukakafu n’obwesige mu bisubiizo bya kitawe, bwatyo nga mugumu eri Omutonzi we ajja kumuddiza obulamu. Naffe tusanidde okwesiga ebisubiizo bya taata waffe ne Mukama waffe Yesu. Tulina esuubi addamu nti naffe tulizukira nga Yesu bweyazzukira mukitiibwa. Taata yatukiriza buli kisubiizo kye yamusubiiza Amina Yokana 20:17-20.
Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.
Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.
Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe.
Mungeeri yemu naffe tulina ebisubiizo okuva eri Yesu ne taata mu Ggulu ng’abaana b’Omutonzi abalonde mu mulembe guno gw’enjiri abayitibwa okugabana ku bumu bw’ekisa kya Yesu wamu n’okubonabona kwa Yesu wamu n’ekitiibwa kye okugabana ku buzaliranwa bwa Katonda nga bwekiragiddwa mubisubiizo bino;
2Pet 1:4: Tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu.
Rom 2:7; abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo:
Zabuli 8:5;
Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
Bwetumanya bino byonna tusobola okufuba okuteeka wansi ebizitowa byona, n'edduke n’okugumikiriza empaka ezitereddwa mu maaso gwaffe mu njiri ey’ekitiibwa nga tutunulira Yesu yeeka omutandisi era omumaliriza ow’okukiriza kwaffe.
Mukama agate omukisa ku Kigambo kino.
Bivunuddwa
Owoluganda Laban Paul Ssewanyana
Wakiso Eccelssia